Weegatte ku famire ya Paxful

Wano ku Paxful, tufuba okuleeta enkyukakyuka eya namaddala mu bulamu bw`abantu obwa bulijjo. Tukkiriza nti okwetengerera mu byenfuna ddembe lya buntu era tuluubirira okutuuka kw`ekyo. Twegatteko okutuukiriza ekigendererwa kino era okolewo enjawulo.

Oyagala okumanya Paxful kye ki? Laba viidiyo eno ensuffu osobole okumanya!

Weegatte ku famire ya Paxful
Ttiimu eri ku Ntikko y`Obukulembeze bwa Paxful

Ebyafaayo byaffe

Paxful yatandikibwawo mu 2015 okuva mu birowoozo by`abatandisi Ray Youssef ne Artur Schaback, abaalina ekirooto ky`okussaawo eby`ensimbi ebitasosola muntu yenna kasita aba ng`abyetaaze. Ng`obukadde n`obukadde bw`abantu baali tebalina buweereza mu by`ensimbi, waaliwo eddibu eryali lyetaaga okuziba. Olwaleero, Paxful ke kamu ku butale aka muntu ku muntu akasinga obunene mu nsi yonna, nga kaweereza ba kaasitoma abasoba mu bukadde 3. Omweyubulo gwa P2P gutuuse.

Artur Schaback & Ray Youssef

Ttiimu eri ku Ntikko y`Obukulembeze bwa Paxful

Kiba kitya okukola ku Paxful?

Okukola ku Paxful kya njawulo naye nga kya bulijjo. Ne woofiisi zaffe ennya eziri mu bitundu eby`enjawulo mu nsi yonna, ttiimu zaffe ziba bulindaala akadde konna. Tukolera ddala obutaweera, okulaba nti ffe tukulembera mu mpeereza. Ebiseera ebimu osobola okusanga ng`abakozi ba Paxful nga banyumirwa ennyimba, bakola dduyiro, balya bumpwankimpwaki oba nga boota ku kasana. Kiyinza okuwulikika ng`ekitajja nsa naye tweyita baaluganda kubanga twagalana era twagala kye tukola.

Woofiisi zaffe

Tallinn, Estonia

Tallinn ebiseera ebisinga kiyitibwa “ Ekiwonvu kya Sirikoni” ekya Bulaaya. Akabuga akatono naye akakulira ku misinde egya yiriyiri kamanyiddwa olw`okubaamu ebifo ebirabika obulungi ennyo n`ebikaddiyizo ebyasaamiriza. Omwoyo gw`obuyiiya oguli mu bantu b`ekitundu kino ate n`obutaba ba nnaasiwa mu kange, kye kifuula Estonia ekifo eky`amaanyi, ttiimu yaffe ey`ebyenkulakulana gy`esinziira okukola ebintu ebikyusizza obulamu bw`ensi eno.

Woofiisi yaffe ey`e Tallinn
Woofiisi yaffe ey`e Tallinn
Woofiisi yaffe ey`e Tallinn

New York, USA

Ekibuga New York kye kimu ku bibuga by`obusuubuzi ekisinga obunene mu nsi yonna era kaali kagenderere Paxful okusalawo okusimbayo amakanda nga bwe tusikiriza bannamikago abawererako ddala. Wadde twatandika n`abantu babiri bokka, Woofiisi yaffe ey`e New York yakula ate mu bwangu era n`egaziyira ddala, nga kati we wasangibwa ebibinja byaffe ebyabannamateeka ebikola obuteebalira okulaba nti Paxful egenda ku ddaala eddala.

Laba emirimu egikyaliwo
Woofiisi yaffe mu New York
Woofiisi yaffe mu New York
Woofiisi yaffe mu New York

Hong Kong

Hong Kong kye kibuga ky`obuwangwa ekirimu abantu ab`enjawulo ekifuuse ekimu ku bibuga by`obusuubuzi ebisinga okubaamu akayisanyo mu nsi yonna. Woofisi y`e Hong Kongo ye wasangibwa ekibinja kyaffe ekya bakitunzi abakola obw`ezizingirire okugatta obutale bwaffe mu Asiya n`ebiundu by`ensi ebirala.

Laba emirimu egikyaliwo
Woofiisi yaffe mu Hong Kong
Woofiisi yaffe mu Hong Kong
Woofiisi yaffe mu Hong Kong

Manila, Philippine

Manila y`entabiro y`ebyenfuna, ebyobufuzi, n`embeera z`abantu eza bulijjo mu Philippines. Ekimu ku bisaawe ebikula ku misinde egya yiriyiri mu Manila ye bizinensi y`ebyempuliziganya ne tekinologiya (IT-BPO). Eyo ye nsonga eyaviirako okufuula Manila ekitebe kyaffe eky`abakola ku bakaasitoma n`ebibinja bya bakitunzi.

Laba emirimu egikyaliwo
Woofiisi yaffe mu Manila
sWoofiisi yaffe mu Manila
Woofiisi yaffe mu Manila

Ekigenderewa kyaffe

Ekiruubirirwa kyaffe kwe kwetengerera mu byenfuna ebya muntu-ku-muntu. Nga tukozesa ekibanja kyaffe ekyesigika, ekyangu ekiriko ba kasitooma abakakasiddwa, tuluubirira okubeera ababunyisa b`ensimbi mu nsi yonna era abavungisa b`ensimbi zonna. Nga tukulembeza ebyenjigiriza, ttiimu yaffe eruubirira okuyamba abantu okwetoloola ensi yonna okukwatagana n`okuzimba enkolagana, ekibasobozesa okuyiga n`okukulaakulanira awamu. Ku nkomerero, tuluubirira kuteekawo njawulo ekwatikako mu bulamu bw`abantu wonna. Enkyukakyuka eya nnamaddala ng`ereeteddwawo abantu aba nnamaddala.

Tulina buli ky`oyagala.

Tufaayo nnyo ku bulamu bwo

Tukuwa eky`emisana n`ekyeggulo ebifumbiddwa obulungi buli lunaku, obwa mmemba mu kifo w`okolera dduyiro ky`oyagala, ebiriisa ebikuuma omubiri nga mulamu bulungi, okugendako okukolebwa masaagi, n`ebintu ebikolebwa awamu okukuuma omubiri nga mulamu. Okwebuuza kw`ebyobujjanjabi okw`okumutimbagano n`abasawo abakugu.

Twewaddeyo okukukulaakulanya.

Ng`ovudde ku kutalaaga zi yunivaasite okwetoloola ensi n`okugaba ebikozesebwa byonna ebyetaagisa mu kutendeka n`okukulaakulanya obukugu, tukkiriza nti ekinaatutwala mu maaso kwe kweyongeranga okukula n`okuyiga bulijjo.

Twagala okwetaaya

Okukyusa ensi si kyangu. Noolwekyo okukutoowolokosa okuva mu mirimu gyaffe egy`amaanyi gyonna, tukuteerawo ebisanyusa, emikola n`empummula z`abakozi bonna ezisasuliddwa kkampuni olw`okunyumirwa, okuyiga, n`enkolagana z`osobola okuteekawo ne bakozi banno abava mu bitundu by`ensi ebirala.

slider-image1
slider-image2
slider-image3
slider-image4
slider-image5

Ebitongole

Enzimba ya Sofutiweya

Omutima gwa Paxful. Ttiimu zaffe ezirina obukugu okukola ebintu eby`enjawulo zikolera ku misinde mingi, nga bakulaakulanya ebyamaguzi ebipya buli kiseera, bazza buggya ebiriwo, ate n`okulengerera ewala ebiseera eby`omumaaso ebyensimbi za muntu ku muntu.

Ekyamaguzi

Ttiimu zaffe ezirina obukugu okukola ebintu eby`enjawulo zikolera ku misinde mingi, nga balowooza bulijjo ku ngeri empya ez`okulongoosaamu engeri abakozesa baffe gye basobola okwanguyirwamu okukozesa omutimbagano gwaffe. Abawunda, Abakulira Ebikolebwa n`Ababyekenneenya bakola butaweera okulaba nga ebiroowoozo bye balina babifuulamu ebyamaguzi ebirabibwako.

Okugondera amateeka & Obukumpanya ne Obumanyirivu bwa Kasitooma

Ekitongole kya paxful ekisinga obunene kisaasanyiziddwa mu ssemazinga ez`enjawulo okukakasa obuweereza n`okugonjoola obutakkaanya obwa buli kadde obwa 24/7. Ebibinja bino bikola ku kunyweza ekibanja kyaffe n`abakozesa, okukakasa nti batuukiriza eby`amateeka n`okukola okwekenneenya etterekero ly`obuguzi ery`omutindo.

Okunoonya akatale

Bano be bantu abasaasanya enjiri y`ebibiina by`ebyenfuna ebya muntu-ku-muntu okwetoolola ensi. Nga bakozesa enkola y`ebyempuliziganya ebyedda n`ebiriko kati, baluubirira okutuuka ku bantu mu nsi yonna nga bayita mu kusomesa, okuyiiya n`okukulaakulanya ebitundu.

Ebyensimbi

Ebitongole bino bye bitambuza kkampuni yaffe. Bifaayo okulaba nti ebitabo byaffe bitegekeddwa bulungi wamu n`okulaba nti emirimu gyaffe giri mu mateeka.

Ebikolebwa Okusanyusa Abantu

Abantu abakakasa nti Paxful kye kifo ekisinga obulungi okukoleramu lubeerera! Baddukanya buli nsonga ekwata ku bakozi baffe, era bakwasaganya ensonga zonna ezeekusa ku kukulaakulanya ekitongole, wamu n`okukwasaganya enzirukanya y`emirimu gya woofiisi ne puloojekiti z`obukulembeze mu kitongole ez`enjawulo.

Engeri y`okwegatta ku famire ya Paxful

Enkwatagana n`ebikozesebwa

Weetegekere okukuba essimu

Okubuuzibwa okusooka

Okubuuzibwa okuyita otya?

  • Soma ku #BuiltWithBitcoin n`ekigendererwa kyaffe eky`okufuna obwenkanya mu byenfuna nga tuyita mu Bitcoin.
  • Tukebereko ku mikutu gyaffe emigattabantu. Bw`oba tomanyi Bitcoin kye ki, kola okunoonyereza osobole okutegeera ebisookerwako ku tekinologiya we ne kye kitegeeza eri ebyenfuna.
  • Kebera akaawunti z`emikutu gyaffe emigattabantu okumanya bwe tweyisa n`engeri gye tuwuliziganyaamu.
  • Tubuulire ebisingawo ku biri mu bbaluwa eraga obukugu bwo! Kiki ekikufuula ow`enjawulo.