Obukalu bw`Empeereza bwa Stablecoin ya Paxful

Ennaku ez`okutandika: Ogwokusatu 4, 2021

MWATTU SOMA ENDAGAANO ENO N`OBWEGENDEREZA. Mu kukozesa empeereza ya Paxful Stablecoin, okkirizia okufugibwa "Obukalu bw`empeereza ya Paxful Stablecoin" obwongeddwamu era oyatula era okkiriziganya nti osomye bulungi n`obwegendereza, otegedde, era okkirizza obukalu n`obukwakkulizo bwonna obulimu, obwongereza ku Bukalu bw`Empeereza ya Paxful ( "Endagaano"). Ebigambo byonna ebiri mu nnukuta ennene ebikozeseddwa naye nga tebinnyonnyoddwa wansi birina amakulu ago agabiweereddwa mu Ndagaano. Singa obutakwataga bwonna bulabikawo ku Ndagaano n` Obukalu bw`Empeereza ya Paxful Stablecoin mu kukozesa oba okwekuusa ku nkozesa y`empeereza ya Paxful Stablecoin, obukalu buno olwo bwe bujja okufuga.

Ebikwata ku Paxful Stablecoin

Empeereza ya Paxful Stablecoin nkola ey`okusemba ekusobozesa ggwe, omukozesa wa Paxful asaanidde, okuyingira mu bugulanyi bwa muntu-ku-muntu ne kkampuni eyalondebwa edda ("Kkampuni eri mu bugulanyi ne Stablecoin"), eyalondebwa Paxful, olw`okuwaanyisa Bitcoin okufunamu omuwendo ogwenkanankana ne USD ogwa stablecoins, okuterekebwa Kkampuni eri mu bugulanyi ne Stablecoins okuganyulamu ggwe. Okuyita mu nkola eno, Paxful Stablecoin ekusobozesa okufulumya Bitcoin zo okuziteeka mu stablecoin gy`olonzeeko.

Enkola y`Okusemba

Paxful Stablecoin y`empeereza ey`okusemba eriko obukugire esangibwa ku kibanja kya Paxful. Bw`olaga nti oyagala okukola obugulanyi bwa Paxful Stablecoin, Paxful ejja kukutwala ku Kkampuni ya Stablecoin gy`ekola nayo obugulanyi okuteeka mu nkola obugulanyi obwo. Awo oteekwa okugoberera ebikugambibwa okusobola okuwaayo obukalu bw`ekivuganyo kyo eri kkampuni Endala eya Stablecoin. Singa kkampuni ekola obugulanyi ekkiriza obukalu bw`ekivuganyo kyo, obugulanyi bujja kubaawo wakati wo ne Kkampuni y`obugulanyi bwa Stablecoin. Nga bwe kibeera ku bugulanyi obutuukiridde ku katale ka Paxful, Paxful tejja kwenyigizaamu, kufuga, kuba na maanyi, okulagira, oba buyinza ku bugulanyi bwa Paxful Stablecoin obuyingirwamu, oba obugezaako okukolebwa wakati wo ne Kkampuni ya Stablecoin. Paxful tejja kutereka stablecoin zonna wadde okuwabula oba okuwa ebiragiro eri omukozesa yenna owa Paxful okufuna stablecoin.

Kkampuni enkozi y`obugulanyi bwa Stablecoin eyinza okubeera n`obukalu wamu n`obukwakkulizo bwayo ku lw`obugulanyi bwa Paxful Stablecoin, era empeereza ya Paxful Stablecoin eyinza okukyukamu mu miwendo gy`okuwaanyisa, sipiidi y`okuwaanyisa, n`obukalu obulala wamu n`obukwakkulizo obuteekebwawo kkampuni enkozi y`obugulanyi eya Stablecoin ("Obukalu bw`empeereza ya Kkampuni enkozi y`obugulanyi eya Stablecoin"). Mu kuyingira obugulanyi ne kkampuni ya Stablecoin, obeera okkirizza okufugibwa Obukalu bwa Stablecoin. Obukalu bwa Stablecoin bukola mu bugulanyi bwonna okuggyako singa bukontana n`endagaano oba okugimenya, obukalu buno bubeera tebuli mu mateeka, tebukola makulu oba mu ngeri endala buzibu bwa kugondera (nga bwe kiragibwa mu kiwandiiko ky`amateeka ekya Paxful), oba ggwe ne Stablecoin bwe mukkaanya okukyusa mu Bukalu bwa Stablecoin. OVUNAANYIZIBWA OKUSOMA OBUKALU BWA STABLECOIN N`OBWEGENDEREZA ERA OBUGOBERERE NGA BWE BULI. SINGA TOGOBERERA BUKALU BWA STABLECOIN, OBUGULANYI BWO BUYINZA OKUGAANIBWA. TOYINGIRANGA MU BUGULANYI BW`EMPEEREZA YA STABLECOIN OKUGGYAKO NG`OGOBEREDDE OBUKALU BWONNA N`OBUKWAKKULIZO OBULAGIDDWA.SINGA OLEMERERWA OKUGOBERERA OBUKALU N`OBUKWAKKULIZO, PAXFUL EYINZA OBUTASOBOLA KUKUYAMBA MU KWEMULUGUNYA OKUKOMYAWO SSENTE ZO.

Ebisale

Paxful tujja kubeeranga beerufu ku bisale byaffe. Ebisale byonna bijja kuteekebwa ku by`okozesa empeereza ya Paxful. Okumanya ebisingawo n`okumanyisibwa ebipya ku bisale by`okukyusa, mwattu genda ku Awafunirwa Obuyambi.

Akaawunti Ezisaanira n`Obuyinza Obukugiddwa

Empeereza ya Paxful eya Stablecoin eteereddwawo okukozesebwa abakozesa abagigwanira bokka. Okusobola okugwanira okukozesa empeereza ya Paxful eya Stablecoin, oteekwa okukakasa akaawunti yo era ng`olina waakiri Bitcoin abalirirwamu USD $1.00 mu waleti yo eya Paxful, okwo gattako omuwendo gwa Bitcoin omulala gwonna ogwetaagisa okusasulira ebisale ebigenderako. Paxful yeesigaliza obuyinza okuziyiza oba okukyusakyusa mu mpeereza ya Paxful eya Stablecoin eri omukozesa wa Paxful yenna, ate Avuganya ku Stablecoin asobola okugaana obugulanyi bwonna n`omukozesa wa Paxful yenna. Okwongereza ku Buyinza Obukugiddwa nga bwe bulagibwa mu Kawaayiro 2.7 ak`Obukalu bw`Empeerezayaffe, empeereza ya Paxful eya Stablecoin teriiwo eri abakozesa ababeera mu Ssaza lya Texas.

TEWALI KUKAKASIBWA, KUKUGIRA KUFIIRIZIBWA & OKUVUNAANYIZIBWA KU BULABE

EMPEEREZA ZA PAXFUL STABLECOIN ZIKOLEBWA KU MUSINGI GWA "NGA BWEKIRIWO" ERA "NGA BWEKISOBOKA" AWATALI MISINGO, KUKIIKIRIRWA OBA KUKAKASIBWA, MU BIGAMBO, MU KUTEEBEREZEBWA OBA MU MATEEKA GA GAVUMENTI. MU MBEERA ESINGAYO EKKIRIZIBWA MU KUKWASISA AMATEEKA, PAXFUL TEVUNAANYIZIBWA N`AKATONO KUKUWA BUKAKAFU KU BUTUUFU BWA KKAMPUNI, OBUSOBOZI MU BUSUUBUZI, OBUTUUKIRIVU MU KUKOLA EBYENSUSSO OBA N`OBUTALINNYIRIRA MATEEKA. PAXFUL TEKIYIMIRIRAMU YADDE OKUKAKASA NTI OKUYINGIRA KU MUTIMBAGANO, EKITUNDU KYONNA KU BUWEEREZA, OBA EKINTU KYONNA EKITEREKEBWA WANO, NTI KIJJA KUSIGALA NGA KIGENDA MU MAASO, AWATALI KUTAATAAGANIZIBWA, MU BUDDE, OBA NGA TEMULI NSOBI. PAXFUL TEVUNAANYIZIBWA KU KULEMERWA MU SOFUTIWEYA WA BAKAYUNGIRIZI, OBA TEKINOLOGIYA, OKUTAATAAGANYIZIBWA KWONNA OBA OKUFIIRIZIBWA KWONNA OMUKOZESA KW`AYINZA OKUSANGA. NOOLWEKYO OYATULA ERA OKKIRIZA NTI TOSINZIDDE KU SITAATIMENTI YONNA OBA OKUKAKIBWA, MU BUWANDIIKE OBA MU KWOGERA OKUSALAWO OKUKOZESA EMPEEREZA N`OMUTIMBAGANO. NG`OGGYEEKO EBYO, OKKIRIZA ERA OKKAANYA N`OBULABE BWONNA OBULI MU KUKOZESA SSENTE ZA DIGITO OMULI OKUFIIRIZIBWA OLW`AMATEEKA AGALUŊŊAMYA, OKULEMERERWA KW`EBYUMA, OBUZIBU MU SOFUTIWEYA, OKULEMERERWA KWA YINTANEETI, SOFUTIWEYA OMUKYAMU, OKUTAATAAGANYIZIBWA OKULEETEBWA EBINTU EBIRALA NE KIREETAWO OKUFIIRIZIBWA OBA OBUTASOBOLA KUYINGIRA MU AKAAWUNTI YO OBA WALETI, N`EBIRALA EBIKWATA KU MUKOZESA, SERVER OKULEMERERWA OBA OKUFIIRWA OBUBAKA. OKKIRIZA ERA OKKAANYA NTI PAXFUL TEJJA KUVUNAANYIZIBWA KU KULEMEREWA MU BYEMPULIZIGANYA, OKUTAATAAGANYIZIBWA, ENSOBI, EBIRIMBO, OBA OKULWISIBWA KW`OYINZA OKUSISINKANA NG`OKOZESA OBUWEEREZA, NE BWE BIBAAWO.

TEWALI MBEERA YONNA, PAXFUL, ABANYWANYI BAAYO, N`ABATUUSA OBUWEEREZA, OBA ABAMU KU B`OFIISA BAAYO, BA DAYIREKITA, ABASIGIRE, ABAKOZI, ABAWABUZI, ABEEBUZIBWAKO EBY`EKIKUGU, OBA ABAGIKIIKIRIRA, LWE BANAAVUNANYIZIBWA KU (A) MUWENDO GWONNA OGUSUKKA OMUGATTE GW`EBISALE GW`OSASULIDDE OBUWEEREZA OBULINA OKULEETAWO EKIKOLEBWA MU MYEZI KKUMINEEBIRI (12) NG`OKUFIIRIZIBWA TEKUNNABAAWO OBA (B) OKUFIIRIZIBWA KWONNA MU MAGOBA, OKWEVEEERA MU MUWENDO OBA MU MIKISA GY`EMIRIMU, OKUFIIRIZIBWA KWONNA, OKWONOONA, OBULYAKE OBA OKUFULUMYA EBYAMA OBA EBINTU EBIRALA BYONNA EBITAKWATIBWAKO OBA EMBEERA YONNA EY`ENJAWULO, EGWAWO, ETAKUKWATAKO BUTEREEVU, NGA TEKWATWAKO, OBA OBULABE OBUVAAMU, OBA NGA BUSINZIDDE KU NDAGAANO, EMISANGO, OBULAGAJJAVU, OKUVUNAANYIZIBWA OKUKAKALI, OBA EKIRALA, EBIVAAMU OBA EBYEKUUSA KU KUKOZESA EMIKUTU OBA OBUWEEREZA EBIKKIRIZIBWA OBA EBITAKKIRIZIBWA, OBA ENDAGAANO ENO, NE BWE KIBA NGA OMUKIISE WA PAXFUL AKKIRIZIBWA MU MATEEKA ATEGEEZEDDWAKO OBA NGA YAKIMANYAAKO OBA NGA YALINA OKUMANYA KU BULABE OBUYINZA OKUBA MU KUFIIRIZIBWA OKWO, NGA TOFUDDEEYO NTI OKULEMERERWA KU BYAKKAANYIZIBWAKO, OBA OKUGONJOOLA OKULALA KWONNA OKW`ENSONGA, OKUGGYAKO NGA KKOOTI EKOZE OKUSALAWO NTI OKUFIIRIZIBWA OKWO KWAVA KU BULAGAJJAVU BWA PAXFUL OBUSUSSE, OBUKUMPANYA, OKWEYISA OBUBI MU BUGENDEREVU, OBA OKUMENYA AMATEEKA MU BUGENDEREVU. OBUYINZA OBUMU TEBUKUSOBOZESA KUGGYAMU OBA OKUKUGIRA EMBEERA OBA EBIVA MU KUFIIRIZIBWA , NOOLWEKYO OKUKUGIRA OKWO KUYINZA OBUTAKUKWATAKO.