OBUKALU BW`EMPEEREZA ya Paxful Inc.

ENDAGAANO ENO ERIMU OBUBAKA OBUKULU ENNYO OBUKWATA KU DDEMBE LYO N`OBUVUNAANYIZIBWA, AWAMU N`OBUKWAKKULIZO, OBUKUGIRE, N`EBIREKEBWA EBWERU EBIYINZA OKUKOZESEBWA KU GGWE. MWATTU BISOME N`OBWEGENDEREZA.

Obukalu bw`Empeereza Buno n`ennongoosereza zonna n`okuddamu okuttottola kuno okw` ( "Endagaano") bikola endagaano eri mu mateeka ezingiramu Paxful okukuwa obuweereza, omuli okukuwa ekifo ky`akatale okusobozesa abaguzi n`abatunzi b`Ebyobugagga bya Digito" (ekigambo kino kinaategeezanga ssente za digito omuli Bitcoin, Tether, n`endala, eziwagirwa waleti ya Paxful) okwetaba mu bugulanyi ("Akatale"), akalina obuweereza bwa waleti za digito, okutereka n`okuweereza Ebyobugagga bya Digito nga bwe balagirwa oluvannyuma lw`okuggusa obuguzi bw`Ebyobugagga bya Digito n`obuweereza obulala bwonna obunnyonnyoddwa mu Ndagaano eno (awamu “Empeereza” nga ssekinnoomu, “Empeereza”) ezikutuusibwako Paxful, Inc. ne banywanyi baayo bonna, omuli naye nga si be bokka Paxful USA, Inc.(awamu , “Paxful” oba “ffe” oba “ffe” oba “kkampuni”) gy`oli nga ssekinnoomu (era amanyiddwa nga “omukozesa” oba “ggwe”). Paxful.com n`Empeereza zaayo zonna ezigyekuusaako byonna bya era biddukanyizibwa Paxful. Okukozesa Empeereza kujja kufugibwa Endagaano eno, awamu ne Enkola ya Twekisize, Enkola ya Cookie, n`Olukusa lwa E-Sign.

OBUKALU BUNO BWETAAGA OKUKOZESA OMUTAAWULUZI OKUGONJOOLA OKWEMULUGUNYA MU KIFO KY`OKUVUNAANIBWA MU MBUGA Z`AMATEEKA OBA OKUWAABA MU KKOOTI.

Bwe weewandiisa okukozesa akaawunti ng`oyita ku Paxful.com, oba ebibanja byonna ebigyekuusaako, APIs, oba app z`oku ssimu, omuli URLs zonna eziddukanyizibwa Paxful (awamu "Ekibanja kya Paxful” oba “Ekibanja ”), okkirizza nti osomye n`obwegendereza, otegedde, era n`okkiriza obukalu n`obukwakkulizo bwonna obuli mu Ndagaano eno omuli Enkola yaffe eya Twekisize, Ekola ya Cookie, n`Olukusa lwa E-Sign.

OMUWENDO GW`EBYOBUGAGGA BYA DIGITO GUSOBOLA OKULINNYA OBA OKUKKA ERA WASOBOLA OKUBAAWO AKABI AK`AMAANYI N`OFIIRWA SSENTE NG`OGULA, OTUNDA, OTEREKA OBA OSIGA MU BYOBUGAGGA BYA DIGITO. OLINA OKWEFUMIITIRIZA N`OBWEGENDEREZA OBA NGA OKUSUUBULA OBA OKUTEREKA EBYOBUGAGGA BYA DIGITO KIKUKOLERA OKUSINZIIRA KU MBEERA YO EY`EBYENFUNA.

Ebikwata ku Paxful n`Empeereza zaayo

Paxful ke katale ka muntu-ku-muntu akakyasinze mu kukwasaganya okugula n`okutunda Ebyobugagga bya Digito n`abatunzi abakkiriza engeri z`okusasula ezisoba mu 300 okutunda Ebyobugagga byabwe ebya Digito. Engeri z`okusasula ziteesebwako ne zikyusibwa ku nkola ya muntu-ku-muntu wakati w`abaguzi mu Katale ("Abaguzi") n`abatunzi mu Katale (“Abatunzi”). Abakozesa baffe bakkiriziganya ku ngeri y`okusasula gye banaakozesa okuggusa obugulanyi era nga bavunaanyizibwa mu bujjuvu era kibakwatako okukozesa engeri z`okusasula ezo mu ngeri eri mu mateeka.

Paxful era ekuwa empeereza ya waleti ya digito okuyita mu muweereza akyasinze mu byobugagga bya digito. Etterekero lyaffe ery`abakozesa mu nsi yonna lisobola okuteekayo ebivuganyo eby`okugula oba okutunda Ebyobugagga bya Digito mu ngeri ez`enjawulo ezikwanguyira. Omutandisi w`ekivuganyo avunaanyizibwa okuteekawo obukalu bw`obugulanyi, omuli engeri z`okusasula Omutunzi z`anakkiriza. Omukozesa wa Paxful omulala bw`alonda ekivuganyo, Ebyobugagga bya Digito eby`Omutunzi bisibibwa ng`ogumu ku mitendera gy`obugulanyi bwaffe (gye tuyita "Ensibo ya Paxful") okutuusa ng`obukwakkulizo bwonna obwetaagibwa okusonjola obugulanyi butuukiriziddwa. Okutunda kugguse era Ebyobugagga bya Digito bisumuluddwa era Omutunzi abiweerezza eri Omuguzi singa Omuguzi aggusizza obukalu bw`obugulanyi era nga n`okusasula kukakasiddwa nti kutuufu era nga n`Omutunzi azifunye. PAXFUL TEKOLA KU BYA NSASULA. OBUVUNAANYIZIBWA BWONNA OBW`OKUSINDIKA N`OKUFUNA OBUSASUZI N`OKUKAKASA OBUTUUFU BW`OBUGULANYI BULI WAKATI W`OMUGUZI N`OMUTUNZI. Ebyobugagga bya Digito bye tusiba bizzibwayo eri Omutunzi singa Omuguzi asalawo okusazaamu obugulanyi. Omutunzi ayinza obutasazaamu bugulanyi mu kaseera konna. Omutunzi yekka y`asobola okusalawo okusumulula Ebyobugagga bya Digito n`abiweereza eri Omuguzi. Kino kikolebwa lwa bya kwerinda eri Omuguzi. Singa Omutunzi ayagala okusazaamu obugulanyi olw`Omuguzi obutagoberera bukalu bwa bugulanyi, alina okutandikawo okwemulugunya era n`awa n`ensonga ekimukozesezza nga bwe kyongedde okunnyonnyolwa mu Kawaayiro ak`omu 8 ak`Endagaano eno. Obugulanyi obukolebwa ku Kibanja kyaffe bukolebwa wakati w`Abaguzi n`Abatunzi. Na bwe kityo, Paxful tekwatibwako ku bugulanyi bwonna.

Obuweereza bwa waleti za ssente za digito obukutuusibwako Paxful ye ngeri eyeesigika ey`okutereka, okusindika, n`okufunirako ssente za digito. Paxful tetereka era tekuuma bya Bugagga bya Digito. Ebyobugagga bya Digito bikuumibwa ku miyungiro gyabyo oba mu materekero agawamu. Obugulanyi bwa ssente za digito bwonna bukolebwa mu muyungiro gwa ssente za digito gwennyini, wabula si ku Paxful. Tewali bukakafu nti obugulanyi bunaakolera ku omuyungiro gwa ssente za digito. Paxful yeesigaliza obuyinza okugaana okukola ku bugulanyi bwonna bwe kiba kyetaagisa mu mateeka oba bwe tukizuula nti obugulanyi buyinza okuba nga bumenya obukalu n`obukwakkulizo obuli mu Ndagaano eno. Kaakano okkiriza era oyatula nti ovunaanyizibwa mu bujjuvu ku byonna ebikolebwa mu waleti yo era okkiriza obulabe obuli mu kukkiriza n`okugaana okukozesa waleti yo, mu ngeri esingayo okukkirizibwa mu mateeka.

  1. WAMU

    1. Twesigaliza obuyinza okulongoosa, okukyusaamu, okukyusa oba okutereeza Endagaano eno ekiseera kyonna, mu buyinza bwaffe obw`enkomeredde awatali kusooka kumanyisa. Enkyukakyuka nga zino ezeekuusa ku nkozesa y`Empeereza zijja kutandikirawo okukola amangu ddala nga ziteereddwa ku Kibanja kya Paxful ate tezidda mabega. Bw`oba watuwa endagiriro ya email, era tusobola okukubagulizaako okuyita ku email nti Endagaano etereezeddwa. Bw`oba tokkiriziganya na bukalu bwa Ndagaano etereezeddwa, ekisobola okukutaasa kyokka kwe ku kusazaamu okukozesa Empeereza bunnambiro era n`oggalawo akaawunti yo.
    2. Buvunaanyizibwa bwo okusoma Endagaano n`obwegendereza ate buli luvannyuma lw`ekiseera ogyekebejje nga bw`eba eteereddwa ku Kibanja kya Paxful. Bw`onoogenda mu maaso ng`okozesa Empeereza kijja kutegeeza nti okukkaanya kwo n`okufugibwa Endagaano eba eriko mu kaseera ako.
    3. Paxful singa eremererwa oba erwawo okussa mu nkola Endagaano yonna oba obumu ku butundu bw`ayo tekitaputibwe nga obulekerezi bw`eddembe lyaffe lyonna oba ebinyiigululo.
  2. AKAAWUNTI & OKWEWANDIISA

    1. Okusobola okusozesa Empeereza, kijja kukwetaagisa okuwandiisa akaawunti okuyita ku Kibanja kyaffe. Ng`ogenda mu maaso n`okwewandiisa , tujja kubaako bye tukusaba, omuli naye nga si bye byokka, erinnya lyo, endagiriro n`obubaka obukukwatako obulala okusobola okukakasa ebikwogerako. Tuyinza, mu buyinza bwaffe obwenkomeredde, okugaana okukulabiririra akaawunti yo. Kaakano okkiriza era okitegeera nti: (a) oweza emyaka egikkirizibwa mu mateeka egikuwa obuyinza okwesalirawo okukkiriziganya n`Endagaano eno; ne (b) toyimirizibwangako oba toggyibwangako ku kukozesa Mpeereza zaffe.
    2. Bw`okozesa akaawunti yo, oba okkiriziganya era kiba kitegeeza nti ojja kukozesa Empeereza zaffe ku lulwo era tojja kukozesa akaawunti yo kukola nga kayungirizi oba bbulooka wa mulala, omuntu oba ekitongole. Okuggyako ng`okkiriziddwa Paxful mu bulambulukufu, okkirizibwa kubeera na akaawunti emu era nga tokkirizibwa kutunda, kwewola, kugabana oba mu ngeri endala okulaga ebikwata ku akaawunti yo oba ebirala byonna ebigyetaagisa okuyingirwamu abantu abalala oba ebitongole atali ggwe. Ovunaanyizibwa nga ggwe ssekinnoomu era buvunaanyizibwa bwo okulaba nti akaawunti yo erina obukuumi obumala n`okufuga amannya g`omukozesa gonna, endagiriro za email, ppaasiwaadi, kkoodi z`okukakasa okw`emirundi-ebiri oba kkoodi endala zonna oba ebintu ebiralala byonna by`okozesa okufuna Empeereza. Akaawunti yo terina kubaamu bubaka buwabya oba obw`ekifere. Okuteeka obubaka obukyamu ku akaawunti yo, okulimbalimba ensi mw`ova oba okuwaayo ebiwandiiko ebikwogerako eby`obukumpanya tekikkirizibwa n`akatono.
    3. Mu kuwandiisa akaawunti yo, okkiriza okutuwa obubaka bwe tukusaba olw`ekigendererwa ky`okukakasa ebikwogerako n`okukenga okuwuwuttanya ssente, okuteeka ssente mu bikolwa ebyekitujju, obukumpanya, oba obumenyi bw`amateeka obwekuusa ku ssente era n`okutukkiriza okukuuma obubaka ng`obwo. Ojja kwetaaga okuggusa egimu ku mitendera gy`okukukakasa nga tonnaba kukkirizibwa kukozesa Mpeereza, emitendera egiyinza okukyusibwamu olw`obubaka obuba bukukuŋŋaanyiziddwako emirundi egiwera. Obubaka bwe tusaba muyinza okubaamu, naye nga si bwe bwokka, erinnya lyo, endagiriro, ennamba y`essimu, endagiriro ya email, ennaku z`omwezi ze wazaalibwako, ennamba y`ekittavu ky`abakozi, ennamba ekwawula mu kuwa omusolo, n`endagamuntu ya gavumenti. Bw`otuwa bino oba obubaka obulala bwe tuyinza okwetaaga, okakasa nti obubaka bwonna butuufu, bw`ebwo bwennyini era tebuwabya. Okkiriza okusigala ng`otutegeeza singa obumu ku bubaka bwe watuwa buba bukyuseemu. OTUKKIRIZA OKUKOLA OKUNOONYEREZA, BUTEREEVU OBA OKUYITA MU BANTU ABALALA, KU KYE TULABA NGA KYETAAGISA OKUKAKASA EBIKWOGERAKO OBA OKUKUKUUMA NE/OBA NAFFE OBUTAKUMPANYIZIBWA OBA EMISANGO GY`EBYENFUNA EMIRALA, N`OKUKOLA EKYETAAGISA KYONNA OKUSINZIIRA KU BYE TUBA TUZUDDE MU KUNOONYEREZA NGA KUNO. BWE TUKOLA OKUNOONYEREZA KUNO, OKIMANYI ERA OKKIRIZA NTI EBIKUKWATAKO NG`OMUNTU BIYINZA OKUWEEBWAYO ERI ABAKOLA KU KWEWOLA N`OKUTANGIRA OBUKUMPANYA OBA EBITONGOLE EBIRWANYISA OBUZZI BW`EMISANGO GY`EBYENFUNA ERA NTI EBITONGOLE BINO BIYINZA OKWANUKULA OKUBUULIRIZA KWAFFE MU BUJJUVU.
    4. Bw`oba okozesa Empeereza ku lw`ekitongole ekiri mu mateeka ng`ekitongole kya bizinensi, weeyongera okuyimirirawo era n`owa obweyamo nti: (i) ekitongole kino kiteekeddwateekeddwa bulungi era kiriwo mu butuufu mu buyinza bw`ekitongole ekyo; (ii) okkirizibwa mu bujjuvu ekitongole ekyo ekiri mu mateeka okukikiikirira. Akaawunti ya bizinensi ekakasiddwa ya kitongole ekyo kyokka era esobola kukozesebwa muntu oyo yekka eyagiwandiisa. Akaawunti za bizinensi tezikkirizibwa kugabanibwa oba kukozesebwa bantu balala oba ebitongole. Akaawunti za bizinensi ezaakakasibwa zikkirizibwa okukola bino:

      • Akaawunti ya bizinensi eyakkirizibwa esobola okuba n`akawunti z`abakozesa abaliko eziwerako mu kaseera ke kamu, kasita kiba nti zonna zaakakasibwa kkampuni era nga ziddukanyizibwa abakozi abalondobeddwa kkampuni be yayasanguza era ne bakkirizibwa Paxful mu buyinza bwayo obwenkomeredde;
      • Akaawunti za bizinensi ziyinza okubaako ekivuganyo kimu kyokka ku bugulanyi obulondeddwa mu kaseera ako era nga tezikkirizibwa kubaako na bivuganyo bingi eby`obugulanyi ng`obwo obuba bulondobeddwa okuva ku akaawunti za bizinensi endala.
    5. Ovunaanyizibwa nga ggwe ssekinnoomu okuteekawo ppaasiwaadi eŋŋumu n`okusigala ng`okuuma ebyokwerinda ebimala n`okuba n`obuyinza ku IDs zonna, ppaasiwaadi, obukebusa, ennamba ezikuggulira ez`ekyama (PINs), ebisumuluzo bya API oba kkoodi endala zonna z`okozesa okufuna Empeereza yaffe. Okubula kwonna oba okutaataganya obubaka obukozesebwa ne/oba ebikukwatako ng`omuntu kiyinza okuvaamu abantu abalala abatalina lukusa okuyingira mu akaawunti n`okufiirwa oba okubbibwa kw`Ebyobugagga bya Digito ne/oba ssente ezeekuusa ku akaawunti yo, omuli n`engeri z`okusasula ezigyekuusaako. Ovunaanyizibwa nga ggwe ssekinnoomu okukuuma endagiriro ya email yo, ennamba y`essimu n`obubaka obulala obw`okukuwuliza nga biziddwa buggya mu bikwata ku akaawunti yo okusobola okusigala ng`ofuna ebimanyiso oba obubagulizo bwe tuyinza okukuweereza. Tokkirizanga kuyingira mu akaawunti yo ng`oli mu kifo eky`ewala oba okugabana sikuliini ya kompyuta yo n`omuntu omulala bw`oba omaze okuyingira mu akaawunti yo. Tetuvunaanibwa ku kufiirizibwa kwonna kw`oyinza kufuna olw`okutaataganyizibwa kw`ebyo by`okozesa okuyingira mu akaawunti yo nga si nsobi ya Paxful ne/oba okulemererwa kwo okugoberera oba okukola ku bimanyiso oba obubagulizo bwe tuyinza okukusindikira.
    6. Okusobola okukozesa Empeereza zaffe oyinza okwetaagibwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw`amateeka g`ensi yo ne/oba essaza mw`obeera. Bw`okkiriza obukalu obuli mu Ndagaano eno, oba okakasa nti wekebezze amateeka g`ekitundu kyo n`ebifugiso era nti omanyi, era otuukiriza, obuvunaanyizibwa obw`engeri eyo era bwonna. Olw`okutangirwa kw`amateeka oba ebifugiso,tulina ebitundu we tutatuusa Mpeereza yaffe. Bw`okkiriza obukalu obuli mu Ndagaano eno, oba okakasa nti toli mutuuze oba tofugibwa mateeka na bifugiso bya bitundu ebyo.
    7. Tuyinza obutasobola kutuusa Mpeereza zonna mu butale n`amatwale gonna era tuyinza okukugira oba okuziyiza okukozesa empeereza zonna oba ezimu ku zo mu matwale agamu, ("Amatwale Agakugiddwa"). Mu kiseera kino, Amatwale Agakugiddwa mulimu ago aganokoddwayo mu "Lukalala lw`Ensi Ezaawerebwa", n` Amasaza ga Washington ne New York. Ekirala, Empeereza ezeekuusa ku ssente z`oku mutimbagano teziriiwo, mu Tether (USDT), eri abakozesa ababeera mu Ssaza ly`e Texas. Togezaako kukozesa Mpeereza zaffe bw`oba osangibwa mu limu ku Matwale Agakugiddwa. Toteekeddwa kugezaako kwebalama bukugire bwonna obuteereddwawo okuyita ku Mpeereza, okugeza nga okubuzaabuza endagiriro yo eya IP oba okuwaayo obubaka obutali butuufu obukwata ku kifo gy`obeera.
  3. OBUYINZA, OKUTAAWULUZA & OKUYABULUZIBWAMU

    1. Endagaano eno n`enkozesa yo ey`Ekibanja n`Empeereza bijja kufugibwa era bitaputibwe okusinziira ku ssaza lya Delaware, awatali kufa ku nnono za kukontana kw`amateeka.
    2. Okutaawuluza. Ggwe ne Paxful mukkiriziganya nti okwemulugunya kwonna okuva ku oba okwekuusa ku Ndagaano eno oba Empeereza, zijja kugonjoolwanga mu kutaawuluza okusiba, ku mutendera gwa ssekinnoomu, nga bwe kirambikiddwa mu ku mateeka ag`Ekibiina kya America Ekitaawuluzi agataawulula okwemulugunya okwekuusa ku bakozesa ebintu (agasangibwa ku https://www.adr.org/rules). Okwesigama ku buyinza obukwata ku byetaago, abakozesa abavunaana (abantu ng`obugulanyi bwabwe bugendereddemu kukozesebwa ku bwabwe, famire, oba mu maka) bayinza okulondawo okuwaaba mu kkooti ento ez`okubitundu byabwe ezikola ku kuvunaana okutonotono mu kifo ky`okutaawulula kasita ensonga zaabwe ziba nga zisigadde mu kkooti ezivunaana entono era nga zikwata ku nkola ya muntu ssekinnoomu (atayimiriddewo ku lwa balala oba atakiikiridde).

      OKULEKAYO OKUWAABA KU LW`EKIBINJA: MU MBEERA EKKIRIZIBWA MU MATEEKA, OKUWAABA KWONNA KUJJA KULEETEBWANGA MUNTU SSEKINNOOMU, SO SI NG`OMUWAABI OBA MMEMBA W`EKIBINJA MU KIBINJA KYONNA EKISUUBIRIZIBWA, EKIKOLWA EKYAWAMU, OBA OKUKIIKIRIRWA MU MUSANGO (OKUTWALIZA AWAMU "OKULEKAYO OKUWAABA KU LW`EKIBINJA"). OMUTAAWULUZI AYINZA OBUTAKOLA KU KUWAABA KW`ABANTU ABASUKKA MU OMU OBA OKWENYIGIRA MU KUTAAWULULA OKW`EKIBINJA KWONNA. OKKAANYA NTI, OKUKKIRIZA OBUKALU BUNO, GGWE NE PAXFUL MWEMBI MUSAZAAMU EDDEMBE LY`OKUWOZESEBWA MU MATEEKA ERA MWEGGYAKO EDDEMBE OKWETABA MU KUWAABIRA PAXFUL KU LW`EKIBINJA.

      Etteeka ly`Okutaawuluza ery`Ekitundu, 9 U.S.C. §§ 1-16, likola mu bujjuvu ku kutaawuluza. Okutaawuluza kujja kukolebwa omutaawuluzi omu, atalina kyekubiira era kujja kubaawo mu Ssaza lya Delaware, oba ekifo ekirala ekikkaanyiziddwako, mu lulimi Olungereza. Omutaawuluzi ayinza okuwa ensala ne kkooti ey`ebyamateeka gye yandiwadde, omuli ebisale by`omuwolereza nga bikkirizibwa bu mateeka, era okusalawo ku kutaawulula kuyinza okutwalibwa ng`ensala era ne kuteekebwa mu nkola mu kkooti y`amateeka yonna. Ng`osabye, okuwulirizibwa kuyinza okukolebwa mu buliwo oba ku ssimu era omutaawuluzi ayinza okubasalirawo ku kuwaayo n`okuteesa mu bufunze awatali mu lwatu. Oluuyi olukwasaganya ebikolebwa okusobola okuteekesa mu nkola Endagaano eno lukakatibwako okusasula n`ebisale by`omuwolereza.

      Singa omutaawuluzi (abataawuluzi) oba akuliramu aby`okutaawuluza akubigika ebisale by`okuwaaba oba ebisale ebirala eby`okuddukanya ensonga zo, tujja kukuddiza ssente zo, ng`otaddemu okusaba, ebisale byonna ebinaaba biyise mu ebyo bye wandisasudde ng`otutte omusango mu kkooti z`amateeka. Era tujja kusasula ebisale ebirala oba okusasula singa kiba kyetaagisa okusinziira ku nsalawo y`amateeka g`oyo akulira okutaawulula oba amateeka agakwata kw`ekyo. Okuggyako ebiyinza okuddirira, buli luuyi lujja kuvunaanyizibwa ku bisale ebirala byonna oba emiwendo, gyonna oluuyi olwo bye luyinza okusaasanya, nga ebisale by`omuwolereza.

    3. Singa ekitundu kyonna eky`Endagaano eno kitwalibwa omutaawuluzi yenna oba kkooti y`amateeka eya United States okubeera ekikyamu oba ekitateekeka mu nkola kyonna awamu oba akatundu k`akyo, obutuufu oba okuteeka mu nkola ebitundu ebirala eby`obukalu n`obukwakkulizo buno tebijja kukosebwa. Emitwe gyonna egiri mu Ndagaano eno gigenderera kutegeeza kwokka era si butundu bwa kuteeka mu nkola obw`Endagaano eno.
  4. ENKOLA YA TWEKISIZE & EBYOKWERINDA

    1. Tufuba okukola buli kisoboka okukuuma ebikukwatako ng`omuntu. Wabula, tetusobola kweyama bukuumi ku bubaka bwonna bwoyasanguza ku mutimbagano. Okkiriza obulabe obwetondeke ku byokwerinda obw`okuwaayo obubaka n`okukolera ku mutimbagano ng`oyita ku Yintanenti era tojja kutuvunaana ku kumenya bya kwerinda okuggyako nga kivudde ku bulagajjavu bwaffe.
    2. Mwattu kebera sitaatimenti yaffe eya twekisize entongole ku: https://paxful.com/privacy.
  5. TEWALI KUKAKASIBWA, KUKUGIRA KUFIIRIZIBWA & OKUVUNAANYIZIBWA KU BULABE

    1. EMPEEREZA ZIWEEBWA OKUSINZIIRA KU "NGA BWEKIRI" ERA "NGA BWEKIRIWO" AWATALI MISINGO GYONNA, KUKIIKIRIRWA OBA OKUGUMYA, MU BIGAMBO, MU KUTEEBEREZEBWA OBA MU MATEEKA GA GAVUMENTI. MU MBEERA ESINGAYO EKKIRIZIBWA MU KUKWASISA AMATEEKA, PAXFUL TEVUNAANYIZIBWA N`AKATONO KUKAKASA BWA NNANNYINI, OBULUNGI BW`EBYAMAGUZI, OKUTUUKIRA KU KIGENDERERWA KY`ABYO NE/OBA OBUTAMENYA MATEEKA. PAXFUL TEKIYIMIRIRAMU YADDE OKUKAKASA NTI OKUYINGIRA KU MUTIMBAGANO, EKITUNDU KYONNA KU MPEEREZA, OBA EBINTU BYONNA EBIRIMU, BIJJA KUSIGALA NGA BIGENDA MU MAASO, AWATALI KUTAATAAGANYIZIBWA, MU BUDDE, OBA NGA TEMULI NSOBI. PAXFUL TEVUNAANYIZIBWA KU KUTAATAAGANYIZIBWA KWONNA OBA OKUFIIRIZIBWA OMUKOZESA KW`AYINZA OKUFUNA. KAAKANO OKKAANYA NTI ERA OKKIRIZA NTI TOSINZIDDE KU SITAATIMENTI NDALA YONNA OBA ENTEGEERA, MU BUWANDIIKE OBA MU KWOGERA, OLW`OKUKOZESA N`OKUFUNA EMPEEREZA N`EKIBANJA. NG`OGGYEEKO EBYO, KAAKANO OKKIRIZA ERA OKKAANYA N`OBULABE OBW`ENJAWULO OBWETONDEKE OBULI MU KUKOZESA SSENTE ZA DIGITO OMULI NAYE NGA SI BYE BYOKKA OKULEMERERWA KW`EBYUMA, OBUZIBU MU SOFUTIWEYA, OKULEMERERWA KWA YINTANEETI, SOFUTIWEYA OMUKYAMU, OKUTAATAAGANYIZIBWA OKULEETEBWA EBINTU EBIRALA NE KIREETAWO OKUFIIRIZIBWA OBA OBUTASOBOLA KUYINGIRA MU AKAAWUNTI YO OBA WALETI, N`EBIRALA EBIKWATA KU BUBAKA BW`OMUKOZESA, SERVER OKULEMERERWA OBA OKUFIIRWA OBUBAKA. OKKIRIZA ERA OKKAANYA NTI PAXFUL TEJJA KUVUNAANYIZIBWA KU KULEMEREWA MU BYA MPULIZIGANYA, OKUTAATAAGANYIZIBWA, ENSOBI, OKUBUZAABUZA OBA OKULWISIBWA KW`OYINZA OKUFUNA NG`OKOZESA EMPEEREZA, MU NGERI YONNA GYE BIREETEDDWAMU.
    2. TEWALI MBEERA YONNA, PAXFUL, ABANYWANYI BAAYO, N`ABATUUSA OBUWEEREZA, OBA ABAMU KU B`OFIISA BAAYO, BA DAYIREKITA, ABASIGIRE, ABAKOZI, ABAWABUZI, ABEEBUZIBWAKO EBY`EKIKUGU, OBA ABAGIKIIKIRIRA, LWE BANAAVUNANYIZIBWA KU (A) MUWENDO GWONNA OGUSUKKA OMUGATTE GW`EBISALE GW`OSASULIDDE OBUWEEREZA OBULINA OKULEETAWO EKIKOLEBWA MU MYEZI KKUMINEEBIRI (12) NG`OKUFIIRIZIBWA TEKUNNABAAWO OBA (B) OKUFIIRIZIBWA KWONNA MU MAGOBA, OKWEVEEERA MU MUWENDO OBA MU MIKISA GY`EMIRIMU, OKUFIIRIZIBWA KWONNA, OKWONOONA, OBULYAKE OBA OKUFULUMYA EBYAMA OBA EBINTU EBIRALA BYONNA EBITAKWATIBWAKO OBA EMBEERA YONNA EY`ENJAWULO, EGWAWO, ETAKUKWATAKO BUTEREEVU, NGA TEKWATWAKO, OBA OBULABE OBUVAAMU, OBA NGA BUSINZIDDE KU NDAGAANO, EMISANGO, OBULAGAJJAVU, OKUVUNAANYIZIBWA OKUKAKALI, OBA EKIRALA, EBIVAAMU OBA EBYEKUUSA KU KUKOZESA EMIKUTU OBA OBUWEEREZA EBIKKIRIZIBWA OBA EBITAKKIRIZIBWA, OBA ENDAGAANO ENO, NE BWE KIBA NGA OMUKIISE WA PAXFUL AKKIRIZIBWA MU MATEEKA ATEGEEZEDDWAKO OBA NGA YAKIMANYAAKO OBA NGA YALINA OKUMANYA KU BULABE OBUYINZA OKUBA MU KUFIIRIZIBWA OKWO, NGA TOFUDDEEYO NTI OKULEMERERWA KU BYAKKAANYIZIBWAKO, OBA OKUGONJOOLA OKULALA KWONNA OKW`ENSONGA, OKUGGYAKO NGA KKOOTI EKOZE OKUSALAWO NTI OKUFIIRIZIBWA OKWO KWAVA KU BULAGAJJAVU BWA PAXFUL OBUSUSSE, OBUFERE, OKWEYISA OBUBI MU BUGENDEREVU, OBA OKUMENYA AMATEEKA MU BUGENDEREVU. OBUYINZA OBUMU TEBUKUSOBOZESA KUGGYAMU OBA OKUKUGIRA EMBEERA OBA EBIVA MU KUFIIRIZIBWA , NOOLWEKYO OKUKUGIRA OKWO KUYINZA OBUTAKUKWATAKO.
    3. Tetulina bwa nnannyini oba okufuga emitendera gya sofutiweya addukanya enkola y`Ebyobugagga bya Digito. Okutwaliza awamu, emitendera gino egiddukanya miggule eri buli muntu, era omuntu yenna asobola okugikozesa, okukoppa, okukyusaamu, oba okugigaba. Tetutwala buvunaanyizibwa ku nkola y`emitendera gino era tetusobola kukuwa bweyamo ku nkola oba ebyokwerinda by`enkola z`omuyungiro. Mu bufunze, emitendera egiddukanya giyinza okukolebwako enkyukakyuka ez`embagirawo mu mateeka agaddukanya (omuli, “ebyozeemu”). Enkyukakyuka ng`ezo mu bikozesebwa ziyinza okukosa ennyo okubaawo, omuwendo, okukola ne/oba erinnya lya ssente za digito ezo. Paxful tefuga ngereka ya budde na nfaanana ya bintu bino ebikola enkyukakyuka ezo. Buvunaanyizibwa bwo okulaba nti omanya ku nkyukakyuka ezijja era mu bwegendereza otwale obubaka obuli mu lukale n`obubaka obukuweebwa Paxful mu kusalawo oba nga ogenda mu maaso okukozesa Empeereza. Mu mbeera nga waliwo enkyukakyuka mu nkola, Paxful yeesigaliza obuyinza okukola ekisoboka nga bwe kiba kyetaagisizza okuwa obukuumi n`okutaasa ebikolebwa ku kibanja ky`ayo, omuli n`okuyimiriza ebikolebwa nga byekuusa ku ssente za digito ezikwatibwako, n`emitendera emirala egyetaagisa. Paxful ejja kukola ekisaanidde okukuwa ekimanyiso ku kaweefube waayo ku nkyukakyuka z`ebikozesebwa zino; wabula, enkyukakyuka zino tetuzirinaako buyinza era ziyinza okubaawo nga Paxful temanyisiddwa. Okwanukula kwaffe ku nkyukakyuka zino mu bikozesebwa akolebwako mu buyinza bwaffe ffekka era mulimu n`okusalawo obutawagira biwayi bipya oba ebikolwa ebirala. Okyatula era okkiriza obulabe obuli mu nkyukakyuka z`ebikozesebwa ku mitendera gy`Ebyobugagga bya Digito era okkiriziganya nti PAxful tevunaanyizibwa ku nkyukakyuka ezo mu bikozesebwa era tevunaanyizibwa ku kufiirizibwa kwonna mu muwendo kw`oyinza okusanga nga kuva ku nkyukakyuka ng`ezo mu mateeka agakola. Oyatula era okkiriza nti Paxful erina obuyinza obw`enkomeredde okusalawo ku kwanukula kwayo ku nkyukakyuka yonna mu nzirukanya y`emirimu era nti tetuvunaanyizibwa kukuyambako singa oba okozesa ekika kya ssente ekitakkirizibwa oba emitendera egitakkirizibwa.
    4. Ng`okozesa Empeereza zaffe, osobola okulaba ebintu oba okweyambisa Empeereza ezikutuusibwako abalala, omuli hyperlinks ezikutwala ku bibanja n`empeereza zaabwe (“3tu ebintu by`abalala”). Tetukakasa, okutwala oba okufuga obubaka bw`abantu ab`o 3tu era tetujja kuvunaanwa oba kuvunaanyizibwa ku bintu by`abantu ab`o 3tu mu ngeri yonna. Ekirala, enkolagana yo oba okuwuliziganya kwo n`abantu abalala kiri wakati wo nabo. Tetuvunanwa oba okuvunaanyizibwa ku kufiirizibwa kwonna oba okwonooneka kw`engeri yonna kw`ofuna olw`enkolaga eyo era kimanye nti enkozesa yo ey`ebintu by`abantu ab`o 3tu n`okutabagana nabo, byonna obikola ku lulwo ng`omuntu.
    5. Olw`okwewala okutankanibwa, Paxful tewa magezi ku bya kusiga nsimbi, ebyemisolo oba ebyamateeka. Paxful teyawandiisibwa na Kakiiko ka U.S. ak`Emisingo n`Okuwaanyisa era tewa mpeereza ya misingo oba amagezi ku by`okusiga ensimbi. Obugulanyi bwonna obukolebwa mu Katale kaffe bukolebwa ku musingi gwa muntu-k-muntu wakati w`Omutunzi n`Omuguzi era buvunaanyizibwa bwo okusalawo oba okusiga ensimbi kwonna, engeri y`okusigamu ensimbi oba obugulanyi obubyekuusaako ddala by`osaanidde okukola okusinziira ku biruubiriwa byo ng`omuntu mu by`okusiga ensimbi, embeera mu byenfuna, n`obusobozi okugumiikiriza akabi akayinza okuvaamu. Olina okwebuuza ku muwabuzi wo mu byamateeka oba ebyemisolo ku mbeera yo. Akadde konna, tuyinza okuwa obubaka obusomesa ebikwata ku mukutu gwaffe n`ebyamaguzi, okusobola okuyamba abakozesa okwongera okuyiga ku bikwata ku Mpeereza zaffe. Obubaka buyinza okubaamu, naye nga si bye bwokka, ebiteekebwayo blog, ebiwandiiko, linki ezigenda ku bintu by`abantu ab`o 3tu, amawulire nga bwe gabaawo, emisomo ne viidiyo. Obubaka obuweebwa ku Kibanja oba ebibanja by`abantu abalala tebuliimu magezi ga bya kusiga nsimbi, bya nfuna, ba busuubuzi amagezi amalala gonna, era tolina kutwala bintu by`osanga ku Mutimbagano nga amagezi ago. Nga tonnaba kusalawo kugula, kutunda oba okutereka Ekyobugagga kyonna ekya Digito, olina okusooka okukola okunoonyereza okukwo n`okwebuuza ku bawabuzi bo mu byenfuna olwo n`osalawo ku by`okusiga ensimbi. Paxful tejja kuvunaanyizibwa ku kusalawo kw`okola okugula, okutunda oba okutereka Ebyobugagga bya Digito ng`osinziira ku bubaka obukuweebwa Paxful.
    6. Okkiriziganya nti tetuvunaanyizibwa ku kukyukakyuka kw`ebbeeyi y`Ebyobugagga ebya Digito. Mu mbeera ng`akatale kataataaganyiziddwa oba Okufiirizibwa okuva ku Bibamba (nga bwe kinnyonnyoddwa mu Kawaayiro 17), tuyinza okukola ekimu oba okusingawo ku bino wammanga: (a) okuyimiriza okufuna Empeereza; oba (b) okukulemesa okumaliriza ekikolwa kyonna okuyita ku Mpeereza. Tetujja kuvunaanyizibwa ku ku kufiirizibwa kwonna kw`onaafuna nga kuva ku bikolwa ng`ebyo. Oluvannyuma lw`embeera ng`eyo, ng`Empeereza ziziddwako, okkaanya nti emiwendo egiri ku katale giyinza okwawukana ennyo okuva kw`egyo egyaliwo ng`embeera ng`ezo tezinnabaawo.
    7. Tetuwa bweyamu nti Ekibanja, oba server ekiteekako, tebirina biwuka oba nsobi, nti ebirimu bituufu, nti tebitaataaganyizibwe, oba nti ensobi zijja kutereezebwa. Tetujja kuvunanwa oba kuvunaanyizibwa gy`oli olw`okufiirizibwa okw`engeri yonna, okuva ku bikolwa by`okoze, oba by`okoze nga weesigamye ku bikozesebwa, oba obubaka, ebiri ku Kibanja.
  6. OKWEJJEEREZA KWA PAXFUL & OBUZIBIZI

    1. Bw`obeera n`okwemulugunya n`omu ku bakozesa b`Empeereza zaffe oba okusingawo, wejjeereza Paxful, banywanyi baayo, n`abawa empeereza, na buli omu ku oba ba ofiisa baayo, ba dayirekita, abakozi, abasigire, n`abagikiikirira, eri okuvunaana, amabanja n`okufiirizibwa (ebyaddala n`ebivaamu) ebyengeri n`ekikula kyonna ebiva mu oba mu ngeri yonna eyeekuusa ku nkayaana ng`ezo. Okkiriza okuzibira n`obutakosa Paxful, abanywanyi baayo, na buli omu ku ba ofiisa baayo, ba dayirekita, abakozi, abasigire n`abagikiikirira, ng`obavunaana oba okubabanja (omuli ebisale by`omuwolereza, n`okutanzibwa kwonna, ebisale oba ebibonerezo ebiweebwa ekitongole ekifuzi kyonna) ebiva ku oba ebyekuusa ku kumenya kwo okw`Endagaano eno oba ggwe okumenya etteeka lyonna, ekiragiro oba ekifugiso, oba eddembe ly`omuntu omulala yenna.
  7. OBUGULANYI KU KATALE KA PAXFUL

    Ekibanja kikkiriza abakozesa okusaba ebivuganyo okusobola okugula oba okutunda Ebyobugagga bya Digito.

    Omukozesa bwatandikawo obugulanyi okugula oba okutunda Ebyobugagga bya Digito, obugulanyi butuukirizibwa okusinziira ku Ndagaano eno n`obukalu obwongerezebwako, bwe bubaawo, nga bulambuluddwa omukozesa oba banne b`omukozesa. Okuluŋŋamya okw`omutendera-ku-mutendera ku ngeri y`okugula n`okutunda Ebyobugagga ebya Digito mu Katale ka Paxful okusobola okusangibwa ku https://support.paxful.com/support/solutions/150000191612.

    Obukalu obwawamu buno bukola ku buli bugulanyi obunnyonnyoddwa wammanga:

    1. Okugula Ebyobugagga bya Digito okuyita mu kusaba ekivuganyo.

      Ng`ogula Ebyobugagga bya Digito mu Katale ka Paxful:

      1. Tewali bisale ku Nsibo ya Paxful ng`ekitundu ku bugulanyi obusasulibwa Abaguzi ku Katale kaffe.
      2. Ebivuganyo ebiva mu banywanyi ba Paxful birina obukalu n`obukwakkulizo obwabyo era buli kivuganyo kijja kwawukana mu bbeeyi y`okuwaanyisa, obwangu mu kuwaanyisa, obukalu n`obukwakkulizo obulala obuteekebwawo Omutunzi. Bw`okkiriza ekivuganyo ky`Omutunzi oba okkiriza okusibibwa obukalu n`obukwakkulizo bw`ekivuganyo ekyo. Obukalu n`obukwakkulizo obulagiddwa Omutunzi buba butuufu mu mbeera yonna okuggyako nga bukontana oba nga bumenya Endagaano eno, nga tebuli mu mateeka, tebusaanidde oba nga buzibu okugondera (nga bwe kiba kisaliddwawo Paxful mu buyinza bwayo obwenkomeredde), oba singa abakozesa bombi mu bugulanyi bakkaanya okukyusa mu bukalu n`obukwakkulizo bw`ekivuganyo ng`ekyo. BUVUNAANYIZIBWA BWO OKUSOMA N`OBWEGENDEREZA OBUKALU N`OBUKWAKKULIZO BW`OMUTUNZI KU KIVUGANYO ERA OBUGOBERERE NGA BWE BULI. SINGA TOGOBERERA BUKALU NA BUKWAKKULIZO BWA KIVUGANYO, OBUSASUZI BWO TEBUJJA KUKKIRIZIBWA. TOSASULANGA OKUGGYAKO NG`OGOBEREDDE OBUKALU BWONNA N`OBUKWAKKULIZO OBULAGIDDWA KU KIVUGANYO.SINGA OSASULA NGA TOGOBEREDDE BUKALU NA BUKWAKKULIZO, PAXFUL TEYINZA KUKUYAMBA MU NG`OKOLA KU KWEMULUGUNYA OKUSOBOLA OKUKOMYAWO SSENTE ZO.
      3. Okukakasa obusasuzi n`okuteekawo ebyokugoberera okusobola okusumulula Ebyobugagga bya Digito okuva mu Nsibo ya Paxful buvunaanyizibwa bwa Mutunzi yekka so si bwa Paxful. Singa Omutunzi takuweereza Byabugagga bya Digito ng`omaze okuggusa obulungi obukalu n`obukwakkulizo bw`Omutunzi, mangu ddala loopa ensonga eno ng`oyita ku ppeesa ly`okwemulugunya eryateekebwawo mu kunyumya kw`obugulanyi obwo bwennyini. Abayambi ba Paxful bajja kwekenneenya era bagonjoole okwemulugunya. Emitendera gy`okugonjoola okwemulugunya gyongera okunnyonnyolwa wammanga mu "Katundu 8 - Okwemulugunya ku Bugulanyi Okuyita mu Mitendera gya Paxful Emigonjoozi." Bw`otagoberera mitendera gya kugonjoola kwemulugunya, Paxful tejja kusobola kukuyamba ku nsonga eno.
    2. Okutunda Ebyobugagga bya Digito

      Bw`oba otunda Ebyobugagga bya Digito ku Katale ka Paxful:

      1. Abatunzi balina okukakasa n`okukola ku by`ensasula mu kiseera ekisaanidde, era mu kiseera nga bwe kiba kiragiddwa mu bukalu bw`ekivuganyo. Singa Omuguzi akusasula okusinziira ku bukalu bw`ekivuganyo, guba mulimu gwo era buvunaanyizibwa bwo okukakasa n`okukola ku by`ensasula mu bwangu olwo osumulule Ebyobugagga bya Digito okuva mu nsibo ya Paxful era obiweereze eri Omuguzi. Bw`otagoberera bya kugoberera ebiri ku kivuganyo, oyinza obutakkirizibwa kuddizibwa Byabugagga ebya Digito ebisibiddwa.
      2. Nga ggwe Omutunzi okkiriza obubi bwonna n`okufiirizibwa olw`okumenya Endagaano eno okw`engeri yonna okuvudde ku kutunda Ebyobugagga bya Digito. Emisolo gyonna egirina okusasulibwa buvunaanyizibwa bwo. Paxful ekusalako ebisale nga ggwe Omutunzi w`Ebyobugagga bya Digito olw`okusibira Ebyobugagga bya Digito mu Nsibo ya Paxful ebiba birina okutundibwa. Okuggyako nga kisaliddwawo Paxful mu buyinza bwayo obw`enkomeredde, Paxful tejja kuddiza Mutunzi sente yonna olw`okufiirizibwa oba nga kizzeewo lwa kumenya Ndagaano eno, bukumpanya oba olw`ensonga endala era ebisale byaffe tebijja kukuddizibwa mu mbeera yonna.
      3. Obusasuzi bwonna obufunibwa bulina okukolebwako era ne bukakasibwa nti bufuniddwa nga tonnasumulula Byabugagga bya Digito okuva mu Nsibo ya Paxful. Paxful tevunaanyizibwa ku kufiirizibwa kwo singa osumulula Ebyobugagga bya Digito mangu ng`okusasula tekukakasiddwa era ng`okufunye bulungi. Olina okuba ng`ogoberera bulungi era ng`oyanukula Omuguzi wo. Olina okuggyako ebivuganyo byonna ebitaliiko.
      4. Okulanga kwonna okw`ekibanja kyo eky`obwannannyini mu kanyomero konna ak`Akatale ka Paxful (okugeza nga ebikukwatako, obukalu bw`ebivuganyo oba okunyumya kw`obugulanyi) nga bijja kuyambako mu kugula oba okutunda Ebyobugagga bya Digito wabweru w`Empeereza za Paxful tekikkirizibwa n`akatono. Mu mbeera entono ddala, kikkirizibwa okugabana ekibanja kyo ekyaggulwawo ku lw`Omuguzi okusasulirwako okusobola okuggusa obugulanyi (kwe kugamba okukola ku debit/credit kaadi z`abantu abalala abeesigika) mu byokugoberera by`obugulanyi; kasita kiba nti okukozesa ebibanja by`ewabweru ebyo kitegeerekese bulungi mu bukalu bw`ebivuganyo era ebibanja ng`ebyo biyinza obutabaamu bulango bulala bwonna oba ebikwata ku kukuwuliza.
    3. Okugoberera Amateeka

      1. Paxful n`Empeereza tebirina kakwate obwa okwekuusa ku newankubadde okuwagirwa oba okuvujjirirwa omuntu omulala yenna, omuli naye nga si bye byokka afulumya kaadi y`ekirabo yenna. Obubonero bw`ebyamaguzi obulondeddwa, amannya ga bizinensi, n`ebirambiso byonna bya bannannyini baabyo. Paxful n`Empeereza zaayo tebiwagirwa, tebivujjirirwa, tebirina kakwate oba okwekuusa mu ngeri yonna ne oba ku bannannyini abo.
      2. Paxful terina lukusa lwa kutunda kaadi za kirabo oba olukusa okutundira omufulumya wa kaadi z`ekirabo yenna. Kaadi z`ekirabo zonna z`ofuna okuva ku mukozesa okuyita ku Katale ka Paxful zifugibwa obukalu n`obukwakkulizo bw`omusuubuzi oyo agirinako obuyinza okugisuubuza (“Afulumya”). Paxful tevunaanyizibwa ku bikolwa oba okwerabira kw`Omufulumya (Abafulumya), oba ebisale byonna, ennaku z`omwezi lwe biggwako, ebibonerezo, oba obukalu n`obukwakkulizo obwekuusa ku Mukozi wa kaadi y`ekirabo by`ofuna nga weeyambisa Akatale ka Paxful. Okufuna kaadi y`ekirabo okuva ku mukozesa, okkaanya nti osomye obukalu n`obukwakkulizo bwa kaadi y`ekirabo, era okakasa Paxful nti ogwanira okukozesa kaadi z`ebirabo ezo mu bukalu n`obukwakkulizo bw`Afulumya kaadi y`ekirabo, oba mu mateeka agakola.
      3. OKUKOLA OBWA BBULOOKA OBA OKUDDAMU OKUTUNDA KAADI Z`EKIRABO TEKIKKIRIZIBWA N`AKATONO KU KIBANJA N`AKATALE KAFFE. OLINA OKUBA NGA GGWE NNANNYINI WA KAADI Y`EKIRABO OMUTUUFU ERA OLW`OSABA KWA PAXFUL OKKIRIZA OKUWA PAXFUL OBUKAKAFU BW`OBWANNANYINI OBUTUUFU OBWA KAADI Y`EKIRABO (NGA ALISIITI). PAXFUL TEVUNAANA, TEKIIKIRIRA OBA OKWEYAMU NTI ENGERI Z`OKUSASULA EZ`OMULALA KU KIBANJA ZIKKIRIZA OBUGULANYI OBUYISIBWA KU MPEEREZA YA PAXFUL, OBA NTI ENGERI Z`OKUSASULA EZ`ABALALA KU KIBANJA KYAFFE ZIWAGIRA OBA ZIWAGIRWA EMPEEREZA ZAFFE. TOLINA KUKOZESA NGERI ZA KUSASULA EZ`ABALALA NG`EZO NG`OKOZESA PAXFUL SINGA ABALALA ABO TEBAZIKKIRIZA
      4. OVUNAANYIZIBWA MU BUJJUVU OKUGOBERERA AMATEEKA GONNA N`EBIFUGISO BY`EKITUNDU (EBITUNDU) OBUGULANYI BWO GYE BUKOLERWA.
      5. Obugulanyi bwonna bulina kukolerwa ku Paxful. Okufulumya obugulanyi wabweru w`ekibanja kya Paxful oba okuwaanyisaganya ebikwata ku kukuwuliza tekikkirizibwa n`akatono.
    4. Okukugirwa mu Kusindika. Tuyinza, mu buyinza bwaffe obwenkomeredde, okuteekawo ekkomo oba okukugira ku bunene, ekika, oba engeri yonna eteeseddwa ey`okusindika obugulanyi, ekkomo okugeza ku mugatte gw`omuwendo gw`Ebyobugagga bya Digito ebiyinza okuteekebwayo nga okutundibwa.
    5. Tewali Bweyamu. Paxful tekuwa bweyamu nti ojja kusobola okutunda Ebyobugagga bya Digito ku Katale kaayo.Ekikolwa ky`okugula oba okutunda Ebyobugagga bya Digito ng`oyita ku Katale ka Paxful tekitegeeza nti ojja kusobola okugula oba okutunda Ebyobugagga bya Digito ku Katale mu biseera ebijja.
    6. Enkolagana. Tewali kintu mu Ndagaano eno kigendereddwamu oba ekinaatondawo enkolagana, okukolera emirimu awamu, busigire, kwebuuzibwako oba buyima, wakati wo ne Paxful okuggyako okuwaŋŋana ekitiibwa ng`abakozi b`emirimu abeetengeredde
    7. Obutuufu bw`Obubaka. Okiikirira era okakasa nti obubaka bwonna bw`owaayo okuyita mu Mpeereza butuufu era bujjuvu. Okkiriza era okkaanya nti Paxful tevunaanyizibwa ku nsobi zonna oba okulekayo kw`okola nga kwekuusa ku bugulanyi bwonna obutandikiddwawo okuyitira mu Mpeereza, okugeza, singa okolamu ensobi ng`owandiika endagiriro ya Waleti oba n`owaayo obubaka obukyamu. Tukukubiriza nnyo okwekebejja n`obwegendereza ebikwata ku bugulanyi bwo nga tonnaba kubuggusa ng`oyita mu Mpeereza.
    8. Tewali Kusazaamu oba Okutereezaamu; Ebikolebwa mu Waleti. Singa ebikwata ku bugulanyi biba biweereddwayo mu muyungiro gwa ssente za digito okuyita mu Mpeereza, Paxful teyinza kukuyambako mu kusazaamu oba kutereezaamu mu bugulanyi bwo. Paxful terina buyinza ku muyungiro gwa ssente za digito era terina busobozi kuyambako mu kusaba kw`okusazaamu oba okutereezaamu kwonna. Paxful tetereka oba okukuuma Byabugagga bya Digito byonna ebisibiddwa. Ebyobugagga bya Digito bikuumibwa ku miyungiro gyabyo oba mu tterekero ery`awamu. Obugulanyi bwa ssente za digito bwonna bukolerwa mu muyungiro gwa ssente za digito gwennyini, wabula si ku Paxful. Tewali bukakafu nti obugulanyi bunaakolebwa ku muyungiro gwa ssente za digito. Paxful yeesigaliza obuyinza okugaana okukola ku bugulanyi bwe kiba kyetaagisa okusinziira ku mateeka oba bwe tukizuula nti obugulanyi buyinza okuba nga bumenya obukalu n`obukwakkulizo obuli mu Ndagaano eno. Kaakano okkiriza era okkaanya nti ovunaanyizibwa mu bujjuvu ku byonna ebikolebwa mu waleti yo era okkiriza akabi konna akali mu kuyingira mu waleti yo oba nga okkiriza oba nga tokkirizza, mu ngeri yonna ekkirizibwa mu mateeka.
    9. Emisolo. Buvunaanyizibwa bwo okumanya misolo ki, singa gibaawo, egiteekebwa ku bugulanyi obwo bwoweereddeyo ebikwata ku bugulanyi ng`oyita mu Mpeereza, era buvunaanyizibwa bwo okuloopa n`okusasula omusolo omutuufu eri ekitongole ekisolooza emisolo. Okkiriziganya nti Paxful tevunaanyizibwa ku kusalawo oba nga emisolo giteekebwa ku bugulanyi bwo oba ssente za digito oba okukuŋŋaanya, okuloopa, okusoloolezaako oba okusasulira emisolo gyonna egiva mu bugulanyi bwonna obwa ssente za digito.
    10. Obumanyifu bw`Omukozesa. Bwe weenyigira mu Bugulanyi, tukkiriza abakozesa abalala okuwaayo okuddibwamu kwabwe ku ngeri gye batabaganye naawe. Era tukkiriza abakozesa okuwaayo alipoota singa abakozesa balowooza nti wamenye Endagaano eno mu ngeri yonna. Alipoota zino za kyama, naye tuyinza okuzikozesa mu kwemulugunya nga bwe kirambikiddwa mu Katundu ak`o 8.
    11. Ebyafaayo by`Obugulanyi. Oyinza okulaba ebyafaayo by`obugulanyi okuyita mu Akaawunti yo. Okiiriziganya nti okulemererwa kw`Empeereza okukuwa okukakasibwa ng`okwo tekijja kuleeta kyekubiira oba okusazaamu obukalu bw`obugulanyi ng`obwo.
    12. Paxful Pay. Paxful ewadde olukusa abasuubuzi abamu okukkiriza Paxful ng`engeri y`okusasulira okugula ebintu n`empeereza ku mutimbagano ("Abasuubuzi Abalina Olukusa"). Oyinza okusasula Omusuubuzi Alina Olukusa ng`olonda enkola ya "Paxful Pay" w`okeberera ebintu oba mu kiseera ky`okusasula. Paxful Pay ejja kukutwala ku Katale kaffe okusobola okulaba ebyobugagga bya Digito ebiri mu akaawunti yo oba okukuyunga ku Mutunzi. Singa ogula Ebyobugagga bya Digito okuva ku Mutunzi okuggusa obugulanyi, obukalu obuteekeddwa mu Kawaayiro 7.1 ak`Endagaano eno buggya kukola.
    13. Ebyamaguzi by`Omusuubuzi. Paxful tevunaanyizibwa ku byamaguzi oba empeereza by`oyinza okugula ku Musuubuzi Alina Olukusa ng`okozesa akaawunti yo oba ekintu kya Paxful Pay. Singa ofuna obutakkaanya n`Omusuubuzi yenna Alina Olukusa, olina okubugonjoola buteerevu n`Omusuubuzi oyo Alina Olukusa.
    14. Okukomyawo, Okuddiza. Bw`ogula ekyamaguzi oba empeereza okuva ku mulala ng`okozesa Akaawunti yo, kiba kiwedde. Tetukola ku bya kuddiza oba kukomyawo. Omusuubuzi Eyakkirizibwa ayinza okukomyawo, okukuterekera ssente oba kaadi y`ekirabo nga bw`aba ayagadde era ng`enkola ye bweri.
    15. Paxful esala ebisale by`Empeereza, ebisale ebisaanira bijja kukulagibwa nga tonnaba kukozesa Buweereza bwonna obuliko ebisale. Laba “Ebisale bya Paxful” okumanya ebisingawo. Ebisale byaffe bisobola okukyuka era Paxful yeesigaliza obuyinza okukyusakyusaamu mu ngereka y`emiwendo n`ebisale akaseera konna.
  8. OKWEMULUGUNYA KU BUGULANYI OKUYITA MU NKOLA YA PAXFUL EY`OKUGONJOOLA OKWEMULUGUNYA.

    1. Okwemulugunya ku Bugulanyi. Ebiseera ebisinga, engeri esinga obwangu okugonjoola okwemulugunya ya Baguzi kwogerezeganya na Batunzi, okukolera awamu okusobola okumanya ekyabaddewo, era ne mutuuka ku nzikiriziganya. Omuguzi oba Omutunzi nga tebasobola kutuuka ku nzikiriziganya, ttiimu y`abayambi eya Paxful (“Obuyambi bwa Paxful”) esobola okuyamba. Enjuyi zombi ziyinza okutandikawo enkola y`okugonjoola okwemulugunya (“obugulanyi obwemulugunyizibwako” oba “okwemulugunya”) okusinziira ku bugulanyi. Obutakkaanya buyinza kutandikibwawo ku bugulanyi bwokka obulambiddwa Omuguzi nti busasuddwa mu bujjuvu. Obugulanyi obutalambiddwa nti busasuddwa Omuguzi, busaziddwamu Omuguzi, obwesazizzaamu bwokka olw`obudde obwategekebwa mu kivuganyo okuyitako , bwemulugunyizibwako dda era ne bugonjoolwa oba ng`Omutunzi yaweerezza Ebyobugagga bya Digito eri Omuguzi okutwaliza awamu tebusobola kwemulugunyizibwako, kuzzibwa mabega, oba okubukyusa.
    2. Emitendera gy`Okugonjoola Okwemulugunya. Wammanga gye mitendera Abayambi ba Paxful gye bayitamu singa wabaawo okwemulugunya.

      1. Okutandikawo

        Osobola okutandikawo okwemulugunya ng`osoose kuyingira mu Akaawunti yo eya Paxful, n`oggulawo obugulanyi bw`oyagala okwemulugunyako era n`onyiga eppeesa lya "kwemulugunya". Eppeesa "ly`Okwemulugunya" lijja kweyoleka nti likola singa obugulanyi buba bulambiddwa nti busasuddwa Omuguzi mu bujjuvu. Singa otandikawo okwemulugunya, ojja kulondako ettuluba ly`okwemulugunya okuva ku by`okulondako ebikuweebwa era onnyonnyole ensonga ekuviiriddeko okwemulugunya.

        Ebyokulondako ebikuweebwa olw`okunnyonnyola okwemulugunya kwo singa oba Mutunzi bye bino wammanga:

        • Omusibi w`ebinusu (kwe kugamba Omuguzi atayanukula) – Omuguzi alambye obugulanyi nti busasuddwa mu bujjuvu, kyokka nga tayanukula era nga taliiko.
        • Ensonga ku Kusasula – Omuguzi kwali era agezezzaako okusasula, naye waliwo ensonga ku kusasula.
        • Endala – eky`okulondako ekitaliiko kkomo w`osobolera okunnyonnyola ensonga eyakuviiriddeko okwemulugunya. Omuguzi ajja kuba asobola okulaba okunnyonnyola kwo.

        Ebyokulondako ebikuweebwa okunnyonnyola okwemulugunya kwo singa oba Muguzi bye bino wammanga:

        • Omutunzi atayanukula – osasudde, naye Omutunzi nga tayanukula era nga taliiko.
        • Ensonga ku kusasula – osasudde, naye Omutunzi agamba nti waliwo ensonga n`ensasula era n`agaana okuweereza Ebyobugaga bya Digito.
        • Endala – ekyokulondako ekitaliiko kkomo w`osobola okunnyonnyola ensonga eyakuviiriddeko okwemulugunya. Omutunzi ajja kusobola okulaba okunnyonnyola kwo.
      2. Akamanyiso

        Singa okwemulugunya kuba kuweereddwayo, Omuyambi wa Paxful ajja kutegeezako munno okuyita ku email n`okusindika obubaka okuyitira ku nkola y`okunyumya kw`obugulanyi eriwo ku lw`Abaguzi n`Abatunzi mu Katale okumubagulizaako nti waliwo muntu atandiseewo okwemulugunya. Singa obumu ku bugulanyi bwo buba bwemulugunyizibwako, Omuyambi wa Paxful ajja kukubuulira obugulanyi bwennyini obwemulugunyizibwako era n`ensonga lwaki.

      3. Okwanukula

        Wekebejje okwemulugunya era onnyonnyole Omuyambi wa Paxful ekyabaddewo. Yongerezaako obujulizi bw`olina okukkaatiriza ky`onnyonnyodde, nga ekikakaso ky`okusasula, ekikakaso ky`obwannanyini oba ekikakasa nti osasuddwa oba tonnaba.

      4. Okwekebejja kwa Paxful

        Obugulanyi obwemulugunyizibwako bujja kunoonyerezebwako Omuyambi wa Paxful, era okusalawo kujja kukolebwa okusinziira ku bujulizi obuweereddwayo enjuuyi zombi. Omuyambi wa Paxful agonjoola okwemulugunya ng`asengejja ensonga ez`enjawulo nga bwe zinnyonnyoddwa wansi mu Katundu ak`o 8.

    3. Okwekebejja Okwemulugunya. Mu kaseera k`okwekebejja okwemulugunya, Omuyambi wa Paxful ayinza okukuwa ebyokugoberera bye weetaaga okugoberera. Ebyokugoberera ebikuweebwa muyinza okubaamu okusabibwa okuwaayo obujulizi obw`ennyongereza, ng`okukakasa ID, ekikakaso ky`okusasula, ekifaananyi kyonna, eddoboozi, oba obujulizi bwa viidiyo, oba ekiwandiiko ekirala kyonna Paxful ky`eba erabye nti kya mugaso era nga kijja kukwetaagisa okuwaayo obujulizi mu kaseera akagere. Okulemererwa okugoberera ebyokugoberera kiyinza okukuleetera okumeggebwa okwemulugunya. Omuyambi wa Paxful ajja kussaawo ekimanyiso ku kusalawo kwayo ng`ayitira mu nkola y`okunyumya kw`obugulanyi eri mu Katale mu nnaku 30 ng`okwemulugunya kufuniddwa, naye mu mbeera ezimu ebbanga lino liyinza okuwanvuwako.
    4. Obutayanukula. Bw`oba weenyigidde mu bugulanyi, kikulu nnyo osigale nga kw`oli era ng`ofunika okuviira ddala mu budde obugulanyi lwe butandika okutuusa lwe buggusibwa, lwe busazibwamu, oba okugonjoolwa. Kino kitegeeza nti oteekwa okuba ng`osobola okwanukula eri okusaba kw`Omuyambi wa Paxful mu bugulanyi obuba bwemulugunyizibwako mu kaseera akaba kakuweereddwa Omuyambi wa Paxful oba oyinza okutwaliba ng`atayanukula era okwemulugunya kuyinza okukumegga.
    5. Okuzzaayo ssente. Oluuyi olumu luyinza okuba mu kabi akalala okusinziira ku ngeri y`okusasula ekozeseddwa mu bugulanyi ne bwe kiba nti Paxful ng`egenda mu maaso n`okugonjoola okwemulugunya oluuyi olwo lwe lwasinze omusango. Enkola y`okugonjoola okwemulugunya eyateekebwawo mu ndagaano eno ya njawulo okuva ku kutangira kwonna Omuguzi oba Omutunzi kw`ayinza okuba nakwo okuyita mu ngeri y`okusasula eba ekozeseddwa mu bugulanyi. Paxful tekigikakatako kutandikawo oba kukwasaganya kuzzaayo ssente era tevunaanyizibwa singa oluuyi olumu lwekyusa, luzzaayo ssente, oba luwakanya obugulanyi okuyita mu nkola eruteereddwawo okuyita mu ngeri y`okusasula eba ekozeseddwa mu bugulanyi, omuli n`oluvannyuma lw`okuggalawo okwemulugunya.
    6. Okugonjoola Okwemulugunya. Obugulanyi obwemulugunyizibwako ebiseera ebisinga bugonjoolwa Omuyambi wa Paxful nga aweereza Ebyobugaga bya Digito ebiriko enkaayana eri Omuguzi oba Omutunzi eyeemulugunya ku bugulanyi singa okugonjoola okwemulugunya kuba kugguse.

      Wammanga ze mbeera ezirondobeddwamu okukuwa ekifaananyi ku ngeri Paxful gy`eyinza okugonjoolamu okwemulugunya. Kino tekitegeeza nti olukalala luweddeyo. Eŋŋonjoola y`okwemulugunya kwonna ejja kwesigamizibwa ku nsonga entuufu ez`okwemulugunya n`obukakafu obuleeteddwa abakozesa.

      Omuyambi wa Paxful ayinza okugonjoola okwemulugunya awanguza Omuguzi singa waakiri akamu ku bukwakkulizo buno buba butuukiriziddwa:

      • Ng`Omuguzi asasudde okusinziira ku byokugoberera ebyasoose okuteekebwawo Omutunzi okusinziira ku bugulanyi bw`ekivuganyo era Omuguzi ng`awaddeyo obukakafu obumala nti asasudde okusinziira ku by`okugoberera bino. Kuba kumenya Ndagaano eno Omutunzi bw`agaana okuggusa obugulanyi singa Omuguzi aba atuukirizza obukalu n`obukwakkulizo bw`Omutunzi bwonna nga bwe buba bwalagiddwa mu kaseera Omuguzi we yakkiririzza era n`asasulira obugulanyi.
      • Ng`Omutunzi takyayanukula era nga tayanukudde kimala mu budde obugere obuba buteereddwawo Omuyambi wa Paxful.
      • Ng`asasuddwa muntu mulala mu bugulanyi oba ng`obusasuzi bukoleddwa ku akaawunti etali mpandiise mu mannya g`Omutunzi.

      Omuyambi wa Paxful ayinza okugonjoola okwemulugunya ng`awanguza Omutunzi singa akamu ku bukwakkulizo buno buba butuukiriziddwa:

      • Ng`Omuguzi tasasudde, tasasudde mu bujjuvu oba nga tasasudde ng`okusinziira ku byokugoberera ebyamuweereddwa Omutunzi nga bwekiri mu kivuganyo ky`obugulanyi.
      • Ng`obusasuzi obukoleddwa Omuguzi nga bukwatiddwa, buyimiriziddwa, bukaligiddwa envumbo oba nga bukomezeddwa agabirira empereeza y`okusasula oba akola ku kusasula. Kino kitwaliramu embeera ng`Omuguzi alina okuzzaayo ssente oba obusuubuzi obwemulugunyizibwako okuyita mu bbanka ye oba ekitongole ekifulumya kaadi y`okusasula.
      • Ng`Omuguzi takyayanukula era nga tayanukudde kimala mu budde obugere obuba buteereddwawo Omuyambi wa Paxful.
      • Ng`asasuddwa muntu mulala mu bugulanyi oba ng`obusasuzi bukoleddwa okuva ku akaawunti etali mpandiise mu mannya g`Omuguzi.

      Singa Omuguzi oba Omutunzi mu bugulanyi obwemulugunyizibwako awaayo obubaka obw`ekikumpanya oba ebiwandiiko ebicupule oba n`awaayiriza oba mu ngeri yonna n`akozesa obukodyo bw`okulimba, okwemulugunya kuyinza okugonjoolwa mbagirawo era omukozesa oyo n`ameggebwa era ne akaawunti ye eyinza okuyimirizibwa oba okusazibwamu ng`Omuyambi wa Paxful bw`aba asazeewo.

      Mu mbeera ezimu nga enjuyi zombi tezituukirizza bukwakkulizo, oba mu ngeri endala ezitategeerekeka oba ezitasoboka kumanya luuyi ki olutuukirizza obukwakkulizo bw`okugonjoola okwemulugunya mu buyinza n`okusalawo kwa Paxful, Paxful eyinza okusalawo okugonjoola okwemulugunya ng`eyawuzaamu Ebyobugagga bya Digito ebiba bikaayanirwa n`ebigabanizibwa Omuguzi n`Omutunzi kyenkanyi oba mu kusiŋŋana.

    7. Okujulira. Singa olowooza nti Paxful temulungudde butakkaanya mu ngeri eri mu Ndagaano eno, olina eddembe okusaba okujulira. Okusaba okujulira, olina okututegeezaako mu bwangu mu buwandiike ng`owuliza abayambi ba kasitooma aba Paxful obutasukka nnaku 10 oluvannyuma lw`ekimanyiso ky`Omuyambi wa Paxful ku ngeri gy`akozeemu obulamuzi bwe era otuwe obubaka obumala ate mu bujjuvu era n`obujulizi obukkaatiriza ensonga yo gy`ojulirako. Okujulira kwo kulina okulambulula bulungi ensonga gy`osinziirako okulowooza nti Paxful yagonjodde mu bukyamu okwemulugunya okusinziira ku bukalu bw`Endagaano eno era oweeyo n`obujulizi ku kusalawo okukyamu okwo.

      Mwattu jjukira nti oba mu kaseera k`okwemulugunya oba mu mbeera endala ng`okozesa Empeereza yaffe, kikukakatako okusigala n`goli mukkakkamu era ng`ossa ekitiibwa mu bakozesa abalala n`Abayambi ba Paxful. Laba okutwaliza awamu, "Akatundu 13 - Enkozesa Etakkirizibwa".

    8. Akamalirizo. Okkaanya era okkiriza nti okusalawo kwa Paxful ku kwemulugunya kwa nkomeredde, kwe kusembayo era kusiba nga bwe kirambuluddwa mu Ndagaano eno. Paxful tejja tevunaanyizibwa eri Omuguzi oba Omutunzi olw`okusalawo kuno.
  9. EBISALE BY`OKUKOZESA EMPEEREZA ZA PAXFUL

    1. Okuteekawo waleti kya bwereere. Paxful esala ebisale olw`Empeereza, ebisale ebituukirako bijja kukulagibwa nga tonnaba kukozesa Mpeereza zisasulirwa bisale. Laba “Ebisale bya Paxful” okumanya ebisingawo. Ebisale byaffe bisobola okukyuka era Paxful yeesigaliza obuyinza okukyusakyusaamu mu ngereka y`emiwendo n`ebisale akaseera konna.
  10. TEWALI LUKUSA KUSAZAAMU MPEEREZA OBA EBISALE BY`OKUTEEKAKO EBIVUGANYO

    1. Singa okozesa Empeereza esasuza ebisale, oba n`otandikawo obugulanyi obuliko ebisale by`okukakasa okuyita mu Mpeereza, ojja kuba tosaana kuddizibwa ssente oba okusasulibwa bw`oba okakasizza nti oyagala kweyongerayo n`Empeereza oba obugulanyi.
  11. OKUYIMIRIZA EMPEEREZA

    1. Mu buyinza bwaffe, tuyinza awatali kukuggyako bisale, nga tusoose oba nga tetusoose kukumanyisa era akaseera konna, okukyusa oba okuyimiriza, ekitundu kyonna eky`Empeereza zaffe okumala akaseera akagere oba olubeerera.
  12. OKUYIMIRIZA OBA OKUSAZAAMU EMPEEREZA & AKAAWUNTI; OKUKUKUGIRA OKUGENDA KU WALETI YO

    1. Mu buyinza bwaffe obwenkomeredde tuyinza, mbagirawo awatali kusooka kukumanyisa: (a) okuyimiriza, okukugira oba okusazaamu obusobozi bwo okufuna ezimu ku oba empeereza zaffe zonna (omuli n`okukugirwa okuyingira mu Waleti yo), ne/oba (b) okuggyako oba okusazaamu akaawunti yo singa: (i) tuba tusabiddwa amateeka, semanisi entuufu, ekiragiro kya kkooti, oba ekiragiro kya gavumenti; (ii) tukuteebereza nti olina oba oyinza okweyisa mu ngeri emenya Endagaano eno; (iii) okukozesa akaawunti yo kisinziira ku musango ogutannaggwa, okunoonyerezebwako, oba omusango gwa gavumenti ogugenda mu maaso ne/oba ne tulowooza nti waliwo akabi ak`amaanyi mu mateeka oba obutagoberera bifugiso ebyekuusa ku bikolebwa ku akaawunti yo; (iv) bannaffe mu by`empeereza tebasobola kuwagira nkozesa yo; (v) okola ekikolwa kye tutwala okuba nti ogezaako kwebalama okukomwako n`emitendera gyaffe oba (vi) tulowooza nti kyetaaagisa okukikola okusobola ffe okwekuuma, abakozesa baffe, nga naawe mw`oli, oba abakozi baffe okwetangira obulabe oba okufiirizibwa. Singa tuteeka mu nkola eddembe lyaffe okukukugira oba okukugaana okufuna Empeereza, tujja kuba tetuvunaanyizibwa ku byonna ebiva mu kugaaana kwaffe okukuwa obusobozi okufuna Empeereza, omuli okulwisibwa kwonna, okwonoonerwa, oba okutaataaganyizibwa by`oyinza okusanga nga biva kw`ekyo.
    2. Bwe tuyimiriza oba okuggalawo akaawunti yo, okuggyawo enkozesa yo ey`Empeereza ku lw`ensonga yonna, oba okukugirwa okuyingira mu Waleti yo, tujja kugezaako okukuwa ekimanyiso ku bikolwa byaffe okuggyako nga ekiragiro kya kkooti oba enkola endala eziri mu mateeka nga zitugaana okukuwa ekimanyiso ng`ekyo. OKKAANYA NTI OKUSALAWO KWAFFE OKUKOLA EBIKOLWA EBIMU, OMULI OKUKUGIRA OKUTUUKA KU, OKUYIMIRIZA, OBA OKUGGALAWO AKAAWUNTI YO OBA WALETI, OBA OLI AWO KISINZIDDE KU BUKWAKKULIZO BW`EBYAMA OBUKULU ENNYO NGA TUKWASAGANYA AKABI N`EMITENDERA GY`EBYOKWERINDA. OKKIRIZA NTI PAXFUL TEKIGIKAKATAKO KUKUTEGEEZA NKOLA Y`AYO EY`OKUKWASAGANYA AKABI N`EMITENDERA GY`EBYOKWERINDA. Mu mbeera nga tuyimirizza akaawunti yo oba nga tosobola kutuuka ku waleti yo, tujja kuggyawo okuyimirizibwa okwo amangu ddala nga bwe kisoboka singa ensonga z`okuyimirizibwa ziba tezikyaliwo, naye tekitukakatako kukumanyisa ddi (singa kibaawo) okuyimirizibwa okwo lwe kuliggyibwawo.
    3. Bw`oba okuumira Ebyobugagga ebya Digito mu Waleti yo eya Paxful ate nga tewabaddeewo bikolebwa mu akaawunti yo okumala ebbanga eriragibwa mu mateeka, tuyinza okwetaaga okuloopa Ebyobugagga bya Digito ebyo ebiba bisigaddewo ku akaawunti yo ng`ebintu ebitaliiko nnyinibyo okusinziira ku bintu ebirekeddwawo n`amateera g`ebintu okuddira nnyinibyo. Singa kino kibaawo, tujja kukozesa kaweefube asaanidde okukumanyisa mu buwandiike. Singa olemererwa okwanukula ku kimanyiso nga kino mu nnaku musanvu (7) ez`okukola oluvannyuma lw`okufuna ekimanyiso, oba nga bwe kirambikiddwa mu mateeka, tuyinza okwetaagibwa okuwaayo Ebyobugagga bya Digito bwe bityo ng`okusalawo ku byamateeka ng`ebintu ebitaliko nnyinibyo. Twesigaliza obuyinza okusalako ebisale bya kigumaaza oba ebisale byonna eby`okulabirira ebintu okuva ku Byobugagga bya Digito ebyo ebiba bitakyalina nnyinibyo nga bwe kikkirizibwa mu mateeka.
    4. We reserve the right to reverse internally received Digital Assets to your Paxful Wallet back to the originating account if the owner of the originating account successfully demonstrates that the Digital Assets were transferred to your Paxful Wallet in error, and if there has been no activity in your account for a period of 24 months. If this occurs, we will use reasonable efforts to provide written notice to you. If you fail to respond to any such notice within 14 days, we may be required to reverse Digital Assets to the owner of the originating account.
  13. ENKOZESA ETAKKIRIZIBWA

    1. Bw`oba ofuna oba ng`okozesa Empeereza, okkiriza nti ojja kukozesa Empeereza okusinziira ku bukalu n`obukwakkulizo obuli mu Ndagaano eno (omuli Enkola ya Twekisize) era n`obutakola kikolwa kyonna kimenya mateeka, era nti ovunaanyizibwa nga ggwe ku ngeri gye weeyisaamu ng`okozesa Empeereza zaffe. Nga tokugiddwa, okkiriza nti tojja:
      1. kukozesa Mpeereza zaffe mu ngeri eremesa, etaataaganya, eyisa obubi oba eziyiza abakozesa abalala okweyagalira mu Mpeereza zaffe, oba eyinza okwonoona, okuggyako oba okuzitoowerera oba okukosa enkola z`Empeereza zaffe mu ngeri yonna;
      2. kwenyigira mu kikolwa kyonna ekiyinza kimenya, oba okuyambako mu kumenya, etteeka eggwandiike, ekiragiro, oba ekifugiso, puloogulaamu z`ebibonerezo ebiweebwa mu nsi gye tukolera bizinensi oba emirimu, oba ekiyinza okubaamu amagoba agava mu bintu ebimenya amateeka; okufulumya, okugaba, oba okusaasanya ebintu oba obubaka obumenya amateeka;
      3. kweyingiza mu nnyingira y`omukozesa omulala ku oba mu nkozesa y`Empeereza zaffe zonna; okuttattana, okuvuma, okukenula, okuteganya, okulondoola, okutiisatiisa oba okumenya oba okulinnyirira eddembe eriweebwa mu mateeka (nga, naye nga si bye byokka, eddembe lya twekisize, okwelanga n`obwannanyini ku biyiiye) ery`abakozesa abalala; okukuma omuliro mu bantu, okutiisatiisa, okuyambako, okutumbula, oba okuwagira obukyayi, obusosoze mu langi, oba ebikolwa ebyobulabe eri abalala; okufuna oba okukuŋŋaanya obubaka okuva ku Kibanja kyaffe obukwata ku bakozesa abalala.
      4. kwenyigira mu kikolwa kyonna ekigendeddwamu okukumpanya, okuttattana oba mu ngeri endala okwonoona Paxful oba abakozesa baffe; oba okuwaayo obubaka bwonna obukyamu, obutatuukiridde, obwobulimba oba obuwabya eri Paxful oba omukozesa omulala nga kyekuusa ku Mpeereza zaffe oba nga bwe kirambikidddwa oba nga bwe kyetaagisa okusinziira ku Ndagaano eno;
      5. okureeta mu Mpeereza ekiwuka kyonna, Trojan, worms, logic bombs oba ekintu kyonna eky`obulabe; okukozesa loboti, spider, crawler, scraper oba engeri zonna ezeekola zokka oba okweyingiza nga tezikuweereddwa ffe okusobola okufuna Empeereza zaffe oba okuggyako obubaka; okugezaako okwebalama engeri yonna esengejja obubaka gye tukozesa, oba okugezaako okufuna empeereza yonna oba ekitundu ky`Empeereza zaffe ky`otakkirizibwa kutuukamu; oba okuteeka ekirango kyonna oba okutumbula awantu wonna mu Katale kaffe aka Paxful ebiyinza okuyambako mu kugula n`okutunda Ebyobugagga bya Digito wabweru w`Empeereza za Paxful;
      6. okwenyigira mu bugulanyi obulimu ebintu ebityoboola oba okumenya amateeka g`obwannanyini ku biyiiye, akabonero k`ebyamaguzi, eddembe okulaalasa oba okukisa oba eddembe lyonna ku bwannanyini ku kintu mu mateeka, oba ebintu ebirala ebirina layisinsi nga tofunye lukusa lusaanidde okuva ewa nnannyini; okukozesa ebiyiiye bya Paxful, erinnya, oba logo, omuli okukozesa obubonero bw`obusuubuzi oba empeereza ya Paxful awatali kusooka kuweebwa lukusa mu buwandiike okuva gye tuli oba mu ngeri eyinza okukosa Paxful, oba erinnya lya Paxful; ekikolwa kyonna ekitegeeza okukakasa okukyamu nga weeyambisa oba okwekuusa ku Paxful; oba okukolawo okusaba kw`abantu abalala abakozesa Empeereza zaffe awatali kusooka kufuna lukusa luwandiike; oba
      7. okuwagira oba okusendasenda omuntu omulala yenna okwenyigira mu bikolwa byonna ebitakkirizibwa mu Kitundu kino eky`e 13.
  14. EDDEMBE LY`OBWANNANNYINI KU BIYIIYE

    1. Tukuwa layisinsi eriko ekkomo, etasosola, etayazikibwa eyeesigamiziddwa ku bukalu n`obukwakkulizo bw`Endagaano eno, okufuna n`okukozesa Empeereza, Ekibanja, n`ebirala ebiringa ebyo, ebintu, obubaka, (okutwaliza awamu, "Ebirimu") n`ekigendererwa ekikulu ekyakakasibwa Paxful buli kiseera. Enkozesa endala yonna ey`Ekibanja oba Ebirimu tekkirizibwa n`akatono n`eddembe eddala lyonna, erinnya, n`obwagazi mu Mpeereza, Ekibanja oba Ebiriko byonna byabugagga bya Paxful. Okkiriza nti tojja kukoppa, kutambuza, kugabana, kutunda, kuwa layisinsi, kwozaamu, kukyusakyusa, kufulumya, oba okwenyigira mu kutambuza oba okutunda kwa, okugeegeenya okuva ku, oba mu ngeri endala okukozesa ebimu ku Birimu, mu bujjuvu oba mu bitundutundu nga tosoose kufuna lukusa lwa Paxful mu buwandiike. Tojja kukoppa, kugeegeenya oba kukozesa kabonero ka Paxful ak`ebyamaguzi, obubonero obuwandiise, logo, oba obwannannyini ku bintu byonna ebiva mu kuyiiya awatali kusooka kufuna lukusa lwa Paxful mu buwandiike.
    2. Newankubadde tuluubirira okukuwa obubaka obutuufu ate mu budde ku Kibanja kya Paxful, Ekibanja kyaffe (omuli, ng`otwaliddemu, Ebiriko) biyinza obutaba bituufu byonna, bijjuvu oba ebyakaseera ako kennyini era biyinza okubaamu ebitateredde mu byekikugu oba ensobi mu mpandiika. Mu kaweefube w`okugenda mu maaso nga tukutuusaako obubaka obujjuvu ara obutuufu nga bwe kisobola, obubaka buyinza okukyusibwa oba okuzzibwa obuggya akadde konna awatali kumanyisa, ng`otwaliddemu obubaka obukwata ku nkola zaffe, ebyamaguzi n`Empeereza. Noolwekyo, olina okukakasa obubaka bwonna nga tonnaba kubwesigamako, era okusalawo kwonna okwesigamiziddwa ku bubaka obusangibwa ku Kibanja kya Paxful buvunaanyizibwa bwo ng`omuntu ssekinnoomu era tetujja kuvunaanyizibwa ku nsalawo eyo. Obubaka obuweebwa abantu abalala bwa kuyambako kumanyisa kyokka era Paxful tekiikirira oba tewa bweyamo ku butuufu bwabwo. Linki ezigenda ku bintu by`abantu abalala (omuli naye nga si kye kyokka, ebibanja) biyinza okuweebwayo ng`okukwanguyizaako naye nga tetubirinaako buvunaanyizibwa. Okimanyi era okkaanya nti tetuvunaanyizibwa ku kintu kyonna mu bubaka obwo, ebirimu, oba Empeereza obuli mu bintu oba ebibanja by`abalala ebisobola ebifunibwa oba ebiyungiddwa ku Kibanja kya Paxful.
  15. OKUDDIBWAMU N`EBITEESO BY`OMUKOZESA

    1. Paxful buli kaseera erafuubana okulongoosa Obuweereza bwayo n`Ekibanja kyayo. Bw`oba olina ekirowoozo kyonna oba ekiteeso ekikwata ku ngeri y`okutereeza oba okwongera ku Buweereza oba Ekibanja kya Paxful, twandyetaaze okubimanya; wabula, ebiteeso byonna bijja kwesigamizibwa ku bukalu n`obukwakkulizo obuli mu Ndagaano eno.
    2. Tewabeewo mbeera yonna okwasanguza kw`ekirowoozo oba okuddibwamu kwonna, oba ekintu kyonna ekyekuusa ku Paxful oba amatabi gaayo, nakazadde oba kkampuni ez`oluganda nayo, oba omu ku ba ofiisa baayo, ba dayirekita, ba maneja, ba mmemba, abalinamu emigabo, abakozi n`abasigire, oba omu ku basika baabwe, abanaaabaddira mu bigere, ababakiikirira n`abatume (nga buli omu "Munna Paxful" n`awamu, "Banna Paxful") we kibakakatako okukuuma ebyama oba okusuubira okuliyirirwa.
    3. Bw`owaayo ekirowoozo oba okuddibwamu oba ekintu ekirala kyonna ekikyefaananyiriza ekiyinza okufugibwa eddembe ly`obwannanyini ku biyiiye ("Omulimu") eri Paxful oba Munna Paxful, oba owadde Paxful, ku by`Omulimu oguweereddwayo, layisinsi ey`obwereere mu nsi yonna, ey`olubeerera, etasosola okukozesa ebintu byonna ebiri mu birowoozo ebyo n`okuddibwamu, okubyeyambisa nga bweyagala. Era, oba weggyeeko eddembe lyonna ly`obirinako erikkirizibwa wansi w`etteeka lya United States ly`oyinza okuba nalyo mu Mulimu nga gukiikirira n`okukakasa Banna Paxful nti Omulimu gwonna gwayiiyizibwa ggwe, era nti tewali muntu mulala yenna alina bwannannyini ku Mulimu era nti Banna Paxful basobola okukozesa Omulimu n`okweyambisa ebintu ebigwekuusaako singa baba baagadde, nga bwe kiragiddwa oba nga bwe kitereezeddwa Munna Paxful yenna, awatali kusooka kufuna lukusa oba layisinsi kuva wa muntu mulala yenna.
    4. Era oyongera okukkiriza nti Paxful eyinza nayo okuwa layisinsi ey`ekitundu Bannapaful abalala bonna okweyambisa mu ngeri yonna Omulimu gw`onna oba ekintu kyonna ky`owaddeyo.
    5. Tulina eddembe okuggyayo kyonna ky`oyinza okuteeka ku Kibanja, mu buyinza bwaffe obwenkomeredde, awatali kusooka kulabula oba kuwa nsonga yonna.
  16. ENGERI Y`OKUTUWULIZA

    Tukuwa amagezi okukyalira omuko gwaffe ogwa FAQ nga tonnatuwuliza. Mu mbeera ng`omuko gwa FAQ teguliiko bubaka bw`onoonya, Paxful erina obuyambi bwa 24/7. Osobola okutuwuliza okuyita ku kuuma kaffe ak`oku mutimbagano akasangibwa ku muko gwa FAQ.

  17. EKIBANO

    1. Tetuvunaanyizibwe olw`okulwisibwa, okulemererwa mu kukola oba okutaataaganyizibwa mu Mpeereza ebiva obutereevu oba mu butali butereevu mu mbeera yonna esukkuluma obuyinza bwaffe, omuli naya nga si bye byokka, enkyukakyuka mu katale ez`omuggundu, okulwisibwa oba okulemererwa kwonna nga kuva ku ngereka ya Katonda, obufuzi bw`omunda oba obw`amagye, ebikolwa by`abatujju, obwegugungo, entalo, okwekalakaasa oba okwediima kwonna mu bakozi, omuliro, okutaataaganyizibwa mu byempuliziganya oba empeereza za Yintanenti oba abatuusa obuweereza bw`emiyungiro, okulemererwa mu byuma ne/oba sofutiweya, ebibamba ebirala oba ekintu ekirala kyonna ekiyinza okugwawo nga kisukkulumye obusobozi bwaffe nga tekiikose butuufu n`okuteekesa mu nkola obuwaayiro bwonna obuba busigaddewo.
  18. EKIKA KY`ENDAGAANO

    1. Endagaano eno erimu okukkiriziganya kwonna okuli wakati wo ne Paxful okusinziira ku kiba kyogerwako mu bukalu n`obukwakkulizo obuli mu Ndagaano eno era Endagaano eno esazaamu era esukkuluma enzikiriziganya n`endagaano zonna ezasooka okukolebwa wakati wo ne Paxful okusinziira ku kiba kyogerwako. Oyinza obutasobola kuwaayo ddembe lyonna oba obuvunaanyizibwa wansi w`endagaano eno nga tetusoose kukuwa lukusa mu buwandiike.