Ekijjukizo ky`Omusuubuzi ku Bukalu bw`Obuweereza

BunoObukalu Bw`empeereza Bw`Omutunzibugendereddwamu kukola nga kya kulabirako ky`omutunzi eky`akaseera, era tebulina mu ngeri yonna gye budda mu kifo kya Bukalu bwa Mpeereza ya Paxful.

Osabibwa okimanye nti okkiriza obukalu buno bw`osalawo okusuubulira ku Paxful.

  1. Ng`omutunzi, okkiriza obulabe bwonna n`okukosebwa olw`obukumpanya bwonna obutuukawo mu kutunda ssente z`oku mutimbagano.
  2. Paxful elina obuyinza obutakuddiza ssente zonna z`ofiiriddwa olw`obukumpanya oba ensasula ekoleddwa ku sente ez`ensibo.
  3. Omusolo gwonna n`okusasula omusolo gwonna buvunaanyizibwa bwa mutunzi.
  4. Okulopa ensonga yonna mu busuubuzi, mwattu teekamu okwemulugunya era olinde omutabaganya abiyingiremu.
  5. Paxful tevunanyizibwa singa oweereza eky`obugagga kya digito ng`okusasulwa tekunnakomekkerezebwa.
  6. Ebikolwa bino tebikkirizibwa ku Paxful era biyinza okuviirako akaawunti yo okuwerebwa:
    1. Okuddamu okutunda kaadi z`ebirabo
    2. Okugabana ebikwata ku nsibo ebitakkirizibwa mu busuubuzi
    3. Okukola obusuubuzi n`ensibo
    4. Obutayanukula - abatunzi basuubirwa okwanukula mbagirawo
    5. Olulimi oluvuma
    6. Okweyita atabaganya
    7. Okuggulawo akaawunti ezifaanagana (nga tolina lukusa)
    8. Okuteeseganya
    9. Okusiba - ebinusu mu bugenderevu
    10. Ekikolwa ekirala kyonna eky`obukumpanya