Sell to
Get paid with
Price per Tether
Engeri y`Okutunda Tether ku Paxful
Ku paxful, tuyamba okusemberera okweyimirizaamu mu by`enfuna n`okwekozesa. Eno y`ensonga lwaki ng`oggyeeko Bitcoin, kati osobola n`okutunda Tether(USDT) butereevu eri abantu abasoba mu bukadde obusatu mu nsi yonna. Nga weeyambisa ensasula eziwagirwa ensibo, eddembe okwegerekera emiwendo, n`engeri z`okusasula ezisukka mu 300 ez`okulondako, akatale kaffe akafugibwa abantu kakifuula kyangu nnyo buli muntu okukola amagoba.
Okutandika, weewandiise ku Paxful oba yingira mu akaawunti yo gy`olina ogoberere emitendera gino wammanga:
- Salawo engeri gy`oyagala okusasulibwa n`ekika kya ssente ky`oyagala okusasulwa.
- Koona ku Noonya Ebivuganyo okulaba olukalala lw`ebivuganyo ebituukiriza ebisaanyizo by`oyingizizzaamu.
- Bw`oba okebera mu bivuganyo, wekkaanye buli kimu. Muno mulimu obumanyifu bw`omuguzi, oba abeerako, n`emiwendo egiteesebwa. Bw`oba tosobodde kufuna kituukira ku ky`oyagala, osobola okwetandikira ekivuganyo ekikyo okusikiriza abakozesa abaagala okugula Tether ku bukwakkulizo bwo.
- Bw`ofuna ekivuganyo ky`osiimye, koona ku Tunda. Kino tekitandikirawo busuubuzi; wabula, ojja kusobola okulaba obukalu n`obukwakkulizo bw`omuguzi.
- Bw`oba okkaanya n`obukalu, yingizaamu omuwendo gw`oyagala okusuubuza era okoone kuTunda Kati. Kino kijja kutandikawo obusuubuzi era kitwale USDT yo mu nkola yaffe ey`ensibo eyeesigika.
- Wekkaanye ebiragiro by`omuguzi era oweeyo obubaka bwonna obwetaagisa mu kunyumya okw`obuliwo. Bw`omala okusasulwa, awo ng`oweereza USDT okuva mu nsibo yaffe okudda mu waleti y`omuguzi, era otereke ne alisiiti y`olukale.
- Ng`obusuubuzi buwedde, bulijjo fuba okuleka okuddibwamu eri omuguzi. Kino tekikoma ku kubayamba kuzimba bumanyifu kyokka, wabula n`okuwa ekifaananyi abasuubuzi abalala okumanya ani gwe bakolagana naye.
Okukakasa nti obusuubuzi tebuliimu kweraliikirira, soma amateeka gaffe ag`okutunda Bitcoin ne Tether. Era osobola n`okunoonya ku nnambika yaffe ku ngeri y`okutandika obukalu bw`ebivuganyo obulungi osobole okutonderawo abaguzi bo ebivuganyo ebitalekeka.
Wano ku Paxful, tulina enkola enkakali okukakasa nti osuubula awatali buzibu, obudde bwonna, awantu wonna. Kebera mu nkumi n`enkumi z`ebivuganyo ebituufu era otandike okutunda Tether leero!