Gula Bitcoin (BTC) mu Mpeke

Gula Bitcoin osasule mu mpeke. Kyangu nnyo. Tekyetaagisa akaawunti ya bbanka.

Lindako nga bwe tukunoonyeza ebivuganyo ebisingira ddala.

Gula Okuva

Sasula Ne

Ebbeeyi ya buli Bitcoin

Engeri y`okugula Bitcoin ku Paxful

Wano ku Paxful, ekigendererwa kyaffe kwe kulaba nti obuweereza mu by`ensimbi butuuka ku bukadde n`obukadde bw`abantu mu nsi yonna. Twagala okuwa abantu omukisa okufulumya ssente buli we balaba kisaanidde era nga kijja kutumbula obulamu bwabe obwa bulijjo.

Ekibanja kyaffe kikolera ku nnono ya muntu-ku-muntu mu by`ensimbi, ekikuyamba okwegulira Bitcoin butereevu okuva ku bakozesa abalala nga ggwe, awatali kuyingizaamu bbanka oba ebitongole. Ojja kufuuka kitundu ku bantu abasukka obukadde obusatu obw`abakozesa, nga bonna bazze gye tuli n`ekigendererwa ky`okufuna obufuzi ku by`enfuna byabwe.

Kyangu okugula ssente z`oku mutimbagano ku Paxful; goberera bugoberezi emitendera gino:

  1. Weewandiise – Ggulawo akaawunti ofunirewo waleti ya Bitcoin ey`obwereere.
  2. Noonya ekivuganyo – Ng`omaze okufuna akaawunti, londako engeri y`okusasula, omuwendo gwa Bitcoin gw`oyagala okugula n`ekika kya ssente ky`oyagala, olwo okoone kuNoonya Ebivuganyo. Noonya mu lukalala lw`ebivuganyo ebiriko, londako ekivuganyo ekisinga okugya mu byetaago byo, era wekebejje obukalu bw`omutunzi.
  3. Tandika obusuubuzi – Bw`oba mumativu n`obukalu bw`omutunzi, yingizaamu omuwendo gwa Bitcoin gw`oyagala okugula, era otandike obusuubuzi. Kino kijja kuggulawo emboozi ya buliwo n`omutunzi. Goberera ebiragiro by`omutunzi okukola obusasuzi era obukakase.
  4. Funa Bitcoin – Omutunzi ajja kuweereza Bitcoin butereevu mu waleti yo eya Paxful.

Osobola n`okulaba vidiyo yaffe mu bujjuvu ekulambululira engeri y`okugulamu Bitcoin mbagirawo.

Ng`omaze bulungi okuggusa obusuubuzi, osobola okusindika oba okufulumya Bitcoin ku waleti yonna oba empeereza butereevu okuva ku waleti yo eya Paxful.

N`engeri z`okusasula ezisukka mu 300 eziriwo, okugula Bitcoin ku mutimbagano tekibangako kyangu nga kati. Okuva mu kuweereza ssente mu mpeke n`okuyisa mu bbanka okuva ku kaadi z`ekirabo n`enkola z`okusasula, osobola okulonda enkola esinga okukugwanira. Bwe wabaawo engeri y`okusasula gy`oyagala naye nga togiraba, tutegeeze tujja kufuba okukikukolera.

Suubula mu ngeri esinga okwanguwa, ennambulukufu, era eyeesigika ng`okozesa akatale ka Paxful akayunga muntu ku muntu. Tandika leero!