Sell to
Get paid with
Price per Ethereum
Engeri y`Okutunda Ethereum ku Paxful
Paxful ekifuula kyangu eri abayiga n`abakugu okusobola okwetengerera mu byensimbi. Era olwokuba akatale ka muntu ku muntu, osobola okutunda Ethereum (ETH) butereevu eri obukadde n`obukadde bw`abakozesa mu nsi yonna nga teweetaaga na bbanka oba ebitongole!
Biibino bye weetaaga okukola:
Nga tonnatandika kutunda Ethereum, olina kusooka kuggulawo era n`okakasa akaawuntiyo eya Paxful oba okuyingira mw`eyo gy`olina. Ng`omaze okuyingiramu, goberera emitendera gino:
- Teekawo obukalu bwo - Gereka omuwendo ogusingayo obunene ogwa ETH gw`oyagala okutunda era olondeko enkola gy`oyagala okusasulirwamu . Era osobola n`okuteekako ekika kya ssente z`oyagala ssaako ne woobeera singa oba oyagadde.
- Noonya ebivuganyo - Ng`omaze okuteekawo obukalu bwo, koona ku Noonya Ebivuganyo okulaba ebivuganyo ebikugasa mw`osobola okulonda.
- Wekebejje ebivuganyo - Teweerabira okwekebejja byonna bye weetaaga okumanya ku muguziwo omuli omutendera waatuuse mu kukakasa ebimukwatako, omuwendo gw`obusuubuzi bwakoze ne buggwa obulungi, n`abakozesa abalala kye bamwogerako nga tonneyongerayo.
- Tandika obusuubuzi - Singa ofuna omuguzi amanyikiddwa, koona kuTunda okwekebejja obukalu n`obukwakkulizo ebiteekeddwawo omuguzi. Bw`oba okkirizza, yingizaamu omuwendo gwa ETH gw`oyagala okutunda onyige Tunda Kati. Kino kikutwala mu kunyumya kw`obusuubuzi okw`obuliwo era ne kigira nga kisindika ETH zo mu tterekero lyaffe eryesigika.
- Maliriza obusuubuzi: Ng`omaze okusasulwa, n`omuguzi n`amaliriza obusuubuzi bwe, osobola okuta ETH okuva mu nsibo okudda mu waleti ye. Era ojja kusobola okuwanula alisiiti y`olukale bw`oba oyagala okutereka ebiwandiiko by`obusuubuzi buno.
- Leka obubaka - Teweerabira kutubuulirako engeri gy`osanzemu gw`osuubulagana naye oluvannyuma lw`okumaliriza obulungi obugulanyi.
Kebera We Tuweera Obuyambi okumanya ebisingawo ku ngeri gy`oyinza okutunda ETH mbagirawo. Era osobola okutondawo ekivuganyo bw`oba oyagala okwegerekera obukalu bwo oba ebiragiro mu busuubuzi. Togaana kutuukirira bayambi baffe bw`oba olina ekibuuzo kyonna. Tukwagaliza obusuubuzi obulungi.