Tunda Ethereum ne Okuweereza embagirawo ku Chime

Sasulwa okuyita mu banka , waleti y`oku mutimbagano, kaadi z`ekirabo n`engeri z`okusasula endala ezisoba mu 350.

Lindako nga bwe tukunoonyeza ebivuganyo ebisingira ddala.

Guza

Sasulwa Ne

Ebbeeyi ya buli Ethereum

Engeri y`Okutunda Ethereum ku Paxful

Paxful ekifuula kyangu eri abayiga n`abakugu okusobola okwetengerera mu byensimbi. Era olwokuba akatale ka muntu ku muntu, osobola okutunda Ethereum (ETH) butereevu eri obukadde n`obukadde bw`abakozesa mu nsi yonna nga teweetaaga na bbanka oba ebitongole!

Biibino bye weetaaga okukola:

Nga tonnatandika kutunda Ethereum, olina kusooka kuggulawo era n`okakasa akaawuntiyo eya Paxful oba okuyingira mw`eyo gy`olina. Ng`omaze okuyingiramu, goberera emitendera gino:

  1. Teekawo obukalu bwo - Gereka omuwendo ogusingayo obunene ogwa ETH gw`oyagala okutunda era olondeko enkola gy`oyagala okusasulirwamu . Era osobola n`okuteekako ekika kya ssente z`oyagala ssaako ne woobeera singa oba oyagadde.
  2. Noonya ebivuganyo - Ng`omaze okuteekawo obukalu bwo, koona ku Noonya Ebivuganyo okulaba ebivuganyo ebikugasa mw`osobola okulonda.
  3. Wekebejje ebivuganyo - Teweerabira okwekebejja byonna bye weetaaga okumanya ku muguziwo omuli omutendera waatuuse mu kukakasa ebimukwatako, omuwendo gw`obusuubuzi bwakoze ne buggwa obulungi, n`abakozesa abalala kye bamwogerako nga tonneyongerayo.
  4. Tandika obusuubuzi - Singa ofuna omuguzi amanyikiddwa, koona kuTunda okwekebejja obukalu n`obukwakkulizo ebiteekeddwawo omuguzi. Bw`oba okkirizza, yingizaamu omuwendo gwa ETH gw`oyagala okutunda onyige Tunda Kati. Kino kikutwala mu kunyumya kw`obusuubuzi okw`obuliwo era ne kigira nga kisindika ETH zo mu tterekero lyaffe eryesigika.
  5. Maliriza obusuubuzi: Ng`omaze okusasulwa, n`omuguzi n`amaliriza obusuubuzi bwe, osobola okuta ETH okuva mu nsibo okudda mu waleti ye. Era ojja kusobola okuwanula alisiiti y`olukale bw`oba oyagala okutereka ebiwandiiko by`obusuubuzi buno.
  6. Leka obubaka - Teweerabira kutubuulirako engeri gy`osanzemu gw`osuubulagana naye oluvannyuma lw`okumaliriza obulungi obugulanyi.

Kebera We Tuweera Obuyambi okumanya ebisingawo ku ngeri gy`oyinza okutunda ETH mbagirawo. Era osobola okutondawo ekivuganyo bw`oba oyagala okwegerekera obukalu bwo oba ebiragiro mu busuubuzi. Togaana kutuukirira bayambi baffe bw`oba olina ekibuuzo kyonna. Tukwagaliza obusuubuzi obulungi.