Lindako nga bwe tukunoonyeza ebivuganyo ebisingira ddala.

Sell to

Get paid with

Price per Bitcoin

Engeri y`okutunda Bitcoin ku Paxful

Kati kyangu okutunda Bitcoin ng`omutunzi wa Paxful. Oli wa ddembe okugereka emiwendo egigyo , era weeroboze ku nkola z`okusasulamu ezisukka mu 300 mw`oyinza okusasulirwa ng`otunze Bitcoin yo. Engeri Paxful bwe kali akatale ka muntu-ku-muntu, osobola okutunda Bitcoin yo eri abaguzi abasoba mu bukadde 3 mu nsi yonna. Ekibanja kyaffe kyanguyiza abakyayiga n`abakiruddeko kyenkanyi, okusobola okukola amagoba.

Okutunda Bitcoin Mbagirawo, ggulawo akaawunti ya Paxful oba ggulawo gy`olina . Ng`omaze okuyingira, goberera emitendera gino:

  1. Teekako ebyetaago byo – Londako engeri gyoyagala okusasulwamu n`omuwendo gwa Bitcon ogusinga obunene gw`oyagala okutunda. Era osobola n`okulaga w`oli n`ekika kya ssente ky`oyagala. Ng`omaze, koona ku Noonya Ebivuganyo. Ojja kulaba olukalala lw`ebivuganyo ebiriko kw`onaalonda.
  2. Wekebejje ebivuganyo – Nga tonnalonda kivuganyo, kakasa nti okebera ebintu ebikulu ebikwata ku mutunzi, omuli amannya, obumanyifu, omutendera gw`okukakasibwa n`omuwendo gwa buli Bitcoin n`ebirala. Ng`omaze okuzuula ekivuganyo ekikugwana, nnyiga ku Tunda. Tekijja kuggulirawo mangu ago busuubuzi, naye kijja kulambika ku bukalu n`obukwakkulizo bw`ekivuganyo obwateereddwawo omutunzi.
  3. Tandika obusuubuzi – Bw`oba mumativu n`obukalu bw`omutunzi, yingizaamu omuwendo gw`oyagala okusuubuza era okoone ku Tunda Kati. Kino kijja kuggulawo okunyumya kw`obusuubuzi okw`obuliwo era kisse Bitcoin yo mu nsibo yaffe eyeesigika. Soma ebiragiro ebikuweereddwa n`obwegendereza , era obigoberere. Ng`omuguzi wo aggusizza obusuubuzi n`osasulwa, osobola okuweereza Bitcoin. Osobola okuwanula alisiiti y`olukale ng`obusuubuzi buwedde.
  4. Leka okuddibwamu – Ng`omalirizza okutunda Bitcoin yo bulungi, teweerabira kuwa gw`osuubulagana naye kuddibwamu. Kino kya mugaso nnyo eri ekibanja kyaffe kubanga kiyamba okuzimba obumanyifu bw`omukozesa.

Okumanya ebisingawo, laba mu bujjuvu vidiyo yaffe esomesa engeri y`okutuda Bitcoin amangu. Era osobola okuteekawo ekivuganyo okutunda Bitcoin ng`ogoberera ennambika yaffe ku ngeri y`okutandika ekivuganyo ku Paxful.

Akatale ka Paxful aka muntu-ku-muntu kangu okukozesa, kakuumibwa ensibo era kufunika okwetoloola ensi yonna. Tandika okusuubula leero!