Ekimanyiso kya Twekisize ekya Paxful, Inc.

Paxful Inc. (era emanyikiddwa nga "Paxful," "ffe," "ffe," oba "ebyaffe") eyita mu mitendera okukuuma ebyama byo. Mu Kimanyiso kya Twekisize kino ("Ekimanyiso"), tunnyonnyola ebika by`obubaka obukukwatako bwe tuyinza okukufunako obwekuusa ku ngeri gy`okozesa ekibanja kyaffe, omuli, naye nga si kye kyokka, https://paxful.com/, Waleti ya Paxful, ekibanja kyaffe eky`oku mutimbagano okusuubulirwa bitcoin, app y`oku ssimu, emiko gy`emikutu emigattabantu, oba ebintu ebirala eby`oku mutimbagano (okutwalira awamu, "Ekibanja"), oba bw`okozesa ekimu ku byamaguzi, empeereza, ebintu, endabika, tekinologiya, oba emirimu gye tukola (okutwaliza awamu, "Empeereza").

Ekimanyiso kino kyategekebwa okukuyamba okufuna obubaka obukwata ku nkola yaffe eya twekisize era n`okukuyamba okutegeera okulondawo ku twekisize ng`okozesa Ekibanja n`Empeereza zaffe. Mwattu weetegereze nti Empeereza zaffe zisobola okukyukakyuka okusinziira ku kitundu.

Ku lw`ebigendererwa byonna, ekimanyiso kya twekisize ekiri mu lulimi Olungereza kye kinaaba nga ekiwandiiko ekikulu era ekifuga. Mu mbeera nga waliwo okukontana wakati w`ekiwandiiko ky`ekimanyiso kya twekisize ekiri mu Lungereza n`ekirala kyonna ekivvuunuddwa mu lulimi olulala, ekiwandiiko ekiri mu Lungereza kye kinafuga n`okugobererwa.

Obubaka obukukwatako bwe tukuŋŋaanya

Tukuŋŋaanya obubaka obukwekuusaako ("Ebikwata ku Muntu") ebikwatagana n`engeri gy`okozesaamu Ekibanja, Empeereza zaffe. oba mu ngeri endala enkolagana yaffe naawe. Ebika by`Ebikwata ku Muntu bye tuyinza okufuna okuva gy`oli mulimu:

Ebikwata ku Bulamu Bwo, omuli:

  • Erinnya
  • Endagiriro ya Email
  • Ennamba y`Essimu
  • Ensi
  • Endagiriro mu Bujjuvu
  • Ennaku z`Omwezi ze Wazaalibwako

Ebikwata ku Akaawunti ya Paxful, omuli:

  • Erinnya ly`Omukozesa
  • Obubaka Obukwata ku Mukozesa mu kanyomero k`Ebikwata ku Bulamu Bwe"
  • Ekifaananyi ky`oku Akaawunti
  • Ennaku z`Omwezi ze Weegattako
  • Ekika kya Ssente Ezaasalibwawo
  • Obudde mu Kifo W`oli
  • Olulimi Olwasalibwawo

Ebikolebwa ku Akaawunti ya Paxful, omuli:

  • Obubaka bw`Okunyumya kw`Obusuubuzi (muyinza okubaamu obubaka obukwata ku byenfuna singa obiwa abatunzi)
  • Ebikookero by`Okunyumya kw`Obusuubuzi
  • Ebikolebwa mu Busuubuzi
  • Ebyafaayo by`Obugulanyi
  • Erinnya ly`Omunywanyi
  • ID y`Omunywanyi
  • Linki y`Omunywanyi
  • Obugulanyi bw`Obunywanyi
  • Ebivuganyo Ebiteereddwawo
  • Obukalu bw`Ekivuganyo
  • Ebigobererwa mu Busuubuzi
  • Obumanyiso bwa Akaawunti
  • Akaawunti nga bw`Eyimiridde

Obubaka obwekuusa ku waleti yo ey`ebyobugagga bwa Digito, omuli:

  • Ebisumuluzo by`Obwannannyini
  • Ebisumuluzo by`Olukale
  • Ezisigadde mu Waleti
  • Obugulanyi obufuniddwa
  • Obugulanyi obusindikiddwa

Obubaka Obukuŋŋaanyiziddwa obwekuusa ku Kugondera enkola ya "Manya Kasitooma Wo" (KYC), omuli:

  • ID egabibwa Gavumenti
  • Obukakafu bw`Endagiriro
  • Ebifaananyi, bw`osalawo okubituwa
  • Viidiyo, bw`osiima okuzituwa

Obubaka Obukwata ku Nkozesa y`Ekyuma n`Ekibanja, omuli:

  • Endagiriro za IP
  • ID ya Cookie ne/oba ebirala ebizuula ebyuma
  • Obubaka obwekuusa ku ngeri gy`okozesa Ekibanja, omuli ebinnyonnyola enfaanana y`ekyuma, ennaku z`omwezi & n`essaawa
  • Ennimi ze wettanira
  • Obubaka ku by`okola ng`okozesa Ekibanja

Mobile application usage data, including:

  • Session data: IP address, version of the operating system, brand and model of the device, unique identifiers of the device, browser used, information about the time the Application was accessed, name and parameters of the network connection.
  • Information about applications installed on the User’s device (metadata from applications): application name, application identifier and version, device identifier and checksum. Detecting malicious apps and protecting users from fraud are the main reasons for collecting information about installed apps.
  • Information on actions taken while using the mobile application
  • Crash and application errors diagnostics data

Engeri gye tukozesa obubaka bwo

Ebigendererwa bya bizinensi ebitukuŋŋaanyisa, okukozesa, okusigaza, n`okugabana Obubaka Obukukwatako muyinza okubaamu:

  • Okuwaayo Obuweereza okuyita mu kuddukanya Ekibanja, omuli:
    • Okuwandiisa, okuggulawo, n`okulabirira akaawunti yo;
    • Okukakasa ebikwogerako ne/oba obusobozi okuyingira mu akaawunti, oba okuyambako abatunzi okukakasa ebikwogerako;
    • Okutandika, okuyambako, okukola ku, ne/oba okumaliriza obugulanyi;
    • Okuwuliziganya naawe ku bikwata ku akaawunti yo oba Empeereza zonna z`okozesa;
    • Okulaba oba osaanira okuwolebwa, KYC, oba okwekebejja okw`engeri eyo;
    • Okusengejja applications; oba
    • Okugeraageranya obubaka olw`okupima obutuufu n`okukakasa.
  • Okukwasaganya obulabe n`okukukuuma, okukuuma abantu abalala, Ekibanja n`Empeereza.
  • Okukuwa empeereza ekutuukirako ng`omuntu n`okukola ku by`osinga okwagala.
  • Okwongera okutegeera ba kasitooma n`engeri gye bakozesaamu n`okukolagana n`Ekibanja n`Empeereza
  • Okulanga gy`oli.
  • Okukuwa Empeereza ekutuukirako ng`omuntu, ebivuganyo, n`okulangira ku Kibanja kyaffe n`ebibanja by`abantu abalala.
  • Okukuwa eby`okulandako ebituukira ku bifo, engeri gye bikolamu, n`ebivuganyo.
  • Okugoberera enkola zaffe n`obuvunaanyizibwa, omuli, naye nga si bye byokka, okwasanguza n`okwanukula okusaba kwonna okuva mu bitongole ebikwasisa amateeka ne/oba abafuzi okusinziira ku tteeka lyonna erikola, enfuga, effugiso, ekiragiro ky`omulamuzi oba gavumenti, ekitongole ekirina obuyinza okuwozesa emisango, okusaba okuvumbula oba enkola endala ezeekuusa ku by`amateeka.
  • Okugonjoola okwemulugunya, okukuŋŋaanya ebisale, oba okwekenneenya n`okugonjoola ebizibu.
  • Okukuwa empeereza nga kasitooma oba si ekyo okuwuliziganya naawe.
  • Okuddukanya bizinensi zaffe.

Era tuyinza okukola ku Bikukwatako ng`Omuntuku olw`ebigendererwa ebirala nga twesigama ku lukusa lwo singa kiba kyetaagisizza mu mateeka.

Ebifo mwe tukuŋŋaanya ebikwata ku muntu

Tukuŋŋaanya Ebikwata ku Muntu okuva mu bifo ebyenjawulo, omuli

  • Butereevu okuva ku ggwe: Tukuŋŋaanya Ebikwata ku Muntu butereevu okuva ku ggwe singa okozesa Ekibanja oba Empeereza zaffe, owuliziganya naffe, oba okukolagana obutereevu naffe.
  • Okuva ku bakola ku mpeereza/oba abakola ku bubaka abatuyambako okukutuusaako Ekibanja oba Empeereza: Tuyinza okweyambisa abakola ku mpeereza okutuyambako mu kuddukanya Ekibanja oba Empeereza ze tukuwa, nga tubalagidde oba nga bakikola ku lwaffe. Abakola ku mpeereza bano bayinza okukuŋŋaanya obubaka obukukwatako ne babutuwa.
  • Okuva mu bakozesa abalala ku Kibanja kya Paxful oba okuva mu banywanyi abagattiddwa ku Kibanja kya Paxful oba Empeereza : Abakozesa abalala bayinza okutuwa obubaka obukukwatako nga bwekuusa ku bugulanyi oba okunyumya. Abanywanyi era bayinza okutuwa ebikukwatako ebyekuusa ku kutabagana kwo oba obugulanyi bwo n`abanywanyi ng`abo.
  • Okuva mu bantu abalala abayinza okutuyambako okukakasa ebikwogerako, okulemesa obufere, n`okukuuma ebyokwerinda by`obugulanyi.
  • Okuva mu bantu abalala abayinza okutuyamba okusengejja okusaanira kwo okuwolebwa oba bw`oyimiridde mu byenfuna.
  • Okuva mu bantu abalala abayinza okutuyamba okwekenneenya Ebikwata ku Muntu, okulongoosa Ekibanja oba Empeereza oba engeri gy`obikozesaamu, okulanga ebintu oba empeereza, oba okukuteerawo ebirango n`ebivuganyo.
  • Okuva ku bibanja by`emikutu emigattabantu, singa oba okolagana naffe ng`oyita ku mikutu emigattabantu.

Engeri gye tugabana obubaka

Mu mbeera ezimu, tuyinza okwasanguza Ebikwata ku Muntu ebimu n`abantu abalala. Ebiti by`abantu be tuyinza okugabana nabo Ebikwata ku Muntu mulimu:

  • Abatuusa empeereza ne/oba abakola ku bubaka: Tuyinza okugabana Ebikwatako ku Muntu n`abantu abalala abatuusa empeereza abakola obuweereza n`emirimu ku biragiro byaffe ne ku lwaffe. Abantu abalala bano abatuusa obuweereza bayinza, okugeza okukuwa Empeereza, okukakasa ebikwogerako, okuyambako mu kukola ku bugulanyi, okukusindikira obulango bw`ebyamaguzi byaffe n`Empeereza, oba okuyamba ku ba kasitooma.
  • Abalala abakwatibwako obugulanyi, nga abatunzi: Tuyinza okugabana obubaka n`abeetabi abalala mu bugulanyi bwo, omuli abakozesa abalala boogulako ebyobugagga bya digito.
  • Ebitongole by`ebyensimbi ne kkampuni endala ezenyigira mu kukuyambako okukola obusasuzi obwekuusa ku bugulanyi
  • Abanywanyi abafuna okusembebwa okuva ku Kibanja kyaffe
  • Abantu abalala be tukolagana nabo mu bizinensi oba nga bwe kikkirizibwa oba okwetaagisa mu mateeka, omuli:
    • Okutuukiriza eby`amateeka, ebyokufugisa, oba obuvunaaanyizibwa bw`endagaano, oba n`emitendera gyonna egy`ebyamateeka oba enkola y`ebyokufugisa (nga ekiragiro kya kkooti ekituufu, semaanisi);
    • Okumanya, okukola, oba okulwanirira okuvuunaanibwa mu mateeka;
    • Mu kwanukula okusaba kw`ekitongole kya gavumenti, nga ebitongole ebikwasisa amateeka, oba ebiragiro by`ekitongole ekiramuzi;
    • Okuteekesa mu nkola Obukalu bw`Empeereza z`Ekibanja kyaffe oba enkola zaffe ez`omunda;
    • Okutangira okukosebwa kw`omubiri oba okufiirizibwa mu byenfuna, ebyekuusa ku kunoonyereza okw`okuteeberezebwa okukola ebitali mu mateeka oba okukolera ddala ekintu ekitali mu mateeka, oba okulwanirira eddembe lyaffe oba ery`abalala, ebintu, oba obukuuumi;
    • Okuyambako mu kugula oba okutunda bizinensi za Paxful zonna oba ezimu. Okugeza, ng`ogabana ne kkampuni gye tuteekateeka okwegatta nayo oba okugulibwa; oba
    • Okuwagira okukeberebwa, okugoberera amateeka, n`emirimu gy`obufuzi bwa kkampuni.

Entambuza y`obubaka ku mutendera gw`ensi yonna

Mwattu wekkaanye nti tuyinza okusindika Ebikukwatako ng`Omuntu bye tuba tukuŋŋaanyizza mu nsi endala ng`oggyeeko ensi mwe biba byakuŋŋaanyizibwa. Ensi ezo ziyinza obutaba na mateeka ga kukuuma bubaka ge gamu nga ag`ensi mwe waweerayo obubaka buno. Bwe tusindika Ebikukwatako ng`Omuntu mu nsi endala, tuyita mu mitendera egyatekebwawo okukakasa nti okusindika kuno kukkiriziganya n`amateeka.

Cookies n`okulangira ku mutimbagano

  • Cookie eba fayiro ntono ey`obubaka obuwandiike ekibanja ky`etereka ku kompyuta yo oba essimu yo ey`omungalo bw`oba okyalidde ekibanja.
  • Ekibanja kyaffe kikozesa cookies ne tekinologiya alondoola okuddukanya, n`okuluubirira okulanga kw`oyinza okwagala. Okumanya ebisingawo, mwattu kebera ku Tteeka lyaffe era Cookie.
  • Paxful eyinza okukolagana n`emiyungiro gy`obulango emirala okulaga obulango ku Kibanja kya Paxful oba ku bibanja by`abantu abalala. Ebibanja bino n`emiyungiro gy`obulango egy`abalala tebifugibwa Paxful. Abanywanyi mu miyungiro gy`obulango bakozesa tekinologiya w`obubaka okukuŋŋaanya obubaka obukwata ku by`okolera ku mutimbagano okukuwa okulanga okutuukira ku by`oyagala. Bw`oba toyagala bubaka buno bukozesebwe olw`ensonga y`okukuwa obulango obukutuukirako, okyayinza okukivaamu ng`okyalira:

Mwattu weetegereze nti kino tekikuggyako kubeera ng`oweebwa obulango; ojja kusigala ng`ofuna obulango obw`awamu obuteesigamizibwa kw`ebyo by`oyagala ebirondobemu. Osobola okufuga enkozesa ya cookies ku mutendera gwa ssekinnoomu ogwa bbulawuza. Bw`ogaana cookies, osobola okusigala ng`okozesa Ekibanja kyaffe, naye obusobozi okukozesa obubonero oba ebitundu ebimu ku Kibanja kyaffe buyinza okukugirwa.

Okusigaza obubaka

Tusigaza Ebikwaka ku Muntu okumala ekiseera ekyetaagisa olw`ebigendererwa ebyabikuŋŋanyisisa, oba okumala ekiseera ekyo ekikkirizibwa mu mateeeka. Kino kiyinza okubaamu okusigaza Ebikwata ku Muntu okumala ekiseera ekiddirira obugulanyi. Tufuba okusangula Ebikwata ku Muntu nga tebikyetaagibwa ku lw`ensonga ya bizinensi yonna ennyonnyoddwa waggulu.

Okukuuma obubaka

Paxful etadde mu nkola obukuumi obutegekeddwa okukuuma Ebikukwatako ng`Omuntu, omuli empenda ezitegekeddwa okutangira okubuza, okukozesa obubi, okufunibwa abatalina kubifuna n`okwasanguza Ebikwata ku Muntu. Era, Paxful tesobola kukakasa oba kweyama kuwa bukuumi oba emmizi ku bubaka bw`otuwa oba bw`ofuna okuva gye tuli okuyita ku mutimbagano oba omuyungiro gwa yintaneti ogutakozesa waya. Okutambuza obubaka okuyita ku Yintaneeti kirimu akabi, newankubadde nga Paxful ekola ekisoboka okukuuma obubaka obwo ng`emaze okubufuna.

Abaana abataweza myaka 18 egy`obukulu

Ekibanja kya Paxful teyakolerwa baana batannaweza myaka 18 egy`obukulu. Tetukigenderera kukuŋŋaanya bubaka okuva mu baana abatannaweza myaka 18 nga tetufunye lukusa lwa bazadde olukakasiddwa. Bwe tukimanya nti tukuŋŋaanyizza obubaka, omuli n`Ebikwata ku Muntu, okuva ku muntu atannaweza myaka 18 nga tetulina lukusa lwa muzadde, tujja kusangula obubaka obwo mbagirawo.

Okutereeza mu kimanyiso kya twekisize

Paxful yeesigaliza obuyinza okukyusa Ekimanyiso kino buli kiseera. Tuggya kukubagulizaako ku kutereezaamu kwonna mu Kimanyiso kino nga tuwanikayo ekyo ekikyusiddwamu wano, okuyita ku email, oba ekirango ekirabika obulungi ku Kibanja kya Paxful ku muko ogusooka. Tukuwa amagezi okukeberanga ku Kibanja buli luvannyuma lw`akaseera akagere okulaba oba nga waliwo enkyukakyuka zonna.

Tuwulize

Bw`oba olina ekibuuzo kyonna ku Kimanyiso kino, oba ng`oyagala kwebuuza ku bikwata ku Bikwata ku Muntu oba twekisize, mwattu tuwulize ku: [email protected]

Ekikookero ku Kiwandiiko ekya EEA

Okwasanguza kuno kukola ku, era kugendereddwamu eri, abantu ababeera mu Kitundu kya Bulaaya eky`Ebyenfuna (EEA).

Afuga Obubaka

Afuga Obubaka Obw`ebikukwatako ye, Paxful, Inc.

Ebisinziirwako mu Mateeka Okukola ku Bikwata ku Muntu

  • Tukozesa Ebikwata ku Muntu nga bwe kiba kisaanidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw`endagaano oba okusaba kwo okwekuusa ku ndagaano, nga twesigama ku mateeka mu Nnyingo 6(1)(b) ey`Ekiragiro Eky`awamu Eky`okukuuma Obubaka (GDPR).
  • Tukozesa Ebikwata ku Muntu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw`etteeka wansi w`etteeka lya EU oba etteeka erifuga Eggwanga Ery`omukago, nga twesigama ku mateeka mu Nnyingo 6(1)(c) eya GDPR.
  • Tukozesa Ebikwata ku Muntu okukuuma ebyetaago by`abantu ssekinnoomu eby`omuwendo, nga twesigama ku mateeka mu Nnyingo 6(1)(d) eya GDPR.
  • Tukozesa Ebikwata ku Muntu nga tuluubirira okukuumira ebyetaago bya bizinensi yaffe mu mateeka, nga twesigama ku mateeka mu Nnyingo 6(1)(f) ya GDPR. Olukalala lw`ebigendererwa by`emirimu gyaffe ebiri mu mateeka biri mu kitundu ekiri waggulu ekiriko omutwe ogugamba nti "Engeri gye Tukozesaamu Ebikukwatako".

Eddembe ku Kukuuma Obubaka ery`omu Bulaaya

Etteeka lya Bulaaya lirina eddembe lye likuwa eryekuusa ku Bikukwatako ng`Omuntu, omuli:

  • Eddembe okusaba okufuna n`okutereeza Ebikukwatako ng`Omuntu.
  • Eddembe okusaba Paxful esangule ebimu ku biri mu Bikukwatako ng`Omuntu.
  • Eddembe ku kutambuza obubaka, omuli eddembe okusaba nti ebimu ku Bikukwatako ng`Omuntu by`otuwadde tubisindike eri omulala afuga obubaka.
  • Eddembe okuggyayo olukusa lwonna lw`oba owadde Paxful okukuŋŋaanya, okukozesa, oba okugabana obubaka bwo akaseera konna. Mwattu wekkaanye nti okuggyayo olukusa tekikosa buyinza bwa Paxful bw`erina mu mateeka okukozesa Ebikukwatako ng`Omuntu nga tonnaba kuluggyayo.
  • Eddembe okugaana Paxful okukozesa Ebikukwatako ng`Omuntu, nga osinziira ku mbeera yo ng`omuntu.
  • Eddembe okusaba nti Paxful ekugire okukozesa Ebikukwatako ng`Omuntu, singa obumu ku bukwakkulizo obuwandiike obw`okukugira butuukiriziddwa.
  • Eddembe okuteekamu okwemulugunya mu kitongole kya Bulaaya ekirabirizi.

Mwattu wekkaanye nti etteeka erikola liyinza okubaamu ebitakola ku bimu ku biri mu ddembe lino, ne likkiriza Paxful okugaana okusaba kwo, oba okukkiriza Paxful okwongezaayo ebbanga ly`eyinza okukolera ku kusaba kwo. Paxful era eyinza okukuwuliza okukakasa ebikwogerako, nga bwe kikkirizibwa mu mateeka, nga tennakola ku kusaba kwo. Okusobola okukozesa eddembe lyo lino, mwattu tuwulizenga bwe kirambikiddwa mu kitundu ekituumiddwa "Tuwulize".

Okusindika mu Nsi Yonna

Tuyinza okusindika Ebikwata ku Muntu ebyekuusa ku batuuze b`omu EEA mu mawanga agazuuliddwa Akakiiko ka Bulaaya nga tegawa bukuumi bumala, omuli ne United States. Okusindika okw`engeri eno, Paxful eteekawo obukuumi obutegekebwa okukakasa nti Ebikukwatako ng`Omuntu bifuna obukuumi obumala. Bw`oba oli mu kitundu kya EEA, Paxful ejja kuweereza Ebikukwatako ng`Omuntu singa; ensi Ebikukwatako gye bigenda okuweerezebwa eba yaweebwa olukusa lw`Akakiiki ka Bulaaya akakkiriza okusindika obubaka; nga agenda okufuna Ebikukwatako abeera mu United States era nga yakakasibwa mu tteeka lya US-EU Privacy Shield Framework; Paxful etaddewo obukuumi obusaanira obwekuusa ku kusindika, okugeza okuyingira mu Buwayiiro bw`Endagaano Obumanyiddwa obwa EU n`agenda okubifuna, oba; obuwandiike obukwatagana n`okuziyiza okuweereza okw`olukale okwa GDPR. Okufuna kkopi y`enkola Paxful z`ekozesezza okuwagira okusindika kwayo okw`ebikwata ku muntu wabweru wa EEA, tuwulize nga bwe kirambikiddwa waggulu mu kitundu kya "Tuwulize".

Akakookero ka California

Okwasanguza kuno kukkirizibwa, era kuluubirira, batuuze ba mu Ssaza lya California bokka.

Eddembe Lyo erya Twekisize mu California

Twasanguza ebimu ku bikukwatako ng`omuntu eri abantu abalala ababikozesa obutereevu n`ebigendererwa eby`okulanga, olina eddembe okusaba ebirala ebikwata ku bagenda okufuna obubaka bwo. Okukozesa eddembe lyo lino, mwattu tuwulize nga bwe kirambikiddwa mu kitundu ekituumiddwa "Tuwulize."

Tolondoola Kwasanguza

Ekibanja kyaffe tekitegekeddwa kwanukula kulagira oba kusaba kwa "Tolondoola."

Amazima Paxful ekola ki n`ebikukwatako?
Lwaki?

Ebitongole by`ebyenfuna bisalawo engeri gy`ebigabana ebikukwatako. Etteeka lya federo liwa ba kasitooma eddembe okukugira ebigabanibwa ebimu naye si byonna. Etteeka lya federo era litulagira okukubuulira engeri gy`etukuŋŋanyaamu, gy`etusaasanyaamu n`okukuuma ebikukwatako. Tukusaba osome ekirango kino n`obwegendereza okutegeera kiki kyetukola.

Kiki?

Ebika by`ebikwata ku bantu ssekinoomu by`etukuŋŋaanya n`okusaasanya bisinziira ku byamaguzi oba empeereza gy`olina naffe. Muno muyinza okubaamu:

  • Ennamba ya Social Security oba ensimbi z`olina ku akaawunti
  • Ebyafaayo by`okusasula oba ebyafaayo by`okugulana
  • Ebyafaayo by`amabanja oba ensasula yo ey`amabanja

Bwoba nga tokyali kasitooma waffe, tugenda mu maaso okugabana ebikukwaatako nga bwekinnyonnyoddwa mu kirango kino.

Kitya?

Ebitongole by`ebyenfuna byonna byeetaga okugabana ebikwata ku ba kasitooma okusobola okuddukanya bizinensi zaabyo. Mu katundu kano wammanga, tulaga ensoga ebitongole by`ebyenfuna kwe bisinziira okugabana ebikwata ku ba kasitooma baabyo; ensonga Paxful kw`esinziira okugabana; n`okulaba oba ng`osobola okukugira okugabana kuno.


Ensonga ezitugabanyisa ebikukwatako

Paxful egabana?

Osobola okukugira okugabana kuno?

Ku lw`enzirukanya ya bizinesi yafe eya buli lunaku - okugeza okukola ku bugulanyi bwo, okubeezaawo akaawunti yo(zo), yanukula okulagirwa kwa kkooti n`okunoonyereza okw`ebyamateeka, oba okukola alipoota eri ebitongole ebirondoola abeewozi

Yee

Nedda

Olw`okulanga - okukutuusaako ebyamaguzi n`obuweereza bwaffe

Yee

Nedda

Olw`okulanga ne kkampuni z`ebyensimbi endala

Yee

Nedda

Ku lwa bizinensi za banywanyi baffe eza bulijjo - ebikwata ku bugulanyi bwo n`engeri gy`obisangamu

Yee

Nedda

Ku lwa bizinensi za banywanyi baffe eza bulijjo - ebikwata ku busasuzi bwo

Nedda

Tetugabana

Ku lwa batali banywanyi okulanga gy`oli

Nedda

Tetugabana

Ebibuuzo?

Genda ku www.paxful.com

Ebitukwatako

Ani aweerezza ekimanyiso kino?

Ekimanyiso kya twekisize kikuweebwa Paxful era kikola ku akaawunti yo ey`obuntu eya Paxful.

Byetukola

Paxful ekuuma etya ebinkwatako ng`omuntu?

Okusobola okukuuma ebikukwatako ng`omuntu obutalabibwa batateekeddwa kubiraba n`okubikozesa, tukozesa amateeka g`ebyokwerinda agakkiriziganya n`amateeka ga gavumenti z`ebitundu. Amateeka gano mulimu agakwata ku kukuuma kkompyuta, okukuuma ffayiro n`ebizimbe

Paxful ekuŋŋaanya etya ebinkwatako ng`omuntu?

Tukuŋŋaanya ebikukwatako ng`omuntu, okugeza bw`o

  • ggulawo akaawunti oba waayo ebikwata ku akaawunti
  • tuwe ebikukwatako oba sindika
  • kozesa akaawunti yo eya Paxful okusindinka n`okufuna ssente

Tukuŋŋaanya n`ebikukwatako, okuva mu balala okugeza ebitongole ebirondoola abeewozi, abanywanyi ne kkampuni endala.

Lwaki sisobola kussa kkomo ku kugabana kwonna awamu?

Etteeka lya gavumenti z`ebitundu likuwa eddembe ku kukugira kwokka

  • olw`okwanguyiza abanywanyi okukola emirimu gyabwe egya buli lunaku ng`obawa — obubaka obukukwatako nga bw`oyimiridde mu by`ensimbi
  • abanywanyi okukozesa ebikukwatako okukunoonyeza akatale
  • okugabana n`abatali banywanyi okukunoonyeza akatale

Amateeka g`ensi n`aga kkampuni zi ssekinnoomu gayinza okukwongera obuyinza obukugira okugabana. Laba wammanga ebisingawo ku ddembe wansi w`amateeka g`ensi.

Amakulu

Abanywanyi

Kkampuni ezifaanaganya obwa nnanyini oba obufuzi. Zisobola okuba kkampuni z`ebyenfuna oba ezitali za byanfuna.

  • Abanywanyi baffe mulimu kkampuni eziri wansi w`obufuzi bwa Paxful Holdings, Inc.

Abatali banywanyi

Kkampuni ezitafaanaganya bwa nnannyini oba bufuzi. Zisobola okuba kkampuni z`ebyenfuna oba ezitali za byanfuna.

  • Abalala abatali banywanyi naye nga tugabana nabo ebikukwatako mulimu abakola obuweereza oba emirimu ku lwaffe.

Okunoonyeza awamu akatale

Endagaano entongole wakati wa kkampini z`ebyensimbi endala ezitalina kakwate nammwe ezinoonyeza awamu akatale k`ebintu ebikwata ku byenfuna oba obuweereza bye zaagala ogule.

  • Be tunoonya nabo akatale mulimu kkampuni z`ebyenfuna.

Obubaka obulala obukulu

Tuyinza okusindika ebikukwatako mu nsi endala, okugeza ku lw`empeereza eri ba kasitooma oba okukola ku bugulanyi.

California: Akaawunti yo eya Paxful bw`eba erina endagiriro ya email eya California, tetuggya kugabana bikukwatako bye tukuŋŋaanya okuggyako ebyo byokka ebikkirizibwa mu tteeka lye California.

Vermont: Akaawunti yo eya Paxful bweba erina endagiriro eya Vermont, tetuggya kugabana na batali banywanyi bikukwatako bye tukuŋŋaanya mpozzi nga etteeka likkiriza oba nga otuwadde olukusa.