Sisinkana ttiimu ya Paxful!

Abakozi ba Paxful be batambuza kkampuni yaffe. Olwokuba twawukanya ebyobuwangwa n`ensibuko, buli kiseera tuyigira ku banaffe. Ekisinga obulunji? Buli omu asobola okunyumirwa ennimi n`ebyobuwangwa eby`enjawulo. Tuyinza okuba n`abakozi ab`ebyamaguzi abeewaddeyo naye ekibanja kyaffe kikoleddwa olw`okukolera awamu n`okuwuliziganya okuva mu buli ttiimu n`ekitongole.

Max

Munnamateeka w`Ekitongole (United States of America)

Kintu kie ekyo ekimu kyotasobola kumala lunaku nga tokoze ku Paxful?

Okusaagasaaga ne bakozi bannange.

Ki ekikuzzaamu amaanyi wano ku Paxful?

Obusobozi. Kampuni eno erina obusobozi obw`amaanyi, era nkimanyi nsobola okukola ekinene okulaba nga tutuuka ku buwanguzi obwo.

Kintu ki ekimu kyokka ekikwata ku by`enfuna bya Paxful/P2P kye wandyagadde buli muntu amanye?

Abantu babuuza lwaki eby`enfuna bya P2P bya mugaso. Bbanka y`Ensi Yonna yakakasa nti abantu kumpi obuwumbi 2 tebafuna buweereza bwa bya nfuna obwa bulijjo. Paxful ewa abantu abo omukisa okwenyigira mu muyungo gw`ebyenfuna.

Lana

Akulira Eby`okutuukiriza Amateeka n`Ebisaanyizo (United States of America)

Ki ekikuzzaamu amaanyi wano ku Paxful?

Okusindiikirizibwa n`okuzzibwamu amaanyi okutuusa Bitcon mu bantu.

Kya makulu ki ekisinga ku mulimu gwo?

Nze akulira okulondoola abamenyi b`amateeka. Ttiimu yange ngiwadde ebikozesebwa n`okubalaga engeri y`okukolamu omulimu ogwo. Tetukkiriziganyizaako ddala na bukumpanya oba ebikolwa byonna ebitali mu mateeka ku mutimbagano gwaffe.

Trisha

Omukubi w`Ebifaananyi Bya Digito (Philippines)

Muganyulo ki ogukyasinze obulungi wano ku Paxful?

Njagala awakolerwa dduyiro n`okwewunda! Kkampuni efaayo nnyo ku bulamu bw`abakozi baayo era omuganyulo guno gukuyamba okutoowolokoka mu nnaku ez`okutawaanya ennyo.

Kintu ki ekimu kyokka ekikwata ku by`enfuna bya Paxful/P2P kye wandyagadde buli muntu amanye?

Nandyagadde abantu okweyongera okumanya ebikwata ku kisaawe kino. Ekisaawe ky`obusuubuzi bwa P2P kirina ebintu binji eby`okugaba naddala eri abatafuna mpeereza ya bbanka.

Mukolo ki ogwa Paxful ogukyakusingidde gwe wali weetabyeko?

Mukolo ki ogwa Paxful ogukyakusingidde gwe wali weetabyeko?

Ysabelle

Obwakitunzi Obukozesa Viidiyo (Philippines)

Ki ekikuzzaamu amaanyi wano ku Paxful?

Ekinzizaamu amaanyi gye mikisa egitaggwaawo egy`okukula mu mirimu. ne bwe nnali omuto, banzikiririzaamu n`emirimu gyange. Bampa omukisa okulaga kye nsobola okukola.

Mukolo ki ogwa Paxful ogukyakusingidde gwe wali weetabyeko?

Buli lwe tugendako okunywamu, tunyumirwa era kinkolera nnyo okukwatagana ne bakozi bannange nga tetuli ku mulimu!

Kya makulu ki ekisinga ku mulimu gwo?

Omulimu gwange guŋŋanya okufuula okwagala kwange n`enkukolamu emirimu egikola enjawulo eri abantu abalaba viidiyo zaffe ze tukola.

Michelle

Omwekenneenyi w`Omutindo gw`Ebiddibwamu (Philippines)

Muganyulo ki ogukyasinze obulungi wano ku Paxful?

Seeing the whole team improve, working at our best with genuine smiles on our faces. Being a part of that process for improvement keeps my drive going here at Paxful. And of course when the value of Bitcoin rises!

Kintu ki ekimu kyokka ekikwata ku by`enfuna bya Paxful/P2P kye wandyagadde buli muntu amanye?

Njagala buli omu ategeere bulungi engeri Bitcoin gy`akolamu okutwaliza awamu era n`engeri obusuubuzi gye bukolebwamu ku Paxful olwo bategeere bulungi oba nga baferebwa oba nedda.

Kiki ekyo kye wandyagadde Paxful nga kkampuni emalirize oba ekole mu myaka emitono egijja mu maaso?

Okufuuka kkampuni y`ebyenfuna by`okumutimbagano esinga era ekibanja ky`obusuubuzi bwa P2P.

Madis

Omuyiiya wa PHP (Estonia)

Kintu kie ekyo ekimu kyotasobola kumala lunaku nga tokoze ku Paxful?

Okulya ebibala n`ebinyeebwa mu ffumbiro okusingira ddala ebya cashew.

Ki ekikuzzaamu amaanyi wano ku Paxful?

Abantu be nkola nabo n`ebigendererwa bya kkampuni ebiyamba abantu okufuna obuweereza mu by`ensimbi oboolyawo bwe batandisobodde kufuna.

Kintu ki ekimu kyokka ekikwata ku by`enfuna bya Paxful/P2P kye wandyagadde buli muntu amanye?

Nti waliwo engeri ezannamaddala z`oyinza okuyitamu n`okola ssente ku Paxful era ssi buli omu nti mufere.

Pavel

Yinginiya w`ekibanja kya Kubernetes (Estonia)

Kintu kie ekyo ekimu kyotasobola kumala lunaku nga tokoze ku Paxful?

Ka kaawa ne bannange. Kaseera kalungi okufuna okuddibwaamu okutali kutongole okuva eri omuntu yenna era n`okumanya ebigenda mu maaso mu bitongole ebirala. Okunyumya okutali kutongole kusobola okukekkereza ku budde bw`enkiiko.

Muganyulo ki ogukyasinze obulungi wano ku Paxful?

Okukola dduyiro, ekyemisana ekifumbire, ennaku z`okuwummula. Ekintu ekisinga obukulu naye ate ekitera okwerabirwa, kye kino nti, Paxful ye kkampuni ya Paxful esinga okuba enneesimbu mu zonna ze nnali nkoleddeko. Bakola kyonna ekisoboka okufuula olunaku lwo olweyagaza muli naawe n`owulira ng`oli wa mugaso.

Mukolo ki ogwa Paxful ogukyakusingidde gwe wali weetabyeko?

Omukolo ogukyasinze okuba omusuffu gwali gwa Nnaku za Kasana, kkampuni yonna, omwali buli muntu okuva mu buli woofiisi, bwe twakuŋŋaana ne tugenda ku lugendo lw`okuzimba obumu e Split, mu Croatia. Kyali kiyitirivu okusisinkana bannaffe, okumanyagana, n`okuzimba omwoyo gw`obumu obwa nnamaddala.

Aska

Okugondera Amateeka (Hong Kong)

Ki ekikuzzaamu amaanyi wano ku Paxful?

Ebivuddemu ne bannange bwe tukola

Kintu ki ekimu kyokka ekikwata ku by`enfuna bya Paxful/P2P kye wandyagadde buli muntu amanye?

Nti tukola ekisobola okukuuma abatunzi n`abaguzi baffe! Kye tutayagalira ddala kwe kusiba BTC yo

Mukolo ki ogwa Paxful ogukyakusingidde gwe wali weetabyeko?

Okulinnya ennyonyi okugenda mu woofiisi ez`enjawulo ku bugenyi n`okutendekebwa.

Tugba

Akulira Abanywanyi (Estonia)

Kintu kie ekyo ekimu kyotasobola kumala lunaku nga tokoze ku Paxful?

Ttiimu yange!

Ki ekikuzzaamu amaanyi wano ku Paxful?

Waliwo omukisa gwa maanyi okukula mu by`obukugu n`obukulembeze.

Kintu ki ekimu kyokka ekikwata ku by`enfuna bya Paxful/P2P kye wandyagadde buli muntu amanye?

Emikolo gya Paxful gyonna ginyuma! Naye gwe nnasinga okwagala z`Ennaku z`Akasana eza 2019, lwe twamala wiiki ennamba mu Croatia.