Gula Tether ne Okusasula mu Mpeke ku Vodafone

Paxful ekifuula kyangu era ekyesigika okugula n`okufuna ssente z`oku mutimbagano. Zuula ekivuganyo ekisinga obulungi wammanga era ogule ssente z`oku mutimbagano ne Okusasula mu Mpeke ku Vodafone leero.

Lindako nga bwe tukunoonyeza ebivuganyo ebisingira ddala.

Gula Okuva

Sasula Ne

Ebbeeyi ya buli Tether

Engeri y`Okugula Tether ku Paxful

Paxful eruubirira okulaba nti obuweereza mu by`ensimbi butuusibwa ku bukadde abatatuuibwako mpeereza ya bbanka nsi yonna. Tukuwa eddembe okuwaanyisa ssente zo mu Tether (USDT) era n`ogikozesa nga bw`olaba kisaanidde; kakube kusasulira bintu oba buweereza, okukuuma ebyobugagga byo obutagwa bbeeyi, okugula ssente za digito oba okutangira okukyukakyuka kw`emiwendo gy`ensimbi z`oku mutimbagano.

Ku katale ka Paxful akawagirwa abantu, osobola okugula Tether butereevu okuva ku bakozesa banno ng`era bwe kiri ku ggwe mu nsi yonna. Temuli bya bbanka, bitongole oba bakayungirizi abalala ababyenyigamu.

Bw`oti bw`otandika:

  1. Ggulawo akaawunti oba ggulawo eyo gy`olina. Okwewandiisa ku Paxful ofunirako waleti ya bwereere mw`oyinza okutereka USDT yo.
  2. Londako enkola y`okusasula, teekamu omuwendo gw`oyagala okufulumya mu kika kya ssente ky`oyagala, olwo olyoke onyigeNoonya Ebivuganyo.
  3. Yita mu buli kivuganyo wekebejje obukalu n`obukwakkulizo bwabyo. Weetegereze nnyo emiwendo egyagerekeddwa abatunzi, ate era n`obumanyifu mu busuubuzi n`okuddibwamu osobole okugeraageranya obwesimbu bwabwe.
  4. Bw`osanga ekivuganyo ekigya obulungi mu byoyagala, kakasa omuwendo gw`olina okusasula era otandike obusuubuzi. Kino kijja kutandikawo emboozi eya buliwo mw`oyinza okwogerezeganya n`omutunzi mu kiseera kyennyini.
  5. Ng`obusuubuzi bugenda mu maaso, omutunzi ajja kukuwa ebirala ku butya bw`oneyongerayo. Goberera ebiragiro bye n`obwegendereza era okakase obugulanyi bw`oba omaze okusasula.
  6. Ng`omutunzi amaze okukakasa obusasuzi, ajja kukuweereza USDT yo eterekeddwa obulungi mu nsibo, butereevu mu waleti yo eya Tether eri mu Paxful.

Ng`oggusizza obusuubuzi, osobola okufulumya Tether yo esigaddewo ku kintu ekirala kyonna ky`oyagala, oba okugisindika mu waleti endala.

Ng`okozesa enkola z`okusasula ezisoba mu 300 omuli ssente mu mpeke, okuyisa mu bbanka ne kaadi z`ekirabo, okugula USDT tekibangako kyangu nga kati. Tolaba nkola yo gy`oyagala kusasuza? Tutegeezeeko era tujja kugezaako okugigatta ku kibanja kyaffe. Okumanya ebisingawo, kebera Awafunirwa Obuyambioba wuliziganya n`abayambi baffe.