Buy from
Sasula ne
Price per Tether
Engeri y`Okugula Tether ku Paxful
Paxful eruubirira okulaba nti obuweereza mu by`ensimbi butuusibwa ku bukadde abatatuuibwako mpeereza ya bbanka nsi yonna. Tukuwa eddembe okuwaanyisa ssente zo mu Tether (USDT) era n`ogikozesa nga bw`olaba kisaanidde; kakube kusasulira bintu oba buweereza, okukuuma ebyobugagga byo obutagwa bbeeyi, okugula ssente za digito oba okutangira okukyukakyuka kw`emiwendo gy`ensimbi z`oku mutimbagano.
Ku katale ka Paxful akawagirwa abantu, osobola okugula Tether butereevu okuva ku bakozesa banno ng`era bwe kiri ku ggwe mu nsi yonna. Temuli bya bbanka, bitongole oba bakayungirizi abalala ababyenyigamu.
Bw`oti bw`otandika:
- Ggulawo akaawunti oba ggulawo eyo gy`olina. Okwewandiisa ku Paxful ofunirako waleti ya bwereere mw`oyinza okutereka USDT yo.
- Londako enkola y`okusasula, teekamu omuwendo gw`oyagala okufulumya mu kika kya ssente ky`oyagala, olwo olyoke onyigeNoonya Ebivuganyo.
- Yita mu buli kivuganyo wekebejje obukalu n`obukwakkulizo bwabyo. Weetegereze nnyo emiwendo egyagerekeddwa abatunzi, ate era n`obumanyifu mu busuubuzi n`okuddibwamu osobole okugeraageranya obwesimbu bwabwe.
- Bw`osanga ekivuganyo ekigya obulungi mu byoyagala, kakasa omuwendo gw`olina okusasula era otandike obusuubuzi. Kino kijja kutandikawo emboozi eya buliwo mw`oyinza okwogerezeganya n`omutunzi mu kiseera kyennyini.
- Ng`obusuubuzi bugenda mu maaso, omutunzi ajja kukuwa ebirala ku butya bw`oneyongerayo. Goberera ebiragiro bye n`obwegendereza era okakase obugulanyi bw`oba omaze okusasula.
- Ng`omutunzi amaze okukakasa obusasuzi, ajja kukuweereza USDT yo eterekeddwa obulungi mu nsibo, butereevu mu waleti yo eya Tether eri mu Paxful.
Ng`oggusizza obusuubuzi, osobola okufulumya Tether yo esigaddewo ku kintu ekirala kyonna ky`oyagala, oba okugisindika mu waleti endala.
Ng`okozesa enkola z`okusasula ezisoba mu 300 omuli ssente mu mpeke, okuyisa mu bbanka ne kaadi z`ekirabo, okugula USDT tekibangako kyangu nga kati. Tolaba nkola yo gy`oyagala kusasuza? Tutegeezeeko era tujja kugezaako okugigatta ku kibanja kyaffe. Okumanya ebisingawo, kebera Awafunirwa Obuyambioba wuliziganya n`abayambi baffe.