Lindako nga bwe tukunoonyeza ebivuganyo ebisingira ddala.

Buy from

Sasula ne

Price per Ethereum

Engeri y`Okugulamu Ethereum ku Paxful

Paxful, eruubirira okulaba nti etuusa eby`ensimbi ebitasosola mu bantu ku bukadde n`obukadde bw`abantu mu nsi yonna. Tukifuula kyangu ate ekyesigika okuwaanyisa ssente zo oba ensimbi z`oku mutimbagano ne Ethereum (ETH) era ozikozese mu kiseera ky`osinga okuzeetaagiramu, okutandikira mu nsaasaanya ya buli lunaku okutuukira ddala ku kusiga ensimbi.

Akatale kaffe akakolebwa abantu kakusobozesa okugula Ethereum butereevu okuva ku bakozesa okwetooloola ensi yonna, nga tebayise mu bbanka oba ba kayungirizi. Yiino engeri y`okugulamu ETH mbagirawo:

  1. Wandiisa akaawunti – Okwewandiisa okufuna waleti ya digito ey`obwereere w`oyinza okutereka obulungi ETH yo.
  2. Noonya ebivuganyo – Londako enkola y`okusasula gy`oyagala, yingizaamu omuwendo gw`onaafulumya mu kika kya ssente kyonna, awo okoone ku Noonya Ebivuganyo. Wekebejje obukalu bwa buli kivuganyo n`obwegendereza okebere n`ebikwata ku mutunzi. Wekebejje nnyo emiwendo gyabwe, lwe babeerako n`okuddibwamu kwe baafuna okuva mu busuubuzi obwaggwa.
  3. Tandika obusuubuzi – Bw`oba okkiriziganya n`ebyetaago by`omutunzi, yingizaamu omuwendo gw`oyagala okufulumya olwo otandike obusuubuzi. Kino kijja kuggulawo emboozi ey`obuliwo omutunzi mwanaakuweera ebiragiro mu bulambulukufu. Goberera bulungi ebiragiro era tobandaaza kubuuza kibuuzo kyonna.
  4. Funa ETH – Ng`omaze okusasula n`olaga obusuubuzi nti busasuddwa, wa omutunzi akadde okwekenneenya obusuubuzi. Olwo bajja kukuweereza butereevu ETH mu nsawoyo eya Paxful.
  5. Leka okuddibwamu – Tubuulire n`abakozesa abalala engeri gy`osanze enkolagana yo ne gw`osuubulagana naye. Kino kikulu okukuuma omukutu gwaffe nga tegulina kabi eri buli omu.

Oyagala kulaba engeri okugulamu Ethereum okuva ku Paxful bwe kitaliimu bulabe, ekyanguwa, era ekyangu? Olw`okuba nti waliwo engeri z`okusasula ezisoba mu 300 z`olondako, okusuubula ensimbi y`oku mutimbagano kati kyangu nga bwe kisoboka. Tukyalireko W`ofunira Obuyambi oba tuukirira abayambi baffe okumanya ebisingawo.

Ng`okozesa enkola z`okusasula ezisoba mu 300 omuli ssente mu mpeke, okuyisa mu bbanka ne kaadi z`ekirabo, okugula ETH tekibangako kyangu nga kati. Tolaba nkola yo gy`oyagala kusasuza? Tutegeezeeko era tujja kugezaako okugigatta ku kibanja kyaffe. Okumanya ebisingawo, kebera Awafunirwa Obuyambioba wuliziganya n`abayambi baffe.