Lindako nga bwe tukunoonyeza ebivuganyo ebisingira ddala.

Gula Okuva

Sasula Ne

Ebbeeyi ya buli Bitcoin

Engeri y`okugula Bitcoin ne Cash App

Cash App ye waleti y`oku mutimbagano era app esasulirwako ekusobozesa okusindika n`okufuna ssente mbagirawo eri aba famire n`emikwano. Era ekusobozesa okukkiriza okusasula kw`essimu ne kkaadi ku lwa bizinensi yo n`okusindika ssente mu akaawunti yo eya bbanka.

Ku katale ka Paxful aka muntu-ku-muntu, kati osobola okugula Bitcoin ne Cash App. Goberera bugoberezi emitendera gino okufuna BTC zo:

  1. Yingira mu Paxful – Ggulawo akaawunti yo eya Paxful oba ggulawo empya. Okwewandiisa ku Paxful kikuweesa waleti ya Bitcoin eyiyo awatali kusasula ssente zeyongeramu.
  2. Londa engeri yo ey`okusasula – Londa Cash App ng`engeri y`okusasula okukuleetera olukalala lw`ebivuganyo byonna ebikkiriza engeri y`okusasula eno. Era osobola okujjuzaamu omuwendo gw`oyagala okufulumya okusunsulamu ebivuganyo ebitakwatagana nagwo. Oyagala okumanya Bitcoin mmeka z`onoofuna? Gezaako Akabaziso kaffe aka Bitcoin.
  3. Zuula ekivuganyo ekirungi – Yita mu lukalala lw`ebivuganyo era okakase nti osooka okukola okunoonyereza. Weetegereze okubeerako kwe, obubonero bw`obumanyifu bwe, ebyafaayo by`omutunzi mu busuubuzi, n`ebintu ebirala ebiringa ebyo. Bw`ozuula ekivuganyo ekirungi ekirabika nga kimatiza, weekebejje obukalu bw`omutunzi n`obwegendereza nga tonnatandika busuubuzi.
  4. Kkiriza obukalu era otandike obusuubuzi – Bw`oba ng`ogula Bitcoin ng`okozesa Cash App, bulijjo tegeka $Cashtag yo n`obukakafu bw`okusasula okusobozesa obugulanyi obulungi. Abatunzi abamu era bayinza okukwetaagisa okuwaayo kkopi ya kaadi y`Endagamuntu yo n`ebiwandiiko ebiralala okukakasa ebikwogerako. N`olwekyo ba mwetegefu okusabibwa ebintu ng`ebyo. Obusuubuzi nga butandise, goberera ebyokugoberera by`omutunzi. Kimanye nti Paxful ekozesa enkola y`ensibo ekwata Bitcoin y`omutunzi okutuusa ng`obugulanyi buwedde okukutaasa obufere obuyinza okubaawo. Obusuubuzi nga bugguse bulungi, ojja kufuna Bitcoin butereevu mu waleti yo eya Paxful.

Wano ku Paxful, tukifuula kyangu era ekitaliimu buzibu okugula BTC ng`okozesa Cash App. Okumanya ebisingawo ku kugula Bitcoin ku kibanja kyaffe, beera wa ddembe okukebera ensulo yaffe ey`amagezi oba tuukirira ttiimu y`abayambi baffe.