Enkola y`Okuwa Ekirabo eri Aloopye

Paxful, Inc.( kitegeza "Paxful," "ffe" "ffena" oba "affe" kitwala emitendera okulongoosa bye tukola n`okuwa eby`okuddamu ebituufu eri ba kasitooma baffe. Mu nkola eno ey`Okuwa Ekirabo eri Aloopye ("Enkola"), tunnyonnyola embeera ezisoboka eza Puloogulaamu yaffe ey`Okuwa Ekirabo Aloopye n`engeri gy`erina okukozesebwa n`enkozesa yo ey`ekibanja kyaffe ku https://paxful.com/, ng`ogasseeko, naye nga tekikoma ku, Waleti ya Paxful, ekibanja kya Paxful ekya Bitcoin, enkola y`oku ssimu ey`omungalo, emiko gy`emikutu emigattabantu oba ebintu by`oku mutimbagano ebirala (awamu, "Ekibanja"), oba bw`okozesa ebimu ku bintu, empeereza, ebirimu, obubonero, ebya tekinologiya, oba emirimu gye tuwa (awamu, "Empeereza"). Enkola eno yateekebwawo okukuyamba okufuna obubaka ku ngeri gy`oyinza okwetaba mu puloogulaamu yaffe ey`Okuwa Ekirabo eri Aloopye, ekiyamba okukuuma ebiva mu kunoonyereza, biki ebiva mu kunoonyereza ebirungi ebisobola okukola, era na miganyulo ki gy`osobola okufuna. Mwattu wekkaanye nti Empeereza ze tuwa ziyinza okukyuka okusinziira ku kitundu.

Ku lw`ebigendererwa byonna, enkola y`okuwa ekirabo eri aloopye eri mu lulimi Olungereza kye kinaaba nga ekiwandiiko ekikulu era ekifuga. Mu mbeera nga waliwo okukontana wakati w`ekiwandiiko ky`okuwa ekirabo eri aloopye ekiri mu Lungereza n`ekirala kyonna ekivvuunuddwa mu lulimi olulala, ekiwandiiko ekiri mu Lungereza kye kinafuga n`okugobererwa.

Puloogulaamu y`Okuwa Ekirabo Aloopye kye ki?

Okusobola okulongoosa Paxful n`empeereza, Puloogulaamu ya Paxful ey`Okuwa Ekirabo Aloopye ewa abakozesa baffe omukisa okufuna ekiraba olw`okuzuulu obuzibu mu byekikugu.

Oyinza kutubuulira otya by`ozudde mu puloogulaamu y`Okuwa Ekirabo Aloopye?

Okuwuliziganya okw`engeri eno kuteekwa kuweerezebwa eri [email protected]. Mu bubaka bw`owaayo mwattu laga mu bulambulukufu obunafu n`obukakafu obwesigamwako okukakasa nti obuvune weebuli (okunnyonnyola / emitendera gy`okuddamu okuteekawo / ebifaananyi bya sikuliini / viidiyo /ebiwandiike oba ebintu ebirala ng`ebyo).

Amateeka ga Puloogulaamu

Okumenya erimu ku mateeka gano kiyinza okukuviirako obutasaanira kirabo.

  • Gezesa okukosebwa ku akaawunti yo kwokka oba akaawunti z`ofunyeko olukusa okuva ewa nnannyini akaawunti okuddamu okugezesa.
  • Tokozesanga bizuuliddwa okwekkiriranya/okuggyako obubaka oba okudda ku miyungiro emirala. Kozesa obukakafu bw`ekintu mu kunnyonnyola ensonga wokka.
  • Singa obubaka obw`enkizo okugeza nga ebikwata ku muntu, ebimwogerako, nebilala... bifunibwa olw`obunafu bwe, tebirina kuterekebwa, kukuumibwa, kusindikibwa, kufunibwa oba kukolwako oluvannyuma nga bizuuliddwa omulundi ogusooka.
  • Abanoonyereza bayinza obutakkirizibwa, era tebakkirizibwa kwenyigira mu kikolwa kyonna ekiyinza okugootaanya, okukosa oba okwonoona Paxful.
  • Abanoonyereza bayinza obutaasanguza mu lwatu bunafu (okugabana ebintu byonna n`omuntu yenna atali mukozi wa Paxful omutongole), oba okugabana obunafu n`omuntu omulala, nga tafunye lukusa lwa Paxful mu lwatu.

Tukwata tutya ensonga ezizuuliddwa mu Puloogulaamu y`Okuwa Ekirabo Aloopye?

Ebizuulidwa byonna bikwatibwa mu ngeri y`okukwasaganya ensonga ez`obulabe.

Endagaano y`Obutabikkula Byama

Nga tetunnatandika kwogera ku bintu byonna ebyekuusa ku nsonga ezikakasiddwa z`ozudde wansi wa Puloogulaamu y`Okuwa Ekirabo Aloopye, omuli okuliyirira, n`ebirala, ojja kwetaagibwa okuyingira mu Ndagaano naffe ey`Obutabikkula Byama.

Tusasula tutya ebirabo mu Puloogulaamu y`Okuwa Ekirabo Aloopye?

Ebirabo ebyo byonna Paxful y`ebisasula. Ebirabo byonna bisobola okusasulwa singa biba tebikontana na mateeka n`ebifugiso ebigobererwa, omuli naye si byokka ebibonerezo mu busuubuzi n`obukugire bw`ebyenfuna.

Kinaatutwalira bbanga ki okwetegereza ebizuuliddwa mu Puloogulaamu yo ey`Okuwa Ekirabo Aloopye?

Olw`enkyukakyuka n`obuzibu bw`engeri z`ebintu ebyekikugu, tetunnazuula budde butuufu bwe tunaamala nga twetegereza ebizuuliddwa mu Puloogulaamu y`Okuwa Ekirabo Aloopye. Okwetegereza kwaffe kusobola kuggwa singa tuba tukakasizza okubaawo oba obutabaawo kwa bunafu.

Biki ebiggyibwa mu Puloogulaamu y`Okuwa Ekirabo Aloopye?

Obunafu obumu butwalibwa okuba nga tebusoboka mu Puloogulaamu y`Okuwa Ekirabo Aloopye. Obunafu obwo obutasoboka muyinza okubaawo, weewawo si byokka:

  • Spam;
  • Obunafu obwetaaga obulimba/obufere;
  • Obulumbaganyi ku DDOS;
  • Ensonga ez`okuteebereza ezitavaamu magezi gasobola kuteekebwa mu nkola;
  • Obunafu mu byokwerinda mu applications z`abalala n`ebibanja by`abalala ebyayungibwa ku Paxful;
  • Ebifulumizidwa ne sikaana oba alipoota ezifulumizibwa sikaana;
  • Ensonga ezizuuliddwa okuyita mu kugezesa okwekola kwokka;
  • Ebiwuka ebifulumiziddwa mu lukale mu sofutiweya mu nnaku 30 ez`okubyasanguza;
  • Obulumbaganyi bw`okulumika emboozi;
  • Okulumbagana ekibanja ky`omukyaza awatali nnyo, bulabe bulabwako;
  • XXS eyiyo, nga kuliko obubaka bwonna obuweerezebwa nga buyingiziddwamu afunye obuzibu;
  • Yingilamu/fuluma mu CSRF;

Obubaka Obulala

Bw`oba onoonya ebisingawo ku Nkola eno, oyinza okutuwuliza ng`oweereza email ku [email protected].