Enkola ya AML

Paxful, Inc. ne Paxful USA, Inc. (yokka ne okutwalira awamu, "Kkampuni"), eyawandiisibwa wansi w`amateeka g`Essaza lya Delaware eweereza okuyita mu katale k`oku mutimbagano aka muntu-ku-muntu ("P2P") okugula n`okutunda ebyobugagga bya digito.

Kkampuni yawandiisibwa nga Bizinensi y`Empeereza mu bya Ssente mu Kitongole ky`Eggwanika lya United States Ekikwasaganya Emisango gy`Ebyenfuna ("FinCEN"). Enkola za Paxful Ez`okulwanyisa Okuwuwuttanya Ssente ("AML") zikolebwa okulemesa ebikolwa ebitakkirizibwa mu mateeka ku kibanja, okukuuma abakozesa, bizinensi, ne ssente za digito n`ebitundu by`empeereza z`ebyenfuna okuyingirwamu abazzi b`emisango. Kkampuni egoberera ebyetaago by`Etteeka ly`Ebyama bya Bbanka n`ebyekuusa ku bifugiso n`okuluŋŋamya ebya FinCEN.

Ng`emu ku nkola z`Okugoberera Amateeka ga Paxful, Enkola ya Manya Kasitooma Wo ("KYC") n`emitendera gya ba kasitooma ng`omuntu ssekinnoomu n`ebitongole bikoleddwa okusobozesa Kkampuni okukola enzikiriza ey`amagezi nti emanyi ebikwata ku ba kasitooma baayo be yeekebezze. Enkola ekwata ku bakozesa bonna ku kibanja era egobererwa abakozi ba Kkampuni bonna, abeebuuzibwako, ba ofiisa, bannannyini ne ba dayirekita.

Okukozesa enkola y`okwesigama ku kabi ng`emu ku nkola y`Okugoberera Amateeka ga KYC ne AML, Paxful etaddewo empenda zino:

  • Okulonda Akulira Eby`okutuukiriza Amateeka alina obukugu obumala n`okwetengerera, alina obuvunaanyizibwa okukuliramu okulabirira okutuukiriza amateeka nga yeesigama ku mateeka amabage, ebigobererwa, amateeka n`okuluÅ‹Å‹amizibwa kw`emirimu;
  • Okuteekawo n`okukuuma KYC eyeesigamizibwa ku kabi, OkukuÅ‹Å‹aanya n`Okwekebejja Ebikwata ku ba Kasitooma (CDD), n`Enkola y`OkukuÅ‹Å‹aanya awamu n`Okwekebejja okw`Omutindo ogwa Waggulu (EDD);
  • Okuteekawo emitendera egyesigamizibwa ku kabi okukakasa abakozesa ba Kkampuni (kebera ku kiteereddwayo kuBlog eno);
  • Enkolagana n`okusaba kw`okukwasisa amateeka n`ebyetaago by`ebifugiso ebyekitundu;
  • Okukola Alipoota ku Bikolwa Ebyekengerwa ("SARs");
  • Okutendeka kwa Kkampuni yonna mu BSA/AML/OFAC;
  • Okukozesa enkola ez`enjawulo okulwanyisa obukumpanya;
  • Etteeka ly`okulondoola obugulanyi nga bwe bugenda mu maaso mu kiseera ekyo;
  • Okunoonyereza nga tukozesa okusengejja okw`awamu;

Tukeekamu SARs bwe tumanya, okuteebereza oba bwe tuba n`ensonga okuteebeereza nti wabaddewo ebikolwa ebyekengerwa ku kibanja kyaffe. Obugulanyi obwekengerwa butera okuba obwo obutakwatagana na bizinensi za mukozesa ezimanyiddwa okuba entuufu, ebikolwa obw`omuntu ssekinnoomu oba engeri z`omuntu ssekinnoomu. Ofiisa waffe Akuliramu Okugoberera Amateeka yeekebejja erea n`anoonyereza ebikolwa ebyekengerwa okuzuula oba obubaka obumala bukuŋŋaanyiziddwa okuwolereza okuteekamu SAR. Ofiisa waffe Akuliramu Okugoberera Amateeka akuuma ebiwandiiko n`ebyo ebiwagira SARs zonna eziteereddwamu.

Kkampuni era ekozesa Enkola Ebibonerezo bya OFAC ebigenda mu maaso wamu n`enteekateeka ezaakolebwa okukuuma ekibanja obutakolebwako bugulanyi butakkirizibwa, abantu abo abaabonerezebwa oba olw`okwewala, okwewoma oba okwebalama ebibonerezo bya U.S. n`ensi yonna.

Paxful ekolagana bulungi ne OFAC, Bannansi Abalondobwamu Ab`enjawulo (SDN) n`olukalala lw`abantu Abakugirwa olw`ebibonerezo. Mwattu kebera ku linki okufuna olukalala lwa Kkampuni olw`ensi ezawerebwa olw`obulabe ezitakkirizibwa kukozesa kibanja kya Paxful.

Paxful bw`eba ekuwadde Enkola y`ewandiiko ekivvuunuddwa mu lulimi Olungereza, awo okkiriza nti ekivvuunulo kikuweereddwa okukwanguyizaako era nti Enkola y`ebiwandiiko eby`enjawulo eby`olulimi Olungereza ejja kufuga enkolagana yo ne Paxful. Bwe wabaawo okukontana kwonna ku ebyo enkola y`olulimi Olungereza n`ekivvuunuddwa bye bigamba, olwo olulimi Olungereza lwe lujja okufuga.