Tukwanirizza ku Mukago gwa Paxful Ka tuzimbe ensi eyeeyagaza fenna wamu

Beera kitundu ku mbeera eyamba okuzimbira ku busobozi bwo, era osisinkane abantu n`ebitongole ebigabana ebirowoozo byo okolagane nabyo. Kuŋŋaanya eby`obugagga byo, gabana ekirooto kyo, kolera wamu, era okolere ekitundu byo ebintu ebinene.

Ka tukolere wamu

Lwaki wegatta ku Mukago gwa Paxful?

Tuleeta wamu ebitongole era n`abantu okuva mu buli kanyomero. Bizinensi, abantu kinoomu, n`ebitongole by`obwa nnakyeewa kati bisobola okukolagana ku lw`ebigendererwa ebyawamu mu bitundu byabwe. Bingi eby`okuganyulwa mu nkolagana eno:

Kola ebirungi ebirala

Funa abantu bw`emufaananya endowooza okyuse obulamu bw`abantu bangi ng`oyita mu bintu by`oyagala.

Tambuza enjiri yo

Kolagana mu kkampeyini za PR era obunyise enjiri ku bikukwatako okutuukira ddala gye bitatuukanga.

Buulira era oyigirize

Teekawo okumanyisa ebintu oba bizinensi yo mu bitundu ebipya era obeere ku mwanjo gw`okusalirawo bizinensi yo.

Tulwanyisize wamu embeera embi

Twegatte okulwanyisa abatuvuganya basigale kutulabira mu kamooli. Okwegatta ge maanyi.

Manya amateeka g`ekitundu kyo

Funa obuyambi obutuufu bizinensi yo esobola okugoberera amateeka g`ekitundu mu butale obupya.

Gaziya obuweereza bwo

Fuuka wa nsi yonna, yingira obutale obupya, otuukirire ebifo omuli abakozesa b`ebyamaguzi oba obuweereza bwo.

Weefunire Omukago

Byonna biwulikika nga birungi, naye tonnakakasa wa w`onaagya? Oba oli mu byanfuna bya ku mutimbagano oba bwa nnakyewa, Omukago gwa Paxful gugwo. Gaagano amakubo mw`onaayita okukola omukago era oganyulwe.

Ebyenjigiriza

Yambako okuyigiriza abantu b`omu kitundu ku biriko mu ssente z`oku mutimbagano ne tekinologiya

Ebya bbanka n`ebyenfuna

Kyusa ensi y`ebyenfuna n`obuyiiya bwo era ozimbe ebyamaguzi ebinaakyusa ekifaananyi kya ssente.

Emikutu gy`amawulire & PR

Tambuza enjiri yo mu nsi yonna, n`obubaka obutuufu, butuukire ddala gye butatuukanga

Akatale ka ssente z`oku mutimbagano

Weŋŋange ebisoomoozo enkumu ebiri mu kisaawe ky`ensimbi z`oku mutimbagano, kebera obutale n`emikisa ebipya

Okwesanyusa ne Zzaala

Kulemberamu mu kuzannya zzaala w`ensimbi z`oku mutimbagano n`okwesanyusa. Kozesa obukodyo bwo bwonna obw`okuzannya zzaala.

Ebirala

Waliwo ekirala ky`oyagala okuyambako. Tomanya wayinza okubaawo akwatibwa omubabiro mu birowoozo byo !

Weetegese okwesogga? Ka tukolere wamu