Obukalu bw`Empeereza ya Puloogulaamu y`Abanywanyi

Ennaku ez`Okutandika: Ogwekkumi 21, 2019

Weebale okwewandiisa nga mmemba wa Puloogulaamu y`Abanywanyi ba Paxful. Bye wawaddeyo eri Paxful ng`omutendera gw`okwewandiisa bijja kuterekebwa era bikolebweko Paxful okusinziira ku Mateeka g`Omukago gwa Bulaaya ag`Okukuuma Data ("GDPR). Enkola ya Paxful eya GDPR ey`okutuukiriza amateeka ag`Okukuuma Ebyama wagikkiriza ng`emu ku nkola y`okwewandiisa mu Bunywanyi.

Mu kugenda mu maaso ng`okozesa ekibanja kya Paxful (ng`omunywanyi oba omulala), ojja kutwalibwa ng`akkaanyizza n`okukkiriza Etteeka lya Twekisize, omuli nga bwe kisoboka bulijjo oluvannyuma bitereezebwe, byongerwemu oba okukyusibwa. Ekika ky`Etteeka lyaffe erya Twekisize eririko kisobola okufunika ku muko gwaffe ogusooka ogw`ekibanja kino oba ng`onyiga ku linki eno: https://paxful.com/privacy. Olw`okwewala okubuusabuusa, mwattu kitegeere nti ebintu ebimu ebikwata ku akaawunti biyinza okugabanibwa ne Banywanyi bo ng`emu ku ngeri yo ey`okwenyigira mu Puloogulaamu y`Abanywanyi, nga muno mulimu ebikwata ku kifo w`obeera wamu n`ebikolebwa ku akaawunti yo.

Buno bwe Bukalu n`Obukwakkulizo obufuga Puloogulaamu y`Abanywanyi. Paxful yeesigaliza olukusa (mu buyinza bwayo era awatali kulabula kusooka) oku: (a) kyusa akamu oba Obukalu n`Obukwakkulizo bwonna, obudde bwonna era buli kiseera kyonna, nga mulimu (naye nga tekugiddwa kw`obwo) okukyusa emiwendo gy`akasiimo egisasulwa eginnyonnyoddwa wammanga, (b) okuyimiriza oba okusazaamu Puloogulaamu y`Abanywanyi, ne/oba (c) okuyimiriza oba okuggyirako ddala akaawunti yo ey`Abanywanyi n`eya Paxful singa weenyigira mu nneeyisa ng`ezo ezinnyonnyoddwa wammanga.

Ng`Omunywanyi, olina omukisa okwanjulira abantu abalala Akatale ka Bitoin aka Paxful era n`ofuna obusiimo okusinziira ku busuubuzi bwabwe obwa Bitcoin bwebakola ku kibanja kyaffe. Paxful esasula Abanywanyi bonna obusiimo mu BTC mwokka.

Puloogulaamu y`Abanywanyi etegekeddwa nga puloogulaamu ey`amadaala-abiri ekozesebwa ku bakozesa abalala abakozesa entegeka eno omulundi ogusooka bokka:

  • Omunywanyi ku Ddaala 1
    Omunywanyi ku Ddaala 1 ye muntu omulala eyewandiisa okukozesa Akatale ka Bitcoin aka Paxful ng`akozesa linki ey`enjawulo Paxful gye yakuwa nga wewandiisa mu Puloogulamu y`Abanywanyi.
  • Abanywanyi ku Ddaala 2
    Omunywanyi ku Ddaala 2 ye muntu omulala eyewandiisa okukozesa Akatale ka Bitcoin aka Paxful ng`akozesa linki ey`enjawulo Paxful gy`enaaba ewadde Munywanyi wo ku Ddaala 1.

Obusiimo obw`okusasula.

Okujjako nga waliwo enzikiriziganya endala eya Paxful, ojja kufunanga akasiimo okuva mu Paxful buli mulundi Omunywanyi ku Ddaala 1 oba Omunywanyi ku Ddaala 2 gw`anamaliriza obugulanyi "bw`Okugula" BTC ng`akozesa Paxful.

Nga bw`omanyi, Paxful esasuza Ebisale by`Ensibo ku buli busuubuzi obuggusibwa ku kibanja kyayo. Ebisale by`Ensibo bisobola okukyusibwa Paxful obudde bwonna bulijjo. Osobola okuzuula okunnyonnyolwa ku Bisale by`Ensibo n`omuwendo oguliko kati ng`onyiga ku linki eno: https://paxful.com/support/en-us/articles/360013609793-Paxful-fees

  • Omunywanyi ku Ddaala 1 bw`aggusa obulungi obugulanyi "bw`Okugula" BTC ng`akozesa Paxful, Paxful ejja kukusasula ssente mu Waleti yo ey`Obunywanyi omugatte (mu BTC) ogwenkana 50% ku Bisale by`Ensibo ebiriko.
  • Omunywanyi ku Ddaala ery`o 2 bw`aggusa obulungi obugulanyi "bw`Okugula" BTC ng`akozesa Paxful, Paxful ejja kukusasula ssente mu Waleti yo ey`Obunywanyi omugatte (mu BTC) ogwenkana 10% ku Bisale by`Ensibo ebiriko.
  • Wabula, singa Munywanyi wo ku Ddaala 1 akola obugulanyi "bw`Okugula" BTC ne Munywanyi wa mmemba omulala ku Ddaala 1 mu Puloogulaamu y`Abanywanyi, olwo buli omu ku mmwe ggwe ne mmemba oyo omulala mujja kugabanira wakati akasiimo ka 50%.
  • Mu ngeri y`emu, singa Munywanyi wo ku Ddaala 2 akola obugulanyi "bw`Okugula" BTC ne Munywanyi wa mmemba omulala ku Ddaala 2 mu Puloogulaamu y`Abanywanyi, olwo buli omu ku mmwe ggwe ne mmemba oyo omulala mujja kugabanira wakati akasiimo ka 10%.
  • Buli mulundi gwonna gw`onoogula oba okuguza omu ku Banywanyi bo ku Ddaala 1 oba Eddaala 2 tojja kufuna kasiimo konna.

Akasiimo k`ofuna akeekuusa ku bugulanyi bwe butyo kajja kusasulwa mu Waleti yo ey`Abanywanyi bunnambiro ng`obugulanyi obwo bwakaggusibwa. Buli mulundi obugulanyi obw`engeri eyo lwe bunaggusibwa obulungi, Paxful ejja kukuweereza email ekakasa. Mu ngeri eno, osobola okulaba ssente z`osigazizza mu Waleti yo ey`Obunywanyi nga zeeyongerako mu ddaasiboodi yo eya Paxful.

Mu mbeera ezimu, oyinza okuba ng`ogwanira okufuna akasiimo k`obunywanyi buli mulundi Munywanyi wo ku Ddaala 1 oba Eddaala 2 lw`aggusa obugulanyi "bw`Okutunda" BTC ng`akozesa Paxful. Okusobola okumanya oba ng`ogwanira okufuna akasiimo ku Munywanyi wo ku Ddaala 1 n`Eddaala 2 okuva mu bugulanyi "bw`Okutunda", mwattu wuliza Abayambi ba Paxful ku [email protected]. Paxful yeesigaliza obuyinza okusalawo, mu buyinza bwayo obwenkomeredde, oba ng`oyinza okukkirizibwa oba obutakkirizibwa kufuna kasiimo ka bunywanyi olw`obugulanyi "bw`Okutunda".

Okuggyayo Obusiimo Bwo.

Buli ssente zo eziri mu Waleti yo ey`Abanywanyi lwe ziweza waakiri US $10 (mu muwendo gwa BTC oguliko), ojja kusobola okusindika zonna eziba zisigadde mu waleti yo eya BTC ku Paxful. Singa omuwendo ogusigadde mu waleti yo ey`Abanywanyi gutuuka ku mugatte gw`onootuleetera obulamu bwo bwonna ogwa $300, ojja kwetaagisibwa okuwaayo ebikwogerako n`okukakasa endagiriro yo. Ng`omaze okukola kino, oli wa ddembe okukola kyonna ky`oyagala n`ennyingiza yo. Mu kutuwa bino oba ebirala ebiyinza okwetaagisa, okakasa nti ebikukwatako byonna bituufu, byebyo byennyini era nga tebiwubya. Okkiriza okututegeeza ekigenda mu maaso singa wabaawo ekikyuseemu mu budde. Otuwa olukusa okubuuza, butereevu oba okuyita mu muntu omulala, gwe tulaba nga yetaagisa okukakasa ebikwogerako oba okukukuuma ne/oba ffe eri obukumpanya oba obuzzi bw`emisango gy`ebyenfuna emirala, n`okubaako kye tukola nga bwetulabye kyetaagisa okusinziira ku bivudde mu kubuuliriza okw`engeri eyo. Bwe tukola okubuuliriza kuno, okkiriza era n`okkaanya nti ebikukwatako biyinza okuweebwayo eri abakola ku kwewola n`okutangira obukumpanya oba ebitongole ebirwanyisa obuzzi bw`emisango gy`ebyenfuna era nti ebitongole bino biyinza okwanukula okubuuliriza kwaffe mu bujjuvu.

Akakodyo k`Ekikugu: Tuteesa otunde z`oyingizza mu BTC ku kibanja kyaffe ofune amagoba ag`ensusso.

Ebikolwa Ebitakkirizibwa

Bino bikiikirira (naye tebimalaayo) lukalala lw`ekika ky`enneeyisa n`ebikolebwa ebiyinza okuleetera Paxful (nga bwe kisalibwawo Paxful mu kulamula kwayo okutawakanyizibwa) eri (a)okusazaamu oba okweddiza ssente ze wayingiza (ng`oziggyeyo oba nga tonnaba) Obusiimo, ne/oba (b) okuyimiriza oba okuggyirako ddala Abanywanyi ne akaawunti yo(zo) eya Paxful.

  • Okukozesa ebitalina makulu okusikiriza abantu abalala okujja ku kibanja kya Paxful.
  • Okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka eby`engeri yonna, oba nga birinna oba tebirina kakwate ku nkozesa ya kibanja kya Paxful n`empeereza zaayo.
  • Okuggulawo akaawunti endala ku kibanja kya Paxful nga ziganyulwa mu Puloogulaamu ya Paxful ey`Abanywanyi mu ngeri yonna. Okkirizibwa kubeera na akaawunti emu era tokkirizibwa kutunda, kwewola, kugabana oba mu ngeri endala okulaga ebikwata ku akaawunti yo oba ebyetaagisa okugiyingira eri abantu abalala oba ebintu ebirala atali ggwe. Okuteekawo obubaka obukyamu ku akaawunti yo, okulimbalimba ensi mw`osibuka oba okuwaayo ebiwandiiko ebikwogerako ebicupuddwa tekikkirizibwa n`akatono.
  • Okumenya oba okutyoboola kwonna okw`obuvunaanyizibwa bwo obuli mu Bukalu n`Obukwakkulizo buno.
  • Okukozesa– mu ngeri yonna ey`okulanga oba mu mawulire oba mu bubaka obw`engeri yonna bw`otandika oba bw`osaasanya oba mu ngeri endala bw`ofuga – ebigambo "pax" oba "paxful" oba ekirala ekyefaananyiriza, ekiwulikika nga, oba ebigambo ebirala, obulambe, ebirondeddwa Paxful by`eraba nga ebibuzaabuza okwefaananyiriza akabonero ka PAXFUL.
  • Okunyomoola, okulebula, oba okusiiga enziro (a) Paxful oba omu ku ba dayirekita, b`ofiisa, abakozi, abagikwasizaako emirimu, abasigire, oba abagikiikirira, oba (b) abakozesa b`ekibanja kya Paxful, omuli ba mmemba abalala aba Puloogulaamu y`Abanywanyi.
  • Okwenyigira mu bikolwa Paxful by`ekkiriza (mu kulamula kwayo okutawakanyizibwa) nti biyinza okugireetera okwekengerwa mu mateeka, mu byebiragiro oba ebyokuwawaabirwa wansi w`amateeka, ebiragiro, oba obukwakkulizo obw`ensi emu, ekibiina ky`ensi yonna (omuli Omukago gwa Bulaaya), oba obuyinza obulala oba obuyinza bwa gavumenti omuli, okuzannya zzaala atali mu mateeka, obukumpanya, okukukusa ssente, oba ebikolwa eby`ekitujju.
  • Okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka eby`engeri yonna, oba nga birinna oba tebirina kakwate ku nkozesa ya kibanja kya Paxful n`empeereza zaayo.
  • Okuwaayo obubaka obw`obulimba, obukyamu, oba obubuzaabuza.
  • Okuwaayo ebikwogerako n`endagiriro y`okukakasa eby`obulimba, ebikyamu oba ebibuzaabuza.
  • Okuwagira oba okusendasenda omuntu omulala okwenyigira mu bikolwa byonna ebitakkirizibwa wansi w`Akawaayiro kano.

Obwannannyini ku Biyiiye

Okuggyako nga ffe tukiraze, obwannannyini bwonna ku biyiiye ku Kibanja ne mu bintu byonna ebiweebwayo nga byekuusa ku mpeereza zaffe, bintu bya Paxful oba abatuwa olukusa, oba abatuguza ebyamaguzi era bikuumibwa amateeka agafuga obwannannyini ku biyiiye. Tetugaba lukusa lwonna lwa kukozesa biri ku Kibanja. Tokkirizibwa kutunda oba kukyusa bikozesebwa ku Kibanja oba okuddamu okubifulumya, okubiraga, okubikozesa mu lukale, okubigaba, oba okubikozesa mu ngeri endala yonna mu lukale oba n`ekigendererwa ky`okubifunamu ssente. Okukozesa kwo okw`ebintu bino ku kibanja ekirala oba okugabana fayiro oba empeereza efaanana bwetyo n`ekigenderera kyonna tekikkirizibwa.

Tokkirizibwa kukoppa kintu kyonna mu ebyo ebiri ku Kibanja oba ebifunibwa okuyita ku Kibanja awatali lukusa luwandiike. Obwannanyini bwonna obutalambuluddwa ku nkozesa y`ebintu ebiri ku Kibanja Paxful ebwesigaliza mu bujjuvu.

Obukugire ku Buvunaanyizibwa/ Okweggyako omusango

Ekibanja kino ne Puloogulaamu y`Akakwate biweebwa ku musingi ogwa " nga bwe kiri ne nga bwe kiriwo" olw`okukumanyisa n`okukozesa awatali kukiikirirwa oba kusembebwa. Okutuusa ku kigero ekikkirizibwa mu mateeka, tetukusuubiza mu ngeri yonna, mu kwatula oba okufumiitiriza, okwekuusa ku kibanja oba Puloogulaamu y`Abanywanyi, omuli, okusuubiriza okw`omutindo ogumatiza, enkola, okusaanira okw`ekigendererwa ekimu, obutatyoboola, okukwatagana, ebyokwerinda, obutuufu, obukwakkulizo oba obujjuvu, oba okusuubiza okufumiitirize okuva mu kukola oba okukozesa oba obusuubuzi.

Okutuusa kussa erisembayo erikkizibwa mu mateeka, tetujja kuvunaanyizibwa ku bino:

  • 1. okufiirwa kwonna mu byenfuna (nga muzingiramu okufiirizibwa mu nnyingiza, amagoba, endagaano z`emirimu, bizinensi oba okutereka okusuubirwa);
  • 2. okufiirizibwa kwonna olw`okuyamba oba ekitiibwa kyo okutyoboolebwa;
  • 3. okufiirwa kwonna okw`enjawulo oba okutali kwa butereevu oba okuva mu ebyo ebikolebwa, okuyinza okubalukawo.

Omutango n`Okusonyiwa

Okkiriza okusonyiwa Paxful, Inc. ( na buli omu ku ba ofiisa baffe, ba dayirekita, ba mmemba, abakozi, abasigire, n`abanywanyi) okubanjibwa kwonna, ebbanja, ekikolwa, okwonoona, okufiirizibwa, okusaasanya oba okufulumya nga muzingiramu ebisale by`ebyamateeka, ebiva oba ebyekuusa ku: nkozesa yo eya, oba enneeyisa ekwatagana ne, Puloogulaamu yaffe ey`Abanywanyi; oba okutyoboola kwo okw`obukalu n`obukwakkulizo buno. Ekirala, okkiriza okuvunaanyizibwa ku (n`okutuliyirira mu bujjuvu) mabanja gonna, obuvunaanyizibwa, okwonoona, okufiirizibwa, n`okusaasanya, n`okufulumya, omuli ebisale by`ebyamateeka, bye tuba tusaasanyizza ebiva ku kumenya kwo okw`Obukalu n`Obukwakkulizo oba obuvunaanyizibwa obulala bwonna bwe tusaasanyizaako olw`enkozesa yo ey`empeereza ne Puloogulaamu y`Abanywanyi, oba okukozesebwa omuntu omulala yenna atuuka ku mpeereza zaffe ng`akozesa akaawunti yo ey`omukozesa, ekyuma oba akaawunti kw`ofunira yintaneeti; oba okuvvoola etteeka lyonna oba eddembe ly`omuntu omulala.

Awamu

Obukalu n`Obukwakkulizo buno n`enkozesa y`Ekibanja ne Puloogulaamu y`Abanywanyi bijja kufugibwanga ne era bitaputibwe okusinziira ku Mateeka ga United States. Okwemulugunya kwonna okuva ku Bukalu n`Obukwakkulizo buno oba enkozesa yo ey`Ekibanja oba Puloogulaamu y`Abanywanyi kujja kugonjoolwa mu kkooti za United States zokka. Tewali kintu kyonna mu Bukalu n`Obukwakkulizo buno kijja kutwalibwa ng`ekinyigiriza eddembe lyo eribagiddwa mu mateeka ga United States. Singa akatundu konna mu Bukalu n`Obukwakkulizo buno katwalibwa kkooti yonna eya United States okubeera akakyamu oba akatateekeka mu nkola mu bulambalamba oba ekitundu, obutuufu oba okusobola okuteeka mu nkola obuwaayiro obulala obw`obukalu n`obukwakkulizo buno tebijja kukosebwa. Emitwe gyonna egiri mu Bukalu n`Obukwakkulizo buno girimu olw`ekigendererwa eky`okukumanyisa era si buwaayiro bwa buwaze obw`Obukalu n`Obukwakkulizo buno.