Paxful ekyusa ensi y`ebyenfuna. Mu myaka etaano gyokka, tusobodde okufuuka abamu ku bakulemberamu mu butale bwa muntu-ku-muntu obwa bitcoin obukozesebwa obukadde bw`abantu okwetoloola ensi. Ate tutandika butandisi.
Paxful yatandika n`ekigendererwa kyangu: okuwa amaanyi obuwumbi obuna obw`abantu abeerabirwa abatafuna buweereza bwa bbanka n`ababufunako ekitono, basobole okwekwasaganyiza ssente zaabwe mu ngeri gye batakikolangako.
Ray Youssef, CEO
Omusenze okuva mu Egypt eyakuzibwa wakati mu New York, Ray kuva dda ng`alina obwagazi bw`okuyamba abalala. Yalootanga ensi nga buli muntu asobola okutuusibwakoa ebyenfuna era omwo mwe mwava Paxful.
Tukola era tutambulira ku bintu ebyomuwendo bisatu ebiruŋŋamya okuyaayaana kwaffe.
Beera Omuzira
Ku Paxful, tukozesa amanyi ag`enjawulo okumaliriza omulimu. Tukola butaweera okuwa abakozesa baffe kyebabadde baloota. Ebitasoboka tubifuula ebiriwo okukyusa obulamu bw`obuwumbi bw`abantu okwetoloola ensi.
Zimbira Abantu
Bwetusalawo ku Paxful, tulowooza ku bantu - si ku magoba. Tugenda mu bifo ensi byetafaako era ebyerabirwa. Tuyamba famire okuyitimuka, tuzimba amasomero, era tusobozesa abantu baffe okwekozesa.
Sigala ng`Okwatagana n`Abantu
Tuwuliriza abantu baffe ekiseera kyonna 24/7 ku Paxful. Tetwegulumiza - tukwatagana n`abantu. Twogera n`abakozesa baffe ebbanga lyonna, nga tubabuuza endowooza yaabwe, tusobole okukola ekintu ekisingako.
Paxful ekyuusa engeri ensi gy`etambuzaamu ssente n`ekozesa omutimbagano - okukiriza okukyuusa ssente n`omuntu yenna, buli wamu, ekiseera kyonna.
Tolina akaawunti mu bbanka? Tewali buzibu. Tulina engeri ez`okusasula ezissuka mu 300 ez`okulondako, kino kyanguya engeri gy`otambuzaamu ssente zo.
Tekinologiya W`abantu
Paxful ya muntu-ku-muntu, kitegeeza abagikozesa basuubula n`abantu bennyini - ye ngeri bitcoin gye yagendererwa okukozesebwa.
Waleti y`Omutimbagano ey`Obwereere
Yesigika, nnyangu okukozesa, ate nga togisasulira ssente yonna. Waleti yaffe eya digito ewa buli omu ekifo ekyesigika okuterekamu obugagga bwe - si nsonga gw`ani oba ova wa.
Yeesigika
Obukuumi n`okwerinda ze nsonga ezisinga obukulu bwe kituuka ku ssente zo. Obusuubuzi bwonna ku Paxful bukuumibwa mu nsibo enneekusifu okukakasa nti otebenkera mu birowoozo.
Ku Paxful, tukkiriza nti Bitcoin by`ebiseera by`omu maaso era gwe mukutu gw`enkyukakyuka. Built with Bitcoin ye kaweefube w`okuteekawo emikisa, okulongoosa obulamu n`okufuula ensi ekifo ekyeyagaza naddala ebitundu ebisinga okukyetaaga, nga bikozesa Bitcoin.
Ekigendererwa? Okuzimba amasomero 100, ebifo awakimibwa amazzi, n`ebifo awatendekebwa abatandisi b`emirimu nga byonna bivujjirirwa Bitcoin. Mu kiseera kino tuli mu kuzimba ssomero lyaffe eryokuna era tusigazizzaayo 96 gokka!
Built with Bitcoin era yayambako mu kuwayo obuyambi mu Afrika mu biseera bya COVID-19—n`omutima oguyamba okuva mu bakozesa n`emikwano gyaffe twasobola okuwaayo emmere, sanitayiza w`omungalo, n`ebirala ebikozesebwa okwekuuma eri abo abali mu bwetaavu.
Twegatteko! Tukyusize wamu ensi
Manya ebiralaOffiisi okwetoloola ensi
Obwesigwa n`obukuumi ze nsonga ezisinga obukulu bwe kituuka ku ssente zo. Obusuubuzi bwonna ku Paxful bukuumibwa mu nsibo enneekusifu okukakasa nti otebenkera mu birowoozo.
Ennimi ezoogerwa mu woofiisi zaffe
Ekigendererwa kya kuzimba ensi omuli obwenkanya bw`okutuukibwako obuweereza bw`ebyenfuna eri buli muntu
Bw`oba olina ensonga y`obuyambi oba ng`oyagala okutuwa okuddibwamu ku ngeri gye tuyinza okulongoosa ebyamaguzi byaffe, twandyagadde okwongera okuwulira ebisingawo . Wabula, bw`oba oyagala okuwuliza Paxful ku bikwata ku bizinensi ebirala, naffe wetuli okuyita ku mikutu emirala.
Amawulire n` Okulanga
Yamba okubunyisa ekigambo ku bikwata ku Paxful okuyita mu mawulire n`ebikolebwa mu bwa kitunzi. Tuwulize okubuuza ku by`amawulire ku [email protected].
Akasiimo
Pulogulaamu y`Okuwa Ekirabo Aloopye ekuwa omukisa okufuna empeera olw`okuzuula obuzibu bw`ekikugu. Biroope ku [email protected]. Ebisingawo wano.
Akaawunti za Bizinensi
Okuwandiisa akaawunti ya bizinensi ku lwa bizinensi ezisuubulira ku Paxful, osobola okuwandiika email ku [email protected]. Ebisingawo wano.
Obutunzi n`Emikago
Okwebuuza ku by`okufuuka akolagana naffe. Tutegeeze ssinga wettanira okukolagana naffe ng`oweereza email ku [email protected].
Ggulawo akaawunti yo eya Paxful weesogge ensi y`ensimbi z`oku mutimbagano.